LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb17 Apuli lup. 6
  • Ennyimba z’Obwakabaka Zituzzaamu Amaanyi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ennyimba z’Obwakabaka Zituzzaamu Amaanyi
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Similar Material
  • Yimba n’Essanyu Ennyimba Ezitendereza Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Ebinaakuyamba mu Kwesomesa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Ennyimba Empya ez’Okukozesa mu Kusinza!
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Weteeseteese Okuyimbira Yakuwa mu Nkuŋŋaana Zaffe?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
mwb17 Apuli lup. 6

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Ennyimba z’Obwakabaka Zituzzaamu Amaanyi

Ow’Oluganda Erich Frost atudde kumpi n’ennanga

Pawulo ne Siira baayimba ennyimba ezitendereza Katonda nga bali mu kkomera. (Bik 16:25) Ate era, bakkiriza bannaffe baayimba ennyimba z’Obwakabaka nga bali mu kkomera mu Sachsenhausen mu Bugirimaani mu kiseera ky’Abanazi ne mu Siberia. Ebyokulabirako ebyo biraga nti ennyimba zisobola okutuzzaamu amaanyi nga tuli mu mbeera enzibu.

Akatabo k’ennyimba akapya akalina omutwe Muyimbire Yakuwa n’Essanyu kanaatera okufulumizibwa mu nnimi endala nnyingi. Bwe tunaaba tufunye obutabo bw’ennyimba obupya, tusaanidde okuzeegezaamu mu kusinza kw’amaka tusobole okuzikwata. (Bef 5:19) Bwe tunaakola bwe tutyo, omwoyo omutukuvu gujja kutuyamba okuzijjukira nga tuli mu mbeera enzibu. Ennyimba z’Obwakabaka zisobola okutuyamba okussa ebirowoozo byaffe ku ssuubi lye tulina, era zisobola okutuzzaamu amaanyi. Ate era bwe tuba abasanyufu, ennyimba ezo tusobola ‘okuziyimba n’essanyu’ ne zongera okutuzzaamu amaanyi. (1By 15:16; Zb 33:1-3) Ka ffenna tufube okuyiga ennyimba z’Obwakabaka!

MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE, OLUYIMBA OLWAZZAAMU ABASIBE AMAANYI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Kiki ekyaleetera ow’Oluganda Frost okuyiiya oluyimba?

  • Ab’oluganda abaali mu kkomera mu Sachsenhausen oluyimba olwo lwabazzaamu lutya amaanyi?

  • Ddi ennyimba z’Obwakabaka lwe zisobola okukuzzaamu amaanyi?

  • Nnyimba ki ez’Obwakabaka ze wandyagadde okukwata?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share