LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb17 Okitobba lup. 3
  • Ebisobola Okukuyamba Okuba Omunyiikivu mu Kwesomesa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebisobola Okukuyamba Okuba Omunyiikivu mu Kwesomesa
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Similar Material
  • Yakuwa Asuubiza Danyeri Empeera ey’Ekitalo
    Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri!
  • Ddala Katonda Akufaako?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Engeri gy’Okwatibwako Ekitabo kya Danyeri
    Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri!
  • Okwawulawo Abasinza ab’Amazima mu Kiseera eky’Enkomerero
    Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri!
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
mwb17 Okitobba lup. 3

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Ebisobola Okukuyamba Okuba Omunyiikivu mu Kwesomesa

Wandyagadde okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa ne mu mbeera enzibu nga Danyeri bwe yali? Danyeri yali munyiikivu mu kusoma Ekigambo kya Katonda, nga mw’otwalidde n’obunnabbi. (Dan 9:2) Bw’oba omunyiikivu mu kwesomesa, kisobola okukuyamba okusigala ng’oli mwesigwa ne mu mbeera enzibu. Okwesomesa kusobola okukuyamba okunyweza okukkiriza kwo, n’oba mukakafu nti ebisuubizo bya Yakuwa bijja kutuukirira. (Yos 23:14) Ate era kusobola okukuyamba okweyongera okwagala Yakuwa, ekyo ne kikuleetera okwagala okukola ebimusanyusa. (Zb 97:10) Naye oyinza kukikola otya? Ka tulabe.

Danyeri asoma Ekigambo kya Katonda
  • Nsome ku ki? Enteekateeka ennungi ey’okwesomesa ezingiramu okutegeka enkuŋŋaana. Oganyulwa nnyo mu nteekateeka y’okusoma Bayibuli okwa buli wiiki bw’ofuba okunoonyereza ku bintu by’oba totegedde. Abamu bakozesa ekiseera eky’okwesomesa okunoonyereza ku bunnabbi, okusoma ku ngeri eziri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu, ku ŋŋendo z’omutume Pawulo ez’obuminsani, oba ku bitonde bya Yakuwa. Bw’oba weesomesa n’obaako kye weebuuza ku ebyo by’osoma, kiwandiike ky’oba osomako ku mulundi oguddako.

  • Eby’okukozesa mu kwesomesa mbiggye wa? Laba vidiyo erina omutwe, Ebintu Ebituyamba Okuzuula eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo omanye ebimu ku ebyo by’oyinza okukozesa. Bw’oba oyagala okulaba oba ng’otegeera bulungi engeri y’okubikozesaamu, bikozese ozuule obufuzi kirimaanyi obukiikirirwa ensolo ezoogerwako mu Danyeri essuula 7.

  • Nkozese biseera byenkana wa okwesomesa? Kikulu okwesomesa obutayosa bwe tuba twagala okuba abanywevu mu by’omwoyo. Mu kusooka oyinza okukozesa ebiseera bitonotono, oluvannyuma n’ogenda ng’obyongerako. Okwesomesa kiringa okusima eky’obugagga eky’omu ttaka. Gy’okoma okuzuula eky’obugagga ekyo, gy’okoma okwagala okweyongera okusima. (Nge 2:3-6) Bw’onookola bw’otyo, ojja kweyongera okwagala Ekigambo kya Katonda, era okwesomesa kifuuke kintu kya bulijjo gy’oli.​—1Pe 2:2.

    Amagezi agakwata ku ngeri gy’oyinza okunyumirwa okwesomesa gali mu Awake! eya Febwali 2012, olupapula 18-20.

ENSOLO MU DANYERI ESSUULA 7 ZIKIIKIRIRA KI?

  • Ensolo efaanana ng’empologoma ng’erina ebiwaawaatiro by’empungu

    Dan 7:4

  • Ensolo efaanana ng’eddubu g’erina embiriizi mu kamwa kaayo

    Dan 7:5

  • Ensolo efaanana ng’engo ng’erina emitwe ena n’ebiwaawaatiro bina

    Dan 7:6

  • Ensolo ey’entiisa ng’erina amannyo ag’ekyuma n’amayembe kkumi

    Dan 7:7

EKIBUUZO EKIRALA:

Ebiri mu Danyeri 7:8, 24 byatuukirizibwa bitya?

Ejjembe ettono erina amaaso n’omumwa limera mu mayembe ekkumi era liggyawo amayembe asatu

KY’ONODDAKO OKUKOLA:

Ensolo ezoogerwako mu Okubikkulirwa essuula 13 zikiikirira ki?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share