Ennyanjula
Birungi ki Katonda by’asuubizza abantu? Osobola okwesiga Ekigambo kye ekyawandiikibwa? Mu katabo kano, ogenda kulaba ebimu ku bintu Katonda bye yasuubiza, ensonga lwaki osaanidde okuba omukakafu nti bijja kutuukirira, era ne ky’osaanidde okukola okusobola okuganyulwa mu bisuubizo ebyo.