OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa Gukkirizibwa mu Mateeka mu Quebec
Pawulo bwe yali awozesebwa, yajulira Kayisaali. Bwe yakozesa eddembe lye yalina ng’omutuuze wa Rooma, yatuteerawo ekyokulabirako. Mulabe vidiyo erina omutwe, Omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa Gukkirizibwa mu Mateeka mu Quebec eraga engeri ab’oluganda gye baakozesaamu eddembe lye baalina mu mateeka okulwanirira amawulire amalungi mu Quebec. Oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino:
Bizibu ki baganda baffe bye baayolekagana nabyo mu Quebec?
Tulakiti ki ey’enjawulo gye baagaba era biki ebyavaamu?
Kiki ekyatuuka ku w’Oluganda Aimé Boucher?
Kooti Enkulu ey’omu Canada yasala etya omusango gw’ow’Oluganda Boucher?
Ab’oluganda baakozesa mateeka ki, era biki ebyavaamu?
Kiki ekyabaawo oluvannyuma lwa poliisi okutaataaganya olukuŋŋaana?