EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUBIKKULIRWA 10-12
‘Abajulirwa Ababiri’ Battibwa era Oluvannyuma Baddamu Okuba Abalamu
- ‘Abajulirwa ababiri’: Ab’oluganda abatonotono abaafukibwako amafuta abaali batwala obukulembeze mu kiseera ng’Obwakabaka bwa Katonda bwakateekebwawo mu ggulu mu 1914 
- Battibwa: Oluvannyuma lw’okubuulira okumala emyaka essatu n’ekitundu “nga bambadde ebibukutu,” ‘battibwa’ bwe baasibibwa mu kkomera ne baba nga tebakyabuulira 
- Baddamu okuba abalamu: Ennaku ssatu n’ekitundu bwe zaggwaako, baddamu okuba abalamu bwe baasumululwa okuva mu kkomera ne baddamu okukola omulimu gw’okubuulira