EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 42-43
Yusufu Yeefuga
Oyinza okuteeberezaamu engeri Yusufu gye yawuliramu bwe yasisinkana baganda be nga takisuubira? Oboolyawo yandyemanyisizza gye bali amangu ago n’abaaniriza, oba n’abeesasuza. Naye yeefuga. Kiki ky’onookola singa ab’eŋŋanda zo oba abalala bakuyisa bubi? Ekyokulabirako kya Yusufu kituyigiriza obukulu bw’okwefuga n’okusigala nga tuli bakkakkamu mu mbeera enzibu mu kifo ky’okugoberera omutima gwaffe omulimba oba enneewulira yaffe.
Oyinza otya okukoppa Yusufu ng’oyolekaganye n’embeera enzibu?