EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUVA 8-9
Falaawo Eyali ow’Amalala Yali Tamanyi nti Atuukiriza Ekigendererwa kya Katonda
Bafalaawo b’e Misiri baali beetwala nga bakatonda. Eyo ye nsonga lwaki Falaawo yayoleka amalala n’agaana okuwuliriza Musa ne Alooni ne bakabona be abaakolanga eby’obufumu.
Abalala bwe babaako kye bakugambye okukola, obawuliriza? Olaga okusiima ng’omuntu akuwabudde? Oba olowooza nti buli kiseera gwe mutuufu? Bayibuli egamba nti: “Amalala gaviirako omuntu okugwa.” (Nge 16:18) Nga kikulu nnyo okwewala amalala!