Lwaki Tusaanidde Okusaba?
© 2020 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
Akatabo kano tekatundibwa. Ke kamu ku ebyo ebikozesebwa mu mulimu ogw’okuyigiriza abantu Bayibuli mu nsi yonna. Ssente ezikozesebwa mu mulimu guno ziweebwayo kyeyagalire. Bw’oba oyagala okubaako ky’owaayo, genda ku donate.jw.org. Ebyawandiikibwa ebijuliziddwa mu katabo kano biggiddwa mu Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Enkyusa ya Bayibuli endala bw’eba ejuliziddwa, kijja kulagibwa.
EKIGENDERERWA KYA MAGAZINI ENO, Omunaala gw’Omukuumi, kwe kugulumiza Yakuwa Katonda, omufuzi w’obutonde bwonna. Eraga nti mu kiseera ekitali kya wala Obwakabaka bwa Katonda, gavumenti ey’omu ggulu, bujja kumalawo ebintu ebibi byonna, era bufuule ensi Olusuku lwa Katonda. Eyamba abantu okukkiririza mu Yesu Kristo eyatufiirira tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo, era kati afuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. Magazini eno ebadde ekubibwa Abajulirwa ba Yakuwa okuviira ddala mu 1879 (yali mu Lungereza mu kiseera ekyo). Si ya bya bufuzi. Ebigirimu byonna byesigamiziddwa ku Bayibuli.