LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w23 Jjulaayi lup. 31
  • Obadde Okimanyi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obadde Okimanyi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Similar Material
  • Okukkiriza Kwabwe Kwawangula mu Kugezesebwa okw’Amaanyi
    Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri!
  • Okubikkula Ekyama ky’Omuti Omunene
    Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri!
  • Baagaana Okuvuunama
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Tebaavunnamira Kifaananyi
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
w23 Jjulaayi lup. 31

Obadde Okimanyi?

Ebizuuliddwa awali amatongo ga Babulooni eky’edda ebikwata ku matoffaali n’engeri gye gaakolebwangamu, biraga bitya nti ebyo Bayibuli by’eyogerako bituufu?

ABANOONYEREZA ku bintu eby’edda, bayiikudde amatoffaali amookye mangi nnyo awaali ekibuga Babulooni, agaakozesebwa okuzimba ekibuga ekyo. Okusinziira ku munoonyereza ayitibwa Robert Koldewey, amatoffaali ng’ago gaayokebwanga mu byokero ebyabanga “wabweru w’ekibuga, awaali wasangibwa ebbumba eddungi n’emiti egyakozesebwanga mu kugookya.”

Ebiwandiiko eby’edda biraga nti abakungu ba Babulooni era baakozesanga ebyokero ebyo okukola ekintu ekyesisiwaza ennyo. Profesa ayitibwa Paul-Alain Beaulieu, omukugu mu byafaayo n’olulimi lw’Abasuuli, ow’omu Yunivasite y’e Toronto, agamba nti: “Ebiwandiiko bingi ebyazuulibwa mu Babulooni biraga nti kabaka yalagira nti abo abaamujeemeranga, oba abatassanga kitiibwa mu bintu ebitukuvu, baalinanga okusuulibwa mu kyokero, bookebwe.” Ekiwandiiko ekimu eky’omu kiseera kya Kabaka Nebukadduneeza kigamba bwe kiti: “Basaanyeewo, bookye, bakalirire, bafumbe mu kabiga, omukka gwabwe ka gunyooke, basuule mu muliro bafe.”

Ebigambo ebyo bijjukiza abasomi ba Bayibuli ebyo ebiri mu Danyeri essuula 3. Essuula eyo eraga nti Kabaka Nebukadduneeza yakola ekibumbe ekya zzaabu ekinene ennyo mu lusenyi lw’e Dduula, wabweru w’ekibuga Babulooni. Abavubuka Abebbulaniya abasatu, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, bwe baagaana okuvunnamira ekibumbe ekyo, Nebukadduneeza yasunguwala nnyo era n’alagira abasajja be bakume omuliro “gwake okusinga ogwa bulijjo emirundi musanvu,” basuule abavubuka abo “mu kyokero omwali omuliro ogubumbujja.” Malayika yawonya abavubuka abo abasuulibwa mu muliro ne batafa.​—Dan. 3:1-6, 19-28.

© The Trustees of the British Museum. Licensed under CC BY-NC-SA 4.0. Source

Ettoffaali eryokye eririko erinnya lya Nebukadduneeza

Amatoffaali agali awali amatongo ga Babulooni nago galaga nti ebyo Bayibuli by’eyogerako bituufu. Mangi ku go gasangiddwako ebigambo ebitendereza kabaka. Erimu ku matoffaali ago lyaliko ebigambo bino: “Nebukadduneeza, Kabaka wa Babulooni . . . Olubiri, Nze Kabaka ow’Ekitiibwa Ennyo lwe nnazimba . . . Bazzukulu bange ka balufugirengamu emirembe gyonna.” Ebigambo ebyo bifaananako n’ebyo ebiri mu Danyeri 4:30, Nebukadduneeza we yeewaanira ng’agamba nti: “Kino si ye Babulooni Ekinene kye nnazimba n’amaanyi gange okubaamu ennyumba y’obwakabaka, era kye nnazimba olw’ekitiibwa ky’obukulu bwange?”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share