BY’OYINZA OKWESOMESA
Sigala Bulindaala ng’Onyiikira Okwesomesa
Soma Danyeri 9:1-19 okusobola okumanya obukulu bw’okunyiikira okwesomesa.
Manya ebiri mu nnyiriri ezeetooloddewo. Bintu ki ebyali bibaddewo era byakwata bitya ku Danyeri? (Dan. 5:29–6:5) Wandiwulidde otya singa ggwe wali Danyeri?
Noonyereza ku bintu ebyogerwako. ‘Bitabo ki ebitukuvu’ Danyeri by’ayinza okuba nga yasoma? (Dan. 9:2, obugambo obuli wansi; w11 1/1 22 ¶2) Lwaki Danyeri yayatula ebibi bye n’eby’eggwanga lya Isirayiri? (Leev. 26:39-42; 1 Bassek. 8:46-50; dp 182-184) Essaala ya Danyeri eraga etya nti yali munyiikivu mu kwesomesa Ekigambo kya Katonda?—Dan. 9:11-13.
Lowooza ku ebyo by’oyigamu. Weebuuze:
‘Nnyinza ntya okwewala okuwugulibwa ebintu ebibaawo mu nsi?’ (Mi. 7:7)
‘Nnaaganyulwa ntya mu kwesomesa Ekigambo kya Katonda n’obunyiikivu nga Danyeri bwe yakola?’ (w04 8/1 12 ¶17)
‘Biki bye nnyinza okusomako ebinannyamba ‘okubeera obulindaala’?’ (Mat. 24:42, 44; w12 8/15 5 ¶7-8)