LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g16 Na. 5 lup. 14-15
  • Aristotle

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Aristotle
  • Zuukuka!—2016
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Yawandiika ku Bintu Bingi
  • Abakatuliki Batandika Okuyigiriza Enjigiriza za Aristotle
  • Ebirimu
    Zuukuka!—2016
  • Endowooza Eyingira mu Nzikiriza y’Ekiyudaaya, Kristendomu, n’Obusiraamu
    Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?
  • Bayibuli Yava ku Mulembe?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
Zuukuka!—2016
g16 Na. 5 lup. 14-15

EBYAFAAYO

Aristotle

Aristotle

EMYAKA egisukka mu 2,300 emabega, omusajja ayitibwa Aristotle alina kinene kye yakola ku bikwata ku ssaayansi n’obufirosoofo. N’okutuusa leero, abantu bangi baagala nnyo okusoma ku ebyo bye yawandiika, era bye yawandiika bivvuunuddwa mu nnimi ezitali zimu. Munnabyafaayo ayitibwa James MacLachlan yawandiika nti: “Okumala emyaka nga 2,000, abantu abasinga obungi mu Bulaaya baali bagoberera enjigiriza za Aristotle ezikwata ku butonde.” Era ezimu ku njigiriza za Aristotle zaasensera eddiini y’Ekikatuliki, ey’Ekipolotesitante, n’ey’Ekiyiisiraamu.

Yawandiika ku Bintu Bingi

Aristotle yawandiika ku bintu bingi omwali ebyo ebikwata ku ssaayansi, empisa, ennimi, amateeka, amaanyi ga magineeti, eby’amasanyu, ebitontome, eby’obufuzi, endowooza n’enneeyisa y’abantu, n’ensengeka y’ebigambo. Kyokka yasinga kututumuka olw’ebyo bye yawandiika ebikwata ku ssaayansi.

Abantu abayivu ab’omu Buyonaani ab’edda beesigamanga nnyo ku busobozi bwabwe obw’okulowooza okunnyonnyola ebikwata ku butonde. Okusobola okubaako kye bakkiriziganyaako, baatandikiranga ku kintu bonna kye baali batwala nti kituufu ne bagenda nga bakikubaganyaako ebirowoozo okutuusa lwe baatuukanga okusalawo eky’enkomeredde.

Nga bagoberera enkola eyo, abantu abayivu ab’omu Buyonaani baasobola okukkiriziganya ku bintu bingi ebituufu. Ekimu ku byo kye ky’okuba nti waliwo amateeka agafuga obwengula. Kyokka obuzibu obwaliwo buli nti ebintu bye bakkiriziganyangako byali byesigamiziddwa ku ebyo byokka bye baali basobola okulaba n’amaaso gaabwe, ne kiba nti bangi ku bassajja abagezi, nga mw’otwalidde ne Aristotle, emirundi mingi bakkiriziganyanga ku bintu ebitaali bituufu. Ng’ekyokulabirako, baali bakkiriza nti ensi eri mu makkati g’obwengula era nti emmunyeenye ne ziseŋŋendo zeetooloola ensi. Mu kiseera ekyo abantu bangi ekyo kye baali batwala ng’ekituufu. Ekitabo ekiyitibwa The Closing of the Western Mind kigamba nti: “Okusinziira ku ndaba ey’obuntu, ekyo Abayonaani abayivu kye baali bakkiriza kyali kirabika ng’ekituufu ddala.”

Endowooza eyo enkyamu teyandibadde ya kabi nnyo singa yasigala mu bannassaayansi. Naye ekyo si bwe kyali.

Abakatuliki Batandika Okuyigiriza Enjigiriza za Aristotle

Wakati w’omwaka gwa 476 E.E. n’omwaka gwa 1500 E.E., abantu abaali beeyita Abakristaayo mu Bulaaya baali bakkiririza nnyo mu njigiriza za Aristotle. Abakulembeze b’eddiini y’Ekikatuliki mu Rooma, naddala Thomas Aquinas (a. 1224-1274) baateeka enjigiriza za Aristotle mu bitabo byabwe eby’eddiini. Bwe kityo, Ekkereziya Katolika yatandika okuyigiriza enjigiriza ya Aristotle egamba nti ensi eri mu makkati g’obwengula. Enjigiriza eyo yatandika n’oyigirizibwa abakulembeze b’eddiini y’Ekipolotesitante, gamba nga Calvin ne Luther, nga bagamba nti ya mu Bayibuli.​—Laba akasanduuko “Bayigiriza Ebisukka ku Ebyo Bayibuli by’Egamba.”

Abantu abamu enjigiriza za Aristotle baali bazitwala ng’amazima ag’enkomeredde

Omuwandiisi w’ebitabo ayitibwa Charles Freeman yagamba nti: “Ekiseera kyatuuka ne kiba nti waaliwo enjawulo ntono ddala wakati [w’enjigiriza za Aristotle] n’ez’Ekkereziya Katolika.” Bwe kityo, kigambibwa nti Aquinas yafuula Aristotle Omukatuliki. Naye Freeman yagamba nti: “Ekituufu kiri nti Aquinas ye yafuuka omugoberezi wa Aristotle.” Era kiyinza n’okugambibwa nti abo abaali mu Ekkereziya Katolika baafuka bagoberezi ba Aristotle. Eyo ye nsonga lwaki munnassaayansi Omuyitale ayitibwa Galileo bwe yagezaako okuwa obukakafu obulanga nti ensi yeetooloola enjuba, kyanyiiza nnyo abakulembeze b’eddiini era ne bamulagira okulangirira mu lujjudde nti bye yali ayigiriza byali bikyamu.a Kyokka ye Aristotle yali akkiriza nti okumanya okukwata ku ssaayansi kweyongera buli lukya era nti enjigiriza yonna eya ssaayansi esobola okukyusibwamu. Nga kyandibadde kya magezi singa abakulembeze b’eddiini abo baalina endowooza ng’eya Aristotle!

a Okumanya ebisingawo ebikwata ku buzibu obwaliwo wakati w’Ekkereziya ne munnassaayansi ayitibwa Galileo, laba Awake! eya Apuli 22, 2003

MANYA NA BINO

  • Aristotle yali ayagala nnyo okumanya era ng’ayagala nnyo okufumiitiriza ku biri mu bwengula.​—Aristotle—​A Very Short Introduction.

  • Yali akkiriza nti waliwo eyatonda ebintu byonna era n’assaawo amateeka agafuga obutonde. Abeerawo emirembe gyonna, mulungi, era tabeera ku nsi wadde mu bwengula.

  • Aristotle atwalibwa okuba nga ye yatandikawo ssaayansi ayitibwa biology n’oyo ayitibwa logic.

  • Aristotle ye yasomesa Alexander Omukulu eyali enzaalwa y’omu Masedoniya, eyagaziya obwakabaka bwa Buyonaani.

Ekifaananyi ekiraga ensi ng’eri wakati w’obwengula

Abantu abangi mu biseera by’edda baali bakkiriza nti ensi eri mu makkati g’obwengula

Bayigiriza Ebisukka ku Ebyo Bayibuli by’Egamba

Abakulembeze b’amadiini abamu ab’edda baayigirizanga enjigiriza ya Aristotle egamba nti ensi eri mu makkati g’obwengula era nti emmunyeenye ne ziseŋŋendo zigyetooloola. Ekyo kyali kityo kubanga baataputanga bubi ebyawandiikibwa, gamba nga Zabbuli 104:5, awagamba nti: “[Katonda yateeka] ensi ku misingi gyayo; teriggibwa mu kifo kyayo emirembe n’emirembe.” Omuwandiisi wa Bayibuli oyo yali talaga wa ensi w’esangibwa mu bwengula. Wabula yakozesa olulimi olw’akabonero okulaga nti ensi ejja kubeerawo emirembe gyonna, ng’ekigendererwa kya Katonda bwe kiri.​—Omubuulizi 1:4.

Kyokka yo Bayibuli by’eyogera ebikwata ku ssaayansi bituufu ddala. Ng’ekyokulabirako, ebigambo ebiri mu Yobu 26:7 ebyawandiikibwa emyaka nga 3,500 emabega biraga nti, Katonda “[yawanika] ensi awatali kigiwanirira.” Ate Yobu 38:33 walaga nti waliwo amateeka agafuga obwengula.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share