LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g17 Na. 4 lup. 10-11
  • Abaana nga Bavudde Awaka

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abaana nga Bavudde Awaka
  • Zuukuka!—2017
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OKUSOOMOOZA
  • OBUZIBU KWE BUVA
  • KY’OYINZA OKUKOLA
  • Bayibuli Eyogera ki ku Bufumbo?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Abazadde—Mutendeke Abaana Bammwe Baagale Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • “Obufumbo Bubeerenga bwa Kitiibwa”
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Engeri gy’Oyinza Okulaga nti Osiima
    Zuukuka!—2017
See More
Zuukuka!—2017
g17 Na. 4 lup. 10-11
Omusajja ng’alaba ttivi ng’ate ye mukyala we aluka kitambaala

AMAGEZI AGAYAMBA AMAKA | OBUFUMBO

Abaana nga Bavudde Awaka

OKUSOOMOOZA

Emirundi mingi omwami n’omukyala bafuna okusoomooza kungi ng’abaana bakuze ne bava awaka. Abaana bwe bava awaka, omwami n’omukyala batandika okuwulira nga tebalina kibagatta. Omuwi w’amagezi ku nsonga z’amaka ayitibwa M. Gary Neuman agamba nti: “Ntera okufuna abantu bangi ababa baagala okubawa amagezi ku ngeri gye basobola okuddamu okukwatagana ne bannaabwe mu bufumbo. Abaana bwe bamala okuva awaka, omwami n’omukyala baba na bitono nnyo bye basobola okunyumyako.”a

Naawe oli mu mbeera ng’eyo? Bwe kiba kityo, waliwo ky’oyinza okukolawo okugitereeza. Naye kati ka tusooke tulabe ebimu ku bintu ebiyinza okuba nga bye bivaako embeera eyo.

OBUZIBU KWE BUVA

Okumala emyaka mingi, abaana be mubadde mukulembeza. Abazadde bangi bakulembeza ebyetaago by’abaana baabwe, so si obufumbo bwabwe. N’ekivaamu, buli omu yeemalira ku kutuukiriza buvunaanyizibwa bwe nga taata oba maama so si ng’omwami oba omukyala. Ekyo bakiraba luvannyuma ng’abaana bamaze kuva waka. Omukyala ow’emyaka 59 agamba nti: ‘Abaana bwe baali bakyabeera awaka, twakoleranga wamu ebintu. Naye bwe baamala okuva awaka, nze n’omwami wange buli omu yali yeekolera bibye.’

Abafumbo abamu tebaba beetegefu kukyuka na mbeera. Ekitabo ekiyitibwa Empty Nesting kigamba nti: “Abaana bwe bava awaka abafumbo bangi batera okuwulira ng’abayingidde obufumbo obupya.” Olw’okuba baba bawulira nga tebakyalina bibagatta, buli omu ku bo atandika kwekolera bibye.

Naye ekirungi kiri nti musobola okwewala embeera eyo era musobola okuba abasanyufu. Bayibuli erimu amagezi agasobola okubayamba. Lowooza ku magezi gano wammanga.

KY’OYINZA OKUKOLA

Mukkirize embeera empya. Ng’eyogera ku baana abakuze, Bayibuli egamba nti: ‘Omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina.’ (Olubereberye 2:24) Abazadde bwe mwali mukuza abaana bammwe, mwalina ekigendererwa eky’okubateekerateekera ekiseera ekyo we bandiviiridde awaka. Okulowooza ku ekyo, kisobola okubayamba okwenyumiririza mu ky’okuba nti ekiseera kyatuuka abaana bammwe ne bava awaka.​—Amagezi okuva mu Bayibuli: Makko 10:7.

Kyo kituufu nti bulijjo ojja kusigala ng’oli muzadde w’abaana bo. Naye kati mu kifo ky’okuba nti abaana bo bali wansi wa buyinza bwo, bajja kuba bakwebuuzaako bwebuuza. Enkyukakyuka eyo ekusobozesa okuba n’enkolagana ennungi n’abaana bo naye ng’okulembeza byetaago bya mukyala wo oba mwami wo.b​—Amagezi okuva mu Bayibuli: Matayo 19:6.

Mwogere ku ebyo ebibaluma. Yogerako ne munno omubuulire engeri enkyukakyuka empya gy’ekukutteko, era beera mwetegefu naye okumuwuliriza. Ba mugumiikiriza era fuba okutegeera munno. Kiyinza okubatwalira ekiseera okuzzaawo enkolagana ey’oku lusegere gye mwalina ng’omwami n’omukyala, naye bwe mukikola ebivaamu biba birungi.​—Amagezi okuva mu Bayibuli: 1 Abakkolinso 13:4.

Mulowooze ku bintu ebirala ebipya bye muyinza okukolera awamu. Mwogere ku biruubirirwa bye musobola okweteerawo mwembi oba ku bintu bye musobola okukolera awamu. Okuva bwe kiri nti mwamala okukuza abaana bammwe, mulina obumanyirivu mu bintu ebitali bimu. Musobola okukozesa obumanyirivu obwo okuyamba abalala?​—Amagezi okuva mu Bayibuli: Yobu 12:12.

Kakasa munno nti omwagala. Lowooza ku bintu ebyakuleetera okwagala munno. Mwembi mulowooze ku bintu bye muyiseemu nga muli wamu n’ebizibu bye musobodde okugumira. Bwe mukola mutyo, musobola okufuna essanyu wadde ng’abaana bammwe bavudde awaka. Bwe mukolera awamu, musobola okwongera okunyweza obufumbo bwammwe era ne muddamu okwagalana ennyo nga bwe mwali mu kusooka.

a Ekitabo Emotional Infidelity.

b Bwe kiba nti mukyalina abaana awaka, kijjukirenga nti ggwe n’omwami wo oba ne mukyala wo muli “omubiri gumu.” (Makko 10:8) Abaana bwe balaba nga bazadde baabwe balina enkolagana ey’oku lusegere, kibaleetera okuwulira nga balina obukuumi.

EBYAWANDIIKIBWA EBIKULU

  • “Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina.”​—Makko 10:7.

  • “Katonda ky’agasse awamu, omuntu yenna takyawulangamu.”​—Matayo 19:6.

  • “Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa.”​—1 Abakkolinso 13:4.

  • “Abakadde si be baba n’amagezi?”​—Yobu 12:12.

Salvatore ne Aurora

SALVATORE NE AURORA

“Twakiraba nti kati twalina ebiseera bingiko era nti twali tusobola okubikozesa okukola ebintu ebirala. Bwe kityo twasalawo okukozesa ebiseera ebyo okuyamba abalala, omuli abazadde abalina abaana oba abo abaakayingira obufumbo. Twagala nnyo okuyamba abalala n’okubabuulira ku ebyo bye tuyiseemu.”

Carlo ne Caterina

CARLO NE CATERINA

“Kyatutwalira ekiseera okukikkiriza nti kati obulamu bwaffe bwali bukyuse. Okumala emyaka mingi twayogeranga ku byetaago by’abaana baffe. Naye kati olw’okuba ebintu bingi tubikolera wamu, tusinga kwogera ku byetaago byaffe.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share