LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g18 Na. 3 lup. 3
  • Obulumi Omuntu bw’Afuna ng’Afiiriddwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obulumi Omuntu bw’Afuna ng’Afiiriddwa
  • Zuukuka!—2018
  • Similar Material
  • Ebirimu
    Zuukuka!—2018
  • Ebisobola Okuyamba Abo Abafiiriddwa Abantu Baabwe
    Zuukuka!—2018
  • By’Osaanidde Okusuubira
    Zuukuka!—2018
  • Ennyanjula
    Zuukuka!—2018
See More
Zuukuka!—2018
g18 Na. 3 lup. 3
Omusajja eyafiirwa omuntu we ng’atudde yekka mu wooteeri

EBISOBOLA OKUYAMBA ABO ABAFIIRIDDWA ABANTU BAABWE

Obulumi Omuntu bw’Afuna ng’Afiiriddwa

“Mukyala wange Sophiaa yakwatibwa obulwadde obwamulumira ebbanga oluvannyuma ne bumutta, era we yafiira twali twakamala emyaka egisukka mu 39 mu bufumbo. Mikwano gyange gyannyamba nnyo mu kiseera ekyo era nange nnafuba okulaba nga mba n’eby’okukola bingi. Naye okumala omwaka mulamba nnasigala mpulira obulumi obw’amaanyi. Enneewulira yange yakyukakyukanga buli kiseera. Wadde nga kati wayise emyaka ng’esatu bukya afa, oluusi n’oluusi ndabira awo nga nfunye obulumi obw’amaanyi.”​—Kostas.

Wali ofiiriddwako omuntu wo? Bwe kiba kityo, otegeera bulungi engeri Kostas gy’awuliramu. Ekimu ku bintu ebisingayo okuleeta obulumi obw’amaanyi kwe kufiirwa munno mu bufumbo, omu ku b’eŋŋanda zo, oba omu ku mikwano gyo. Bangi ku abo abanoonyereza ku bulumi omuntu bw’afuna ng’afiiriddwa bakkiriziganya n’ensonga eyo. Magazini eyitibwa The American Journal of Psychiatry egamba nti “Bangi bwe bafiirwa omuntu waabwe tebaba na ssuubi lyonna nti baliddamu okumulaba era ekyo kibaleetera obulumi obw’amaanyi.” Omuntu bw’aba mu bulumi obwo, ayinza okwebuuza: ‘Obulumi buno ndibuwona ddi? Ndiddamu okuba omusanyufu? Nnyinza ntya okufuna obuweerero?’

Ebibuuzo ebyo bigenda kuddibwamu mu magazini ya Zuukuka! eno. Ekitundu ekiddako kigenda kulaga ebimu ku bintu by’oyinza okusuubira bw’oba nga waafiirwa omuntu wo gye buvuddeko awo. Ebitundu ebirala ebiddako bijja kulaga ebintu ebisobola okukuyamba okukendeeza ku bulumi bw’owulira.

Tusuubira nti amagezi agali mu magazini eno gajja kuyamba oyo yenna alina ennaku ey’okufiirwa omuntu we.

a Amannya agamu gakyusiddwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share