LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g19 Na. 1 lup. 8-9
  • Ebikwata ku Ricardo ne Andres

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebikwata ku Ricardo ne Andres
  • Zuukuka!—2019
  • Similar Material
  • “Nnali Nneesimira Entaana”
    Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
  • “Nnalina Obusungu Bungi”
    Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
  • Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Ebirimu
    Zuukuka!—2019
See More
Zuukuka!—2019
g19 Na. 1 lup. 8-9

BAAKOLA ENKYUKAKYUKA

Ebikwata ku Ricardo ne Andres

Amagezi agali mu Bayibuli gasobola okuyamba omuntu okukyusa obulamu bwe. Lowooza ku Ricardo ne Andres.

RICARDO: Bwe nnali wa myaka 15, nneegatta ku kibinja ekimu eky’abayaaye. Emikwano egyo emipya gye nnali nfunye, gyakola kinene ku nneeyisa yange. Mu butuufu nneeteerawo n’ekiruubirirwa ky’okusibibwako mu kkomera okumala emyaka kkumi! Wadde ng’ekyo kirabika ng’eky’obusiru, mu kitundu mwe nnali mbeera, abantu abaabanga basibiddwako mu kkomera okumala emyaka egiwerako, beegombebwanga nnyo era bassibwangamu nnyo ekitiibwa. Nange nnali njagala kubeera nga bo.

Ricardo mu biseera by’edda ng’akutte emmundu era ng’anywa ssigala; Ricardo ng’afuuse Omujulirwa wa Yakuwa

Nneenyigira kumpi mu buli kikolwa kyonna ekibi abayaaye kye bakola, omuli okukozesa ebiragalalagala, ebikolwa obugwenyufu, n’ebikolwa eby’obukambwe. Lumu ekiro, waliwo abantu be twawaanyisiganya nabo amasasi. Nnali ndowooza nti ŋŋenda kuttibwa, naye nnasimattuka nga situukiddwako kabi konna. Oluvannyuma lw’ekyo, nnatandika okulowooza ennyo ku ngeri gye nnali ntambuzaamu obulamu bwange ne ku biruubirirwa byange, era ne nsalawo okukola enkyukakyuka. Naye nandizikoze ntya? Wa gye nnandifunye obuyambi?

Bangi ku b’eŋŋanda zange tebaali basanyufu. Baalina ebizibu bingi. Naye go amaka g’omu ku bakojja bange gaali masanyufu. Nnali nkimanyi nti bantu balungi era nti obulamu bwabwe baali babutambuliza ku magezi agali mu Bayibuli. Mu butuufu, emabegako baali bannyamba okukimanya nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa. Nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lw’okusimattuka okukubwa amasasi, nnasaba Yakuwa nga nkozesa erinnya lye, ne mmwegayirira annyambe. Kyanneewuunyisa nnyo enkeera omu ku Bajulirwa ba Yakuwa bwe yakonkona ku luggi lwange! Yatandika okunjigiriza Bayibuli.

Kyokka nnafuna okusoomooza okw’amaanyi. Abo be nnali nabo mu kibinja ky’abayaaye kye nnali nneekutuddeko bankubiranga amasimu nga baagala ŋŋende mbeereko nabo. Wadde nga ekyo tekyali kyangu, sakkiriza kugenda. Nnali mumalirivu okweyongera okuyiga Bayibuli, era ekyo sikyejjusa! Obulamu bwange bwalongooka nnyo era nnafuna essanyu erya nnamaddala.

Emabegako nnali mwetegefu okumala emyaka kkumi mu kkomera okusobola okussibwamu ekitiibwa. Naye bwe nnayiga amazima nnasaba Katonda annyambe okumala waakiri emyaka kkumi ng’akola ng’omubuulizi ow’ekiseera kyonna nsobole okuyamba abalala nga nange bwe nnayambibwa. Katonda yaddamu essaala yange era kati nnaakamala emyaka 17 nga nkola ng’omubuulizi ow’ekiseera kyonna! Ate era saasibibwa mu kkomera.

Bangi ku abo be nnali nabo mu kibinja ky’abayaaye kati bali mu kkomera. Abalala baafa. Bwe ndowooza ku ebyo byonna nsiima nnyo ab’eŋŋanda zange Abajulirwa ba Yakuwa. Baakoleranga ku magezi agali mu Bayibuli ne basigala nga ba njawulo. Ekitiibwa kye mbawa kisingira ddala ekitiibwa kye nnawanga abo bonna be nnali nabo mu kibinja ky’abayaaye. Okusinga byonna, nneebaza Katonda olw’okunnyamba okumanya engeri esingayo obulungi ey’okutambuzaamu obulamu bwange.

ANDRES: Mu kitundu mwe nnakulira mwalimu abantu bangi abakozesa ebiragalalagala, abanyazi, abassi, ne bamalaaya. Taata wange yeekamiriranga omwenge era ng’akozesa n’ebiragalalagala. Taata ne maama baayombanga, era baalwananga.

Andres mu biseera by’edda ng’abba era nga yeekatankira omwenge; Andres ng’afuuse Omujulirwa wa Yakuwa

Nnatandika okunywa omwenge n’okukozesa ebiragalalagala nga nkyali muto ddala. Ebiseera byange ebisinga obungi nnabimalanga ku nguudo nga nziba, era nga ntunda ebyo bye nnabanga nzibye. Bwe nnakulamu, taata wange yagezaako okunfuula mukwano gwe, naye ekyo yakikola mu ngeri enkyamu. Yanjigiriza engeri y’okukukusaamu ebiragalalagala n’ebintu ebirala ebitakkirizibwa mu ggwanga n’okubitunda. Nnakola ssente nnyingi mu bwangu. Lumu abapoliisi bajja ewange ne bankwata nga bannanga gwa kugezaako kutta muntu. Bansindika mu kkomera mmaleyo emyaka etaano.

Lumu ku makya baayisa ekirango ku kizindaalo ky’ekkomera, nga bayita abasibe abandyagadde okukubaganya ebirowoozo ku Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Nnasalawo okugenda. Bye nnawulira byankolera amakulu era nnatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Bwe baali banjigiriza baalambika bulungi emitindo gya Katonda egya waggulu egikwata ku mpisa.

Waayita ekiseera kitono ne nkiraba nti nnali sisobola kukola nkyukakyuka ezaali zeetaagisa awatali buyambi, naddala mu biseera bwe nnatiisibwatiisibwanga basibe bannange abaali bataagala ekyo kye nnali nkola. N’olwekyo nnasaba Yakuwa ampe amaanyi n’amagezi, era yannyamba. Mu butuufu, mu kifo ky’okutya, nnatandika n’okubuulira basibe bannange ku bintu bye nnali njiga mu Bayibuli.

Bwe bansumulula mu kkomera, nnafunamu okutya, era nnawulira nga nnandyagadde okugira nga mbeera mu kkomera! Bwe nnali nva mu kkomera, bangi ku basibe bannange bansibula. Abamu ku bo baŋŋamba nti: “Musumba, genda eka.”

Kintiisa nnyo bwe ndowooza ku ngeri obulamu bwange bwe bwandibadde singa sakkiriza Katonda kunjigiriza. Nneebaza nnyo Katonda olw’okunjagala n’atantwala ng’omuntu eyali tasobola kukyuka.a

a Osobola okulaba obukakafu obulala obulaga nti Bayibuli ekyusa obulamu bw’abantu ku jw.org/lg. Genda ku LAYIBULALE, onoonye omutwe ogugamba nti, “Bayibuli Ekyusa Obulamu bwʼAbantu.”

ENSONGA ENKULU

OMUNTU BW’ABA OMWETOOWAZE ERA NGA MWESIMBU, NG’AKIRABA NTI YEETAAGA OKUBAAKO ENKYUKAKYUKA Z’AKOLA, ERA NG’AYAGALA OKUZIKOLA, BAYIBULI ESOBOLA OKUMUYAMBA. EYAMBYE ABANTU BANGI

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share