LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g21 Na. 1 lup. 15
  • Osobola Okuzuula Amagezi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Osobola Okuzuula Amagezi
  • Zuukuka!—2021
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Katonda Ayagala Oganyulwe mu Magezi g’Akuwa
  • Amagezi Katonda g’Atuwa Osobola Okugafuna
  • Katonda Tumuwuliriza Tutya?
    Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna
  • Olina Okusalawo Ekituufu n’Ekikyamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2024
  • Bayibuli—Ekitabo Ekyava Eri Katonda
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Ddala Amawulire Amalungi Gava eri Katonda?
    Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
See More
Zuukuka!—2021
g21 Na. 1 lup. 15

Osobola Okuzuula Amagezi

“Buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda.” (2 Timoseewo 3:16) Mu lunyiriri olwo, ekigambo “kyaluŋŋamizibwa” kitegeeza nti Katonda yassa ebirowoozo bye mu abo abaawandiika Bayibuli.

EBIKWATA KU BAYIBULI

  • Ebitundu mu kitabo.

    66

    Gwe muwendo gw’ebitabo ebigirimu.

  • Ekitangaala kimulisa omukono oguwandiika.

    40

    Gwe muwendo gw’abasajja Katonda be yakozesa okuwandiika Bayibuli.

  • Ekirawuli.

    1513 E.E.T.

    Gwe mwaka mwe baatandiikira okuwandiika Bayibuli, era gye myaka egisukka mu 3,500 egiyiseewo!

  • 3,000+

    Gwe muwendo gw’ennimi Bayibuli mw’eri, mu bulambalamba, oba mu bitundu.

Katonda Ayagala Oganyulwe mu Magezi g’Akuwa

“Nze Yakuwa, . . . akuyigiriza osobole okuganyulwa, akukulembera mu kkubo ly’osaanidde okukwata. Kale singa ossaayo omwoyo eri ebiragiro byange! Emirembe gyo gijja kuba ng’omugga n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.”​—ISAAYA 48:17, 18.

Ebigambo ebyo bitwale nti Katonda abigamba ggwe. Ayagala obe n’emirembe mu mutima era ofune essanyu erya nnamaddala. Ate era asobola okukuyamba okufuna essanyu eryo n’emirembe.

Amagezi Katonda g’Atuwa Osobola Okugafuna

“Amawulire amalungi galina okusooka okubuulirwa mu mawanga gonna.”​—MAKKO 13:10.

“Amawulire amalungi” galina okusooka okubuulirwa mu mawanga gonna. Ebimu ku ebyo ebiri mu mawulire amalungi mwe muli eky’okuba nti Yakuwa asuubiza okuggyawo okubonaabona, okufuula ensi ekifo ekirungi ennyo, n’okuzuukiza abantu baffe abaafa. Abajulirwa ba Yakuwa babuulira amawulire ago okuva mu Bayibuli mu nsi yonna.

Bwe Nnasoma Bayibuli Nnalekera Awo Okusoberwa

“Okuviira ddala mu buto nnali nsobeddwa olw’ebyo abantu bye boogera ku Mutonzi. Nneebuuzanga nti, ‘Kisoboka kitya okuba nti buli ggwanga lirina Katonda waalyo?’ N’olwekyo njagala nnyo ekyo Bayibuli ky’egamba mu Abaruumi 3:29, nti ‘Katonda ow’amazima ye Katonda w’abantu ab’amawanga gonna.’ Erinnya lye ye Yakuwa era ayagala tubeere mikwano gye.”​—Rakesh.

Rakesh.
    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share