LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g21 Na. 2 lup. 10-12
  • Tekinologiya Akutte Atya ku Bufumbo Bwo?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tekinologiya Akutte Atya ku Bufumbo Bwo?
  • Zuukuka!—2021
  • Subheadings
  • Similar Material
  • KY’OSAANIDDE OKUMANYA
  • KY’OYINZA OKUKOLA
  • “Obufumbo Bubeerenga bwa Kitiibwa”
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • 3 Okuwaŋŋana Ekitiibwa
    Zuukuka!—2018
  • Engeri gy’Oyinza Okulaga nti Osiima
    Zuukuka!—2017
  • 1 Obumalirivu
    Zuukuka!—2018
Zuukuka!—2021
g21 Na. 2 lup. 10-12
Omusajja ali ku kisaawe ky’ennyonyi akozesa essimu okuwuliziganya ne mukyala we ali awaka.

Tekinologiya Akutte Atya Ku Bufumbo Bwo?

Tekinologiya bw’aba akozeseddwa bulungi, asobola okunyweza enkolagana ebaawo wakati w’omwami n’omukyala. Ng’ekyokulabirako, basobola okuwuliziganya olunaku lwonna.

Kyokka abafumbo abamu bakkiriza tekinologiya . . .

  • okubatwalako ebiseera bye bandimaze nga bali bombi.

  • okubaleetera okukolera awaka ebintu bye bandibadde bakolera ku mulimu.

  • okubaleetera buli omu okutandika okwekengera munne n’obutaba beesigwa.

KY’OSAANIDDE OKUMANYA

Omwami ne mukyala we nga bali mu buliri ekiro era nga buli omu ali ku ssimu ye.

OKUBAAKO AWAMU

Omwami ayitibwa Michael agamba nti: “Oluusi nze ne mukyala wange bwe tuba nga tuli wamu, ye aba ng’ataliiwo. Aba yeemalidde ku ssimu ye, era agamba nti, ‘Saafunye ku kadde kutunula ku ssimu yange.’” Omwami ayitibwa Jonathan agamba nti: “Mu mbeera ng’eyo abafumbo baba wamu, kyokka buli omu abanga ali ewala okuva awali munne.”

EKY’OKULOWOOZAAKO: Mirundi emeka gy’oba ng’oyogera ku ssimu oba ng’osindika mesegi mu kiseera kye wandimaze ng’onyumyako ne munno?​—ABEEFESO 5:33.

OMULIMU

Abantu abamu emirimu gyabwe gibeetaagisa okubeera mu masima ekiseera kyonna, ne mu budde obw’ekiro. Kyokka n’abantu abalina emirimu egitabeetaagisa kukola kumala kiseera kiwanvu, oluusi kibazibuwalira okulekera awo okukola ku nkomerero y’olunaku. Omwami ayitibwa Lee agamba nti: “Bwe bankubira essimu ezikwata ku mulimu mu kiseera kye nnassaawo okubeerako ne mukyala wange, kimbeerera kizibu obutazikwata. Omukyala ayitibwa Joy agamba nti: “Emirimu gyange ngikolera waka, era buli kiseera gibaawo. Naye kimbeerera kizibu okwefuga.”

EKY’OKULOWOOZAAKO: Ossaayo omwoyo ng’omwami wo oba mukyala wo ayogera naawe?​—LUKKA 8:18.

OBWESIGWA

Okunoonyereza okumu kwalaga nti abafumbo bangi baafunako obutakkaanya ne bannaabwe mu bufumbo, olw’ebyo bannaabwe bye bateeka ku mikutu emigattabantu. Abantu kkumi ku kikumi ku abo abaabuuzibwa ebibuuzo baagamba nti bassa ebintu ku mikutu emigattabantu bye batayagala munaabwe mu bufumbo alabe.

Abantu bangi bagamba nti emikutu emigattabantu gisobola okuba “egy’akabi ennyo eri abafumbo” era nti, gikifudde kyangu eri abafumbo “okwenda.” Tekyewuunyisa nti bannamateeka abakola ku by’okugattulula abafumbo bagamba nti emikutu emigattabantu giviiriddeko obufumbo bungi okusattulukuka.

EKY’OKULOWOOZAAKO: Olina omuntu gw’owuliziganya naye, kyokka nga toyagala munno mu bufumbo amanye?​—ENGERO 4:23.

KY’OYINZA OKUKOLA

KULEMBEZA EBISINGA OBUKKULU

Omuntu atayagala kulya mmere, obulamu bwe bukosebwa. Mu ngeri y’emu, omuntu atawaayo biseera kubeerako ne munne mu bufumbo, obufumbo bwe bubaamu ebizibu bingi.​—Abeefeso 5:28, 29.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: ‘Mumanye ebintu ebisinga obukulu.’​—ABAFIRIPI 1:10.

Mukubaganye ebirowoozo ku magezi agaweereddwa wammanga, oba muwandiike ebinaabayamba okukozesa tekinologiya mu ngeri etaakose bufumbo bwammwe.

  • Muliireko wamu waakiri omulundi gumu buli lunaku

  • Musseewo ekiseera eky’okuggyako kompyuta oba essimu zammwe

  • Musseewo ekiseera eky’okukolerako awamu ebintu bye munyumirwa

  • Muggyeeko essimu oba kompyuta mu budde obw’ekiro era temuziteeka kumpi n’obuliri

  • Musseewo eddakiika 15 buli lunaku okunyumyako nga temulina kompyuta oba ssimu

  • Musseewo ekiseera eky’okuggyako Intaneeti

EBYO ABAFUMBO BYE BASOBOLA OKUKUBAGANYAKO EBIROWOOZO

Gwe ne munno mu bufumbo buli omu bw’amala okuyita mu bibuuzo bino ng’ali yekka, mubikubaganyeeko ebirowoozo.

  • Muyinza mutya okukozesa tekinologiya mu ngeri eyongera okunyweza obufumbo bwammwe?

  • Mu kulaba kwammwe, engeri gye mukozesaamu tekinologiya eyingirira ebiseera bye mwandimaze nga muliko wamu?

  • Waliwo w’olaba w’oyinza okutereezaamu oba munno we yeetaaga okutereezaamu?

  • Weewala okukolera emirimu gyo mu kiseera ky’otolina kugikoleramu? Munno akkiriziganya ne ky’ozeemu?

  • Oyinza otya okukiraga nti toli mukakanyavu bwe kituuka ku kiseera ky’osuubira okubeerako awamu ne munno, oba okusuubira munno okussaayo omwoyo ku by’oba omugamba?

    AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Buli muntu alemenga kunoonya bimugasa yekka, naye anoonye ebigasa abalala.”​—1 ABAKKOLINSO 10:24.

Jason ne Alexandra.

“Olw’okuba nkolera waka, nfuba okulekera awo okukola mu kiseera kye nnassaawo. Nnassaawo ekiseera lwe mba nga sisobola kulaba bubaka bumpeerezeddwa, era mu kiseera ekyo essimu mba ngikozesa ku bintu ebisinga obukulu, gamba ng’okutunula ku ssaawa.”​—JASON, NE MUKYALAWE, ALEXANDRA.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share