Georgette Douwma/Stone via Getty Images
DDALA ENSI ENEESAANAWO?
AGAYANJA
NG’OGGYEEKO okuba nti tufuna eby’okulya bingi okuva mu gayanja, era tufunamu n’ebintu bingi ebyetaagibwa mu kukola eddagala. Ekitundu ekisukka mu kimu kyakubiri eky’omukka gwa oxygen oguli ku nsi gukolebwa gayanja. Era agayanja ago gaggya mu mpewo omukka ogw’obulabe oguyitibwa carbon dioxide oguva mu bintu abantu bye bakola. Ate era agayanja ago gakola kinene mu kutereeza embeera y’obudde.
Ensonga Lwaki Twetaaga Okukuuma Agayanja
Enkyukakyuka mu mbeera y’obudde ekosezza nnyo ebintu ebiyitibwa coral reef ebiba ku ntobo y’agayanja, amakovu ag’omu nnyanja, n’ebiramu ebirala eby’omu nnyanja. Kimu kyakuna eky’ebiramu byonna ebibeera mu nnyanja bibeera mu bintu bino ebiyitibwa coral reef, kyokka bannasayansi bagamba nti mu myaka 30 coral reef zonna zijja kuba zoolekedde okusaanawo.
Kiteeberezebwa nti ebinyonyi by’oku nnyanja 90 ku kikumi biyinza okuba nga byalya obuveera oba ebintu ebirala ebya pulasitiika. Era kirowoozebwa nti ebintu ebya pulasitiika ebisuulibwa mu nnyanja bitta ebiramu eby’omu nnyanja bukadde na bukadde buli mwaka.
Mu 2022, António Guterres, ssaabawandiisi w’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte, yagamba nti: “Agayanja gaffe tugalagajjalidde era leero tuli mu kabi ke tuyinza okuyita ‘Embeera ey’akazigizigi ku gayanja.’”
Ensi Yatondebwa nga ya Kubeerawo
Agayanja n’ebintu ebiramu ebigalimu byakolebwa nga bisobola okwekuuma nga biyonjo era nga biri mu mbeera nnungi, singa abantu tebayiwa bintu bya butwa mu gayanja ago. Ekitabo ekiyitibwa Regeneration: Ending the Climate Crisis in One Generation, kigamba nti ekitundu ekimu eky’ennyanja bwe kikuumibwa ne kiba nga tekiyiibwamu bintu bicaafu ebiva mu makolero, “ennyanja esobola okwezza obuggya n’eba nnyonjo.” Lowooza ku byokulabirako bino:
Obumera obusirikitu obuyitibwa phytoplankton busika mu mpewo omukka oguyitibwa carbon dioxide. Kigambibwa nti omukka gwa carbon dioxide gwe guviirako ensi okubaamu ebbugumu eringi. Omukka gwa carbon dioxide obumera buno gwe busika gwenkanankana n’omukka gwa carbon dioxide ogusikibwa ebimera byonna eby’oku lukalu ng’obigasse wamu omuli emiti gyonna n’emiddo.
Obuwuka obusirikitu obw’omu nnyanja bulya obucaafu obuva ku byennyanja obwandibadde bwonoona agayanja. Ate era obuwuka obwo bukola ng’emmere eri ebiramu ebirala eby’omu gayanja. Omukutu gwa intaneeti oguyitibwa Smithsonian Institution Ocean Portal gugamba nti: “Enkola eno esobozesa ennyanja okusigala nga nnyonjo.”
Okuyitira mu ngeri gye biryamu emmere, ebiramu bingi eby’omu nnyanja bikendeeza asidi ow’omu mazzi eyandibadde ow’obulabe eri coral reef, eri amakovu ag’omu nnyanja, n’eri ebiramu ebirala.
Abantu Kye Bakolawo Okugonjoola Ekizibu
Okukozesa ensawo n’amacupa ebitakozesebwa mulundi gumu gwokka kiyambako okukendeeza ku bucaafu obugenda mu nnyanja
Abantu bwe batasuula bintu mu nnyanja, tewabaawo bwetaavu bwakubiggyamu. Eyo y’ensonga lwaki bannasayansi bakubiriza abantu okuddamu okukozesa obuveera, obucupa, n’ebintu ebirala mu kifo ky’okubikozesa omulundi ogumu ne babisuula.
Naye waliwo ekirala ekyetaagisa okukolebwa. Gye buvuddeko awo, mu bbanga lya mwaka gumu ekitongole ekimu ekikola ku by’obutonde kyakuŋŋaanya kasasiro kiro 9,200,000 okuva ku mbalama z’ennyanja mu nsi 112. Kyokka kasasiro oyo mutono nnyo bw’omugeraageranya ku kasasiro asuulibwa mu gayanja buli mwaka.
Magazini eyitibwa National Geographic yagamba nti: ‘Obucaafu obuva ku mafuta obugenda mu nnyanja bungi nnyo ne kiba nti ebiramu eby’omu nnyanja tebisobola kubukutulakutula ne bibumalawo okusobola okukuuma ennyanja nga nnyonjo nga bwe yandibadde.’
Ebituwa Essuubi—Bayibuli ky’Egamba
“Ensi ejjudde ebintu bye wakola. Waliwo ennyanja ennene ennyo, erimu ebiramu ebitabalika, ebinene n’ebitono.”—Zabbuli 104:24, 25.
Omutonzi waffe ye yakola ennyanja n’obusobozi bwayo obw’okwerongoosa. Lowooza ku kino: Bwe kiba nti Katonda eyatonda ennyanja amanyi kalonda yenna akwata ku nnyanja n’ebiramu byonna ebizirimu, kikola amakulu okukkiriza nti ajja kusobola okutereeza ennyanja. Laba ekitundu “Katonda Asuubiza nti Ensi Tejja Kusaanawo,” ku lupapula 15.