EBISOBOLA OKUKUYAMBA NG’EBBEEYI Y’EBINTU ERINNYE
Beera Mugabi
Bw’oba okisanga nga kizibu okwetuusaako ebyetaago byo, oyinza okuwulira nti tekisoboka kugabira balala. Kyokka bw’ogabira abalala kisobola okukuyamba okugumira embeera y’eby’enfuna enzibu. Kisoboka okukola ku byetaago byo ate n’ogabira n’abalala.
ENSONGA LWAKI KIKULU
Bwe tugabira abalala ne mu buntu obutono, tuwulira bulungi era kituleetera essanyu. Mu butuufu okunoonyereza kulaga nti omuntu bw’aba mugabi, ekyo kisobola okumuyamba okuba omulamu obulungi mu mubiri ne mu birowoozo. Ng’ekyokulabirako, kiyinza okumuyamba okukendeeza ku bimweraliikiriza, okwewala endwadde z’omutima, oba obulumi mu mubiri. Ate era kiyinza okuyamba omuntu okufuna otulo.
Bwe tugabira abalala, ka tube nga tubawadde ssente oba bintu birala, naffe kitwanguyira okukkiriza obuyambi obutuweebwa bwe tuba nga tuli mu bwetaavu. Howard abeera mu Bungereza agamba nti: “Bwe tufuba okugabira abalala oba bwe tubayamba mu ngeri ezitali zimu, nze ne mukyala wange kitwanguyira okukkiriza obuyambi abalala bwe batuwa nga tuli mu bwetaavu.” Kya lwatu abantu abagabira abalala okuviira ddala ku mutima, baba tebasuubira kubaddiza. Naye kye bafuna gye mikwano egya nnamaddala, ababa abeetegefu okubayamba mu kiseera nga bali mu bwetaavu.
BY’OSOBOLA OKUKOLA
Gabira abalala ku ebyo by’olina. Ne bw’oba olina ebintu bitono, osobola okubaako by’ogabira abalala. Ng’ekyokulabirako, osobola okubayita ne baliirako naawe ekijjulo ekitonotono. Duncan n’ab’omu maka ge ababeera mu Uganda, tebalina ssente nnyingi naye bagabira abalala. Duncan agamba nti: “Nze ne mukyala wange ku ssande tutera okuyitayo mukwano gwaffe awaka ne tuliirako wamu naye ekijjulo ekitonotono. Tunyumirwa nnyo okubeerako n’abalala.”
Kyokka bw’oba ogabira abalala, kirungi okukozesa amagezi. Tekiba kirungi kugaba kusukka ku busobozi bwo, ne kiba nti ab’omu maka go tebalina bye beetaaga.—Yobu 17:5.
Gezaako kino: Osobola okuyita omuntu ne muliirako wamu naye ekijjulo ekitonotono oba n’omugulirayo eky’okunywa. Bw’oba n’ebintu by’otakyetaaga, osobola okubigabira mikwano gyo oba baliraanwa bo abayinza okubyetaaga era nga babisiima.
Gaba mu ngeri endala. Ebimu ku bintu bye tusobola okugaba tebigula ssente. Ng’ekyokulabirako, tusobola okubawa ebiseera byaffe oba okukiraga nti tubafaako nga tubaako ebintu bye tukola ebisobola okubayamba. Ate era ebigambo eby’ekisa nabyo bikwata nnyo ku balala. N’olwekyo siima abalala era bagambe nti obaagala nnyo.
Gezaako kino: Yamba abalala ng’obakolerako emirimu gy’awaka, ng’obaako ebintu by’oddaabiriza ebyonoonese, oba ng’obagulirako ebintu. Wandiikira mukwano gwo akabaluwa oba musindikire mesegi ne bw’oba ng’oyagala kumugamba bugambi nti obadde omulowoozaako.
Bw’obeera omuntu omugabi, ojja kweyongera okuba omusanyufu.