EBISOBOLA OKUKUYAMBA NG’EBBEEYI Y’EBINTU ERINNYE
Beera n’Essuubi
Ebbeeyi y’ebintu mu nsi yo yeeyongedde okulinnya ng’ate ssente z’ofuna tezeeyongerako? Weeraliikiridde obanga onoosobola okwetuusaako ebyetaago byo n’eby’ab’omu maka go? Bwe kiba kityo, oyinza okuba nga weeraliikiridde ebiseera eby’omu maaso. Ne mu mbeera ng’eyo essuubi lisobola okukuyamba.
ENSONGA LWAKI KIKULU
Abantu abalina essuubi tebabeera bubeezi awo nga balindirira ebintu ebirungi okubaawo. Essuubi libaleetera okubaako kye bakolawo nga bwe balindirira ebintu bye basuubira okutuukirira. Ng’ekyokulabirako, okunoonyereza kulaga nti abantu abalina essuubi . . .
kibanguyira okugumiikiriza embeera enzibu
kibanguyira okutuukana n’enkyukakyuka eziba zizzeewo
basalawo mu ngeri ebasobozesa okusigala nga balamu bulungi era nga basanyufu
BY’OSOBOLA OKUKOLA
Ekisooka, lowooza ku ngeri Bayibuli gy’esobola okukuyambamu mu kiseera kino. Bayibuli erimu amagezi agasobola okukuyamba ne mu kiseera ng’ebbeeyi y’ebintu erinnye. Amagezi ago gasobola okukuyamba okukiraba nti waliwo ky’osobola okukola mu kiseera kino, era gajja kukuyamba ne mu biseera eby’omu maaso.
Ekyokubiri, lowooza ku ebyo Bayibuli by’eyogera ku biseera eby’omu maaso. Bw’okiraba nti Bayibuli erimu amagezi amalungi, ekyo kijja kukuleetera okwagala okumanya ebyo by’eyogera ku biseera eby’omu maaso. Ng’ekyokulabirako, ojja kukiraba nti Katonda ayagala obeere “n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi era n’essuubi,” era nti akoze enteekateeka okusobozesa ekyo okubaawo. (Yeremiya 29:11) Ekyo agenda kukikola okuyitira mu Bwakabaka bwe.
OBWAKABAKA BWA KATONDA KYE KI, ERA BIKI BYE BUNAAKOLA?
Obwakabaka bwa Katonda ye gavumenti egenda okufuga ensi yonna. Bujja kufuga nga businziira mu ggulu. (Danyeri 2:44; Matayo 6:10) Bujja kumalawo okubonaabona kwonna n’obwavu, buleete emirembe ku nsi n’emikisa mingi ng’ebyawandiikibwa bino wammanga bwe biraga.
Abantu bukadde na bukadde bakkiririza mu bisuubizo ebyo, kubanga bakakafu nti Katonda ‘tayinza kulimba.’ (Tito 1:2) N’olwekyo weekenneenye ebyo ebiri mu Bayibuli olabe ky’egamba. Essuubi ly’ewa lijja kukuyamba okugumira embeera y’eby’enfuna enzibu eriwo era lijja kukuyamba okuba omukakafu nti ebiseera eby’omu maaso bijja kuba birungi.