LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • my olugero 15
  • Mukyala wa Lutti Yatunula Emabega

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Mukyala wa Lutti Yatunula Emabega
  • Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Similar Material
  • Mujjukire Mukazi wa Lutti
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Yamba Abalala Okwaŋŋanga Ebibeeraliikiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Mujjukire Mukazi wa Lutti
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
my olugero 15

OLUGERO 15

Mukyala wa Lutti Yatunula Emabega

LUTTI n’ab’omu maka ge baabeeranga wamu ne Ibulayimu mu nsi y’e Kanani. Lumu Ibulayimu yagamba Lutti: ‘Ettaka lino terimala bisolo byaffe byonna. N’olwekyo nkusaba twawukane. Ggwe bw’onookwata ekkubo erimu nange nnaakwata eddala.’

Lutti yeekenneenya ettaka. Yalaba ekitundu ekimu eky’ensi ekirungi ekyalimu amazzi n’omuddo omungi ogw’ebisolo. Lino lyali Essaza lya Yoludaani. Bwe kityo, Lutti yasengula ab’omu maka ge n’ensolo ne bagenda. Mu nkomerero, bakkalira mu kibuga ky’e Sodomu.

Abantu b’omu Sodomu baali babi nnyo. Kino kyanakuwaza nnyo Lutti, kubanga yali musajja mulungi. Ne Katonda yali munakuwavu. Mu nkomerero, Katonda yatuma bamalayika babiri okulabula Lutti nti yali agenda okuzikiriza Sodomu n’ekibuga eky’omuliraano ekiyitibwa Ggomola olw’obubi bwabyo.

Bamalayika baagamba Lutti: ‘Yanguwa! Twala mukyala wo ne bawala bo ababiri muve wano!’ Naye Lutti n’ab’omu maka ge baalonzalonza, n’olwekyo eyo bamalayika ne babakwata ku mikono ne babafulumya ebweru w’ekibuga. Awo, omu ku bamalayika n’abagamba: ‘Mudduke muwonye obulamu bwammwe! Temutunula mabega. Muddukire mu nsozi muleme okuttibwa.’

Lutti ne bawala be baawuliriza ne badduka okuva mu Sodomu. Tebaayimiriramu n’akamu, wadde akaseera akatono, era tebaatunula mabega. Naye mukyala wa Lutti yajeema. Oluvannyuma lw’okuddukako akabanga katono okuva mu Sodomu, yayimirira n’atunula emabega. Awo mukyala wa Lutti n’afuuka empagi y’omunnyo. Osobola okumulaba mu kifaananyi?

Tusobola okufuna eky’okuyiga ekirungi okuva mu kino. Kitulaga nti Katonda awonya abo abamugondera, naye abo abatamugondera bajja kufiirwa obulamu bwabwe.

Olubereberye 13:5-13; 18:20-33 Olubereberye 19:1-29; Lukka 17:28-32; 2 Peetero 2:6-8.

Ebibuuzo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share