LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • my olugero 26
  • Yobu Mwesigwa eri Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yobu Mwesigwa eri Katonda
  • Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Similar Material
  • Yobu Yali Ani?
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Yobu Yagulumiza Erinnya lya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • “Essuubi Lyo Lisse mu Yakuwa”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yobu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
See More
Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
my olugero 26

OLUGERO 26

Yobu Mwesigwa eri Katonda

OSAASIRA omusajja ono omulwadde? Erinnya lye ye Yobu, ate omukazi oyo ye mukyala we. Omanyi ky’agamba Yobu? ‘Kolimira Katonda ofe.’ Ka tulabe lwaki yayogera ekintu bwe kityo, era n’ensonga lwaki Yobu yabonaabona nnyo.

Yobu yali musajja mwesigwa eyagonderanga Yakuwa. Yabeeranga mu nsi ey’e Uzzi, si wala nnyo okuva e Kanani. Yakuwa yali ayagala nnyo Yobu, naye waaliwo omuntu eyali tamwagala. Omumanyi?

Yali Setaani Omulyolyomi. Jjukira, Setaani ye malayika omubi atayagala Yakuwa. Yasendasenda Adamu ne Kaawa okujeemera Yakuwa, era n’alowooza nti yali ayinza okusendasenda buli omu okujeemera Yakuwa. Naye yasobola? Nedda. Lowooza ku basajja n’abakazi abeesigwa abangi be tuyizeeko. Bameka b’oyinza okujjukira?

Oluvannyuma lwa Yakobo ne Yusufu okufa mu Misiri, Yobu ye muntu eyali asingayo okuba omwesigwa eri Yakuwa mu nsi yonna. Yakuwa yali ayagala Setaani ategeere nti yali tasobola kufuula buli muntu kubeera mubi, n’olwekyo yagamba: ‘Tunuulira Yobu. Mulabe bw’ali omwesigwa gye ndi.’

‘Mwesigwa,’ Setaani bw’atyo bwe yagamba, ‘kubanga omuwa emikisa era alina ebintu ebirungi bingi nnyo.’ Naye singa bino byonna obimuggyako, ajja kukukolimira.’

N’olwekyo, Yakuwa n’agamba: ‘Kikole. Bimuggyeko. Kola buli kintu kyonna ekibi ky’oyagala ku Yobu. Tunaalaba oba anankolimira. Naye tomutta.’

Okusooka, Setaani yaleetera abasajja okubba ente za Yobu n’eŋŋamira, era endiga ze zattibwa. Awo n’atta abaana be ab’obulenzi n’ab’obuwala 10 mu muyaga. Ekyaddako, Setaani y’alwaza Yobu obulwadde buno obubi ennyo. Yobu yabonaabona nnyo. Eyo ye nsonga lwaki mukyala we yamugamba: ‘Kolimira Katonda ofe.’ Naye Yobu yali tayinza kukikola. Era, mikwano gye abasatu abataali ba nnamaddala bajja ne bamugamba nti yali yeeyisizza bubi mu bulamu bwe. Naye Yobu yasigala nga mwesigwa.

Kino kyasanyusa nnyo Yakuwa, era oluvannyuma yawa Yobu emikisa nga bw’olaba awo mu kifaananyi. Yamuwonya obulwadde bwe. Yobu yazaala abaana abalala 10 abalabika obulungi, era n’afuna ente, endiga, n’eŋŋamira ezikubisaamu emirundi ebiri ku ze yalina.

Onoobeeranga mwesigwa eri Yakuwa nga Yobu? Bw’onoobera, naawe Katonda ajja kukuwa emikisa. Ojja kusobola okubeerawo emirembe gyonna ensi yonna bw’eneefuulibwa ennungi ng’olusuku Adeni.

Yobu 1:1-22; 2:1-13; 42:10-17.

Ebibuuzo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share