LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • my olugero 79
  • Danyeri mu Kinnya ky’Empologoma

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Danyeri mu Kinnya ky’Empologoma
  • Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Similar Material
  • Danyeri Asuulibwa mu Kinnya ky’Empologoma
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Yanunulwa mu Mannyo g’Empologoma!
    Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri!
  • Yakuwa Asuubiza Danyeri Empeera ey’Ekitalo
    Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri!
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Danyeri
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
See More
Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
my olugero 79

OLUGERO 79

Danyeri mu Kinnya ky’Empologoma

OO! KIRABIKA nga Danyeri ali mu kabi ka maanyi nnyo. Naye empologoma tezimukolako kabi konna! Omanyi lwaki? Ani eyatadde Danyeri mu kifo kino awali empologoma zino zonna? Ka tulabe.

Kabaka wa Babulooni kati ye musajja ayitibwa Daliyo. Ayagala nnyo Danyeri kubanga Danyeri wa kisa era wa magezi. Daliyo alonda Danyeri okuba omufuzi omukulu mu bwakabaka bwe. Kino kireetera abasajja abalala mu bwakabaka okukwatirwa Danyeri obuggya, era kino kye bakola.

Bagenda eri Daliyo ne bagamba: ‘Tukkiriziganyizza, Ai kabaka nti okole etteeka erigamba nti okumala ennaku 30, tewali muntu yenna asaanidde kusaba katonda omulala yenna okuggyako ggwe, Ai kabaka. Singa omuntu yenna ajeema, asaanidde okusuulibwa mu mpologoma.’ Daliyo tamanyi lwaki abasajja bano baagala etteeka lino likolebwe. Naye alowooza nti kirowoozo kirungi, n’olwekyo ateeka etteeka lino mu buwandiike. Kati etteeka lino teriyinza kukyusibwa.

Danyeri bw’amanya ku tteeka eryo, agenda ewuwe n’asaba, nga bw’akola bulijjo. Abasajja ababi bakimanyi nti Danyeri tayinza kulekera awo kusaba Yakuwa. Basanyufu, kubanga kirabika nti olukwe lwabwe olw’okutta Danyeri lugenda kuyitamu.

Kabaka Daliyo bw’ategeera lwaki abasajja bano baayagala okukola etteeka lino, anakuwala nnyo. Naye tayinza kukyusa tteeka eryo, bwe kityo alina okuwa ekiragiro eky’okusuula Danyeri mu kinnya ky’empologoma. Naye kabaka agamba Danyeri: ‘Nsuubira nti Katonda gw’oweereza, ajja kukuwonya.’

Daliyo alemererwa n’okwebaka ekiro kubanga munakuwavu nnyo. Enkeera adduka n’agenda ku kinnya ky’empologoma. Oyinza okumulaba wano. Akoowoola: ‘Danyeri, omuweereza wa Katonda omulamu! Katonda gw’oweereza yasobodde okukuwonya okuva ku mpologoma?’

‘Katonda yatumye malayika we’ bw’atyo Danyeri bw’addamu, ‘n’aziba emimwa gy’empologoma ne zitankolako kabi.’

Kabaka musanyufu nnyo. Alagira Danyeri okuggibwa mu kinnya. Awo n’alagira abasajja ababi abaagezezzaako okutta Danyeri okusuulibwa eri empologoma. Nga tebannaba na kutuuka wansi mu kinnya, empologoma zibataagula ne zimenyaamenya amagumba gaabwe.

Awo Kabaka Daliyo awandiikira abantu bonna mu bwakabaka bwe: ‘Ndagira buli muntu yenna okussa ekitiibwa mu Katonda wa Danyeri. Akola ebyamagero eby’amaanyi. Awonyezza Danyeri okuliibwa empologoma.’

Danyeri 6:1-28.

Ebibuuzo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share