LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • my olugero 102
  • Yesu Mulamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yesu Mulamu
  • Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Similar Material
  • Katonda Azuukiza Omwana We
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Entaana Nkalu—Yesu Mulamu!
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Yesu Azuukizibwa
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Omulambo gwa Yesu Guteekebwateekebwa era Gussibwa mu Ntaana
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
See More
Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
my olugero 102

OLUGERO 102

Yesu Mulamu

OMUKAZI oyo n’abasajja abo ababiri obamanyi? Omukazi ye Malyamu Magudaleene, mukwano gwa Yesu. Ate abasajja abali mu byambalo ebyeru bamalayika. Ekisenge kino ekitono Malyamu ky’atunuddemu kye kifo omulambo gwa Yesu gye gwateekebwa bwe yafa. Kiyitibwa ntaana. Naye kati omulambo gwe teguliimu! Ani yagututte? Ka tulabe.

Oluvannyuma lwa Yesu okufa, bakabona bagamba Piraato: ‘Yesu ng’akyali mulamu yagamba nti ajja kuzuukizibwa oluvannyuma lw’ennaku ssatu. N’olwekyo lagira entaana ye ekuumibwe. Awo abayigirizwa be tebajja kubba mulambo gwe bagambe nti azuukiziddwa okuva mu bafu!’ Piraato agamba bakabona okusindika abaserikale okukuuma entaana.

Naye ku makya nnyo ku lunaku olw’okusatu nga Yesu amaze okufa malayika wa Yakuwa ajja. Aggyawo ejjinja ku ntaana. Abaserikale batya nnyo ne batayinza na kuva mu kifo. Oluvannyuma bwe bagenda okutunula mu ntaana, ng’omulambo teguliimu! Abamu ku baserikale bagenda mu kibuga ne bategeeza bakabona. Omanyi bakabona ababi kye bakola? Bawa abaserikale ssente boogere eby’obulimba. ‘Mugambe nti abayigirizwa be bazze ekiro, nga mwebase, ne babba omulambo,’ bwe batyo bakabona bwe bagamba abaserikale.

Mu kiseera ekyo, abakazi abamu mikwano gya Yesu bajja ku ntaana. Nga beewuunya nnyo bwe basanga ng’entaana nkalu! Amangu ago bamalayika babiri abali mu byambalo ebimasamasa balabika. ‘Lwaki Yesu mumunoonyeza wano?’ bwe batyo bwe babuuza. ‘Azuukiziddwa. Mugende mangu mutegeeze abayigirizwa be.’ Nga abakazi badduka embiro za maanyi! Naye omusajja abayimiriza mu kkubo. Omumanyi? Ye Yesu! ‘Mugende mutegeeze abayigirizwa bange,’ bw’atyo bw’abagamba.

Abakazi bwe bategeeza abayigirizwa nti Yesu mulamu era nti bamulabyeko, abayigirizwa kibazibuwalira okukkiriza. Peetero ne Yokaana badduka ne bagenda ku ntaana beerabireko n’amaaso gaabwe, naye basanga n’gentaana nkalu! Peetero ne Yokaana bwe bavaawo, Malyamu Magudaleene asigalawo. Awo w’atunuulira munda n’alaba bamalayika babiri.

Omanyi ekyatuuka ku mulambo gwa Yesu? Katonda yagubuzaawo. Katonda teyazuukiza Yesu mu mubiri gwe yafiiramu. Yawa Yesu omubiri omuppya ogw’omwoyo, ng’ogwa bamalayika ab’omu ggulu. Naye okulaga abayigirizwa be nti mulamu, Yesu ayambala omubiri abantu gwe basobola okulaba, nga bwe tujja okuyiga.

Matayo 27:62-66; 28:1-15; Lukka 24:1-12; Yokaana 20:1-12.

Ebibuuzo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share