LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • sp lup. 4-6
  • Emyoyo Tegibaddewo era ne Gifa ku Nsi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Emyoyo Tegibaddewo era ne Gifa ku Nsi
  • Emyoyo gy’Abafu Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?
  • Similar Material
  • Kiki Ekituuka ku Muntu ng’Afudde?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Bajjajjaffe Abaafa Bali Ludda Wa?
    Ekkubo Erituusa Mu Bulamu Obutaggwawo​—Olizudde?
  • Ekitundu 4
    Wuliriza Katonda
  • Abafu Bali Ludda Wa?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
See More
Emyoyo gy’Abafu Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?
sp lup. 4-6

Emyoyo Tegibaddewo era ne Gifa ku Nsi

Emyoyo gye giri! Mu ttwale ery’emyoyo eritalabika, waliyo emyoyo emirungi n’emibi. Be bantu abaali babaddewo ku nsi ne bafa?

Nedda, si bo. Omuntu bw’afa, tagenda mu nsi ey’emyoyo, nga bangi bwe balowooza. Kino tukimanyi tutya? Kubanga Baibuli bw’etyo bw’egamba. Baibuli kitabo kya mazima ekyava eri Katonda omu yekka ow’amazima, erinnya lye Yakuwa. Yakuwa yatonda abantu; amanyi bulungi kiki ekibatuukako bwe bafa.​—Zabbuli 83:18; 2 Timoseewo 3:16.

Adamu atondebwa okuva mu nfuufu y’ensi

Adamu yava mu nfuufu, yaddayo mu nfuufu

Baibuli egamba nti Katonda yabumba omuntu omubereberye, Adamu, “n’enfuufu y’ensi.” (Olubereberye 2:7) Katonda yamuteeka mu Lusuku lwe, olusuku Adeni. Singa Adamu yagondera etteeka lya Yakuwa, teyandifudde; yandibadde akyali mulamu ku nsi leero. Naye Adamu bwe yamenya mu bugenderevu etteeka lya Katonda, Katonda yamugamba nti: “Olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw’olidda.”​—Olubereberye 3:19.

Kino kitegeeza ki? Abaffe, Adamu yali ludda wa nga Yakuwa tannamutonda okuva mu nfuufu? Teyaliko waali. Teyali mwoyo ogutannazaalibwa oguli mu ggulu. Teyaliwo. Bwe kityo Yakuwa bwe yagamba Adamu nti ‘yandizzeeyo mu ttaka,’ yali ategeeza nti Adamu yandifudde. Teyasala okugenda mu ttwale ery’emyoyo. Mu kufa, Adamu nate n’afuuka atalina bulamu, ataliiwo. Okufa kutegeeza obutaba na bulamu.

Naye ate abalala abaafa? Nabo tebaliiwo? Baibuli eddamu nti:

  • “Bonna [abantu n’ensolo] bagenda mu kifo kimu; bonna baava mu nfuufu, era bonna badda mu nfuufu nate.”​—Omubuulizi 3:20.

  • “Abafu tebaliiko kye bamanyi.”​—Omubuulizi 9:5.

  • “Okwagala kwabwe n’okukyawa kwabwe era n’obuggya bwabwe bimaze okuzikirira.”​—Omubuulizi 9:6.

  • “Tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde amagezi mu magombe gy’ogenda.”​—Omubuulizi 9:10.

  • “[Omuntu] adda mu ttaka lye; ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.”​—Zabbuli 146:4.

Omusajja avubye ebyennyanja; abasajja baluka ebisero; abasajja bafumba emmmere

Abalamu bokka be basobola okukola ebintu bino

Ebyawandiikibwa bino obisanga nga bizibu okukkiriza? Oba bwe kiri, lowooza ku kino: Mu maka mangi, omusajja akola ssente okulabirira ab’omu maka ge. Omusajja bw’afa, ab’omu maka ge batera okubonaabona. Oluusi mukyala we n’abaana tebabeera wadde na nsimbi zimala okugula emmere. Oboolyawo abalabe b’omusajja babayisa bubi. Kaakano weebuuze: ‘Singa omusajja oyo mulamu mu nsi ey’emyoyo, lwaki teyeeyongera kulabirira ba mu maka ge? Lwaki takuuma ba mu maka ge okuva ku bantu ababi?’ Lwa kubanga ebyawandiikibwa bituufu. Omusajja oyo talina bulamu, tasobola kukola kintu kyonna.​—Zabbuli 115:17.

Nnamwandu n’abaana be nga basabiriza eby’okulya; omusajja ne katabani ke batulugunya nnamwandu n’abaana be

Abafu tebasobola kuyamba bayala oba okukuuma abayisibwa obubi

Kino kitegeeza nti abafu tebaliddamu kuba balamu nate? Nedda, si bwe kitegeeza. Okuzuukira tujja kukwogerako oluvannyuma. Naye kitegeeza nti abafu tebamanyi ky’okola. Tebasobola kukulaba, kukuwulira, oba okwogera naawe. Tolina kubatya. Tebasobola kukuyamba, era tebasobola kukulumya.​—Omubuulizi 9:4; Isaaya 26:14.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share