Abalala Bayinza Batya Okuyamba?
“BWE wabaawo ekintu kyonna kye wandyagadde nkuyambeko, oyinza okuntegeeza.” Bino bye bigambo abasinga obungi ku ffe bye tutera okugamba ow’omukwano oba ow’oluganda aba afiiriddwa. Era ebigambo ebyo tubyogera mu bwesimbu. Tuba twagala okukola kyonna kye tusobola okumuyamba. Naye oyo aba afiiriddwa ayinza okutuyita n’atugamba nti: “Nnina kye nnandyagadde onnyambeko”? Si bwe kitera okuba. Mu butuufu, ffe tulina okusooka okubaako kye tukolawo bwe tuba ab’okubudaabuda abakungubaga.
Olugero lwa Baibuli lugamba: “Ekigambo ekyogerwa nga bwe kisaanye, kiri ng’amapeera aga zaabu mu bisero ebya ffeeza.” (Engero 15:23; 25:11) Kyetaagisa amagezi okusobola okumanya kye tusaanidde okwogera ne kye tutasaanidde kwogera, oba kye tusaanidde okukola ne kye tutasaanidde kukola. Abantu abamu ababa bafiiriddwa bakisanze nti amagezi gano wammanga agava mu Byawandiikibwa gabayambye nnyo.
By’Olina Okukola . . .
Wuliriza: Yakobo 1:19 wagamba: ‘Beera mwangu wa kuwulira.’ Ekimu ku bintu ebisingirayo ddala okuyamba ky’oyinza okukola kwe kulaga nti olumirwa wamu n’afiiriddwa ng’omuwuliriza bw’aba ng’aliko by’akubuulira. Abantu abamu bayinza okwagala okwogera ebikwata ku mufu, akabenje oba obulwadde obuviiriddeko omuntu okufa, oba okwogera ku ngeri gye beewuliramu okuva lwe baafiirwa. N’olwekyo oyinza okubabuuza: “Wandyagadde okubaako ky’otubuulira?” Baleke basalewo. Omuvubuka omu bwe yali ng’ajjukira kitaawe lwe yafa, yagamba: “Kyanyamba nnyo abalala bwe bambuuza ebyabaddewo era ne bawuliriza bulungi.” Ba mugumiikiriza ng’owuliriza era olage nti olumirwa wamu naye, kyokka nga teweeraliikirira nti olina okubaako ky’oyogera oba ky’okola. Baleke boogera kyonna kyonna kye bandyagadde okwogerako.
Bagumye: Bakakase nti baakola kyonna kye basobola (oba yogera kyonna ky’omanyi nga kituufu era nga kizzaamu amaanyi). Bategeeze nti engeri yonna gye beewuliramu, gamba nga, okunakuwala, okusunguwala, okulumirizibwa oba enneewulira endala yonna—etera okutuuka ne ku bantu abalala. Babuulire ku bantu abalala b’omanyi abavvuunuka embeera efaananako n’eyaabwe. Engero 16:24 lugamba nti: ‘Ebigambo ebisanyusa biwonya amagumba.’—1 Abasessalonika 5:11, 14.
Beerawo: Tobeerawo mu nnaku ezisooka zokka ab’eŋŋanda n’ab’emikwano abasinga obungi we babeererawo, naye era ne mu myezi egiddirira ng’abalala bazzeeyo ewaabwe. Bw’okola bw’otyo obeera ‘wa mukwano’ owa nnamaddala atalekerera mukwano gwe mu kiseera ‘eky’obuyinike.’ (Engero 17:17) Teresea eyafiirwa omwana mu kabenje yagamba bw’ati: “Mikwano gyaffe gyakakasa nti buli lwaggulo tubaako bye tukola era ebiseera ebisinga tetwawuubaalanga nga tuli awaka. Ekyo kyatuyamba okwaŋŋanga embeera eyo enzibu.” Emyaka bwe giyitawo, ennaku ezimu, gamba, ng’olwo lwe baafumbiriganirwako oba omugenzi kwe yafiira bwe zituuka, ennaku y’abafiirwa eyinza okweyongera. Lwaki tolamba nnaku ng’ezo ku kalenda yo ne kiba nti buli lwe zituuka ofuba okubakyalira bwe kiba nga kyetaagisa n’obazzaamu amaanyi?
Singa olaba nti waliwo ekyetaaga okukolebwako, tolinda kukusaba—situkiramu okikole
Baako ky’okolawo: Waliwo emirimu egyetaagisa okukolebwa? Waliwo eyeetaagibwa okulabirira abaana? Ab’emikwano n’abeŋŋanda abazze beetaaga aw’okusula? Abantu bwe baba nga baakafiirwa, batera okusoberwa ne baba nga tebamanyi na kya kukola wadde kye bayinza okutegeeza abalala okubayambako. N’olwekyo singa olaba nga waliwo ekyetaagisa okukolebwa, tolinda kukusaba kukikola. (1 Abakkolinso 10:24; geraageranya 1 Yokaana 3:17, 18.) Omukyala omu eyafiirwa mwami we yagamba: “Bangi baŋŋamba nti: ‘Bwe wabaawo kye wandyagadde okukukolerako oyinza okuntegeeza.’ Naye mukwano gwange omu ye teyambuuza kya kukola. Yagenda butereevu mu kisenge, n’aggyako amasuuka agaali gaddugadde n’agooza. Omulala yateeka amazzi mu kalobo n’atandika okukuuta ekiwempe omwami wange kye yali asesemedde. Oluvannyuma lwa wiiki ntono, omu ku bakadde b’omu kibiina yajja ng’ayambadde engoye z’akoleramu era ng’alina n’ebyuma by’akozesa n’ambuuza nti, ‘Waliwo ekintu kyonna ekyetaagisa okuddaabiriza?’ Nga njagala nnyo omukadde oyo olw’okuddaabiriza oluggi olwali lunaatera okuwangukamu era n’okuddaabiriza ebintu ebirala!”—Geraageranya Yakobo 1:27.
Basembeze mu maka go: Baibuli etujjukiza nti: “Temwerabiranga kusembeza bagenyi.” (Abebbulaniya 13:2) Okusingira ddala tulina okujjukira okusembeza abafiiriddwa mu maka gaffe. Mu kifo ky’okubagamba nti “mujje ekiseera kyonna,” babuulire olunaku n’essaawa. Bwe bagaana, toggwaamu maanyi. Oyinza okubaako by’obagamba ebizzaamu amaanyi. Oboolyawo bagaanyi olw’okuba tebaagala kwoleka nneewulira zaabwe nga waliwo abantu abalala. Oba bayinza okuba nga bawulira nti tebasaanidde kulya oba okusanyukirako awamu n’abalala mu kiseera ng’ekyo. Jjukira Ludiya omukyala “eyasembezanga abagenyi” ayogerwako mu Baibuli. Lukka agamba nti, bwe yali abayita mu maka ge, ‘yabeegayirira.’—Ebikolwa 16:15.
Beera mugumiikiriza era okozese okutegeera: Teweewuunya ebyo abo ababa bafiiriddwa bye bayinza okwogera mu kusooka. Jjukira nti bayinza okuba nga bawulira obusungu era nga muli balumirizibwa. Singa boogera naawe mu ngeri ey’obukambwe, kozesa okutegeera era beera mugumiikiriza oleme kubaddamu bubi. Baibuli etukubiriza bw’eti: ‘Mwambalenga omwoyo ogw’ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, n’okugumiikiriza’—Abakkolosaayi 3:12, 13.
Bawandiikire ebbaluwa: Ekitera okubuusibwa amaaso bwe bukulu bw’okuwandiika ebbaluwa oba okuweereza kaadi ezzaamu amaanyi. Lwaki kya muganyulo? Cindy, eyafiirwa maama we eyali alwadde kookolo, yagamba bw’ati: “Mukwano gwange omu yampandiikira ebbaluwa. Ekyo kyannyamba nnyo kubanga nnagisoma enfunda n’enfunda.” Ebbaluwa ng’eyo oba kaadi ezzaamu amaanyi eyinza okubaamu “ebigambo bitonotono,” naye erina okwoleka ekyo ekikuli ku mutima. (Abebbulaniya 13:22) Oyinza okussaamu ebigambo ebiraga nti ofaayo nnyo era nti okyajjukira bulungi ebikwata ku mugenzi oba n’olaga engeri gye wakwatibwako ng’omuntu oyo afudde.
Sabira wamu nabo: Togaya muganyulo oguli mu kusabira awamu n’abo ababa bafiiriddwa. Baibuli egamba nti: “Okusaba kw’omuntu omutuukirivu kwa maanyi.” (Yakobo 5:16, Baibuli y’Oluganda eya 2003) Ng’ekyokulabirako, bwe bakuwulira ng’obasabira, kiyinza okubayamba okuvvuunuka enneewulira embi gamba ng’okulumirizibwa.—Geraageranya Yakobo 5:13-15.
By’Otolina Kukola . . .
Okubeerawo mu ddwaliro kuyinza okuzzaamu amaanyi oyo aba afiiriddwa
Tobeesamba olw’okuba tomanyi kya kwogera oba kya kukola: Tuyinza okugamba bwe tuti: ‘Ndi mukakafu nti mu kiseera kino baagala kubeera bokka.’ Naye, oboolyawo tetwagala kugenda gye bali olw’okuba tutya okwogera oba okukola ekintu ekikyamu. Kyokka, singa oyo aba afiiriddwa takyalirwa ba mikwano, baŋŋanda oba bakkiriza banne, ekyo kimwongera okuwuubaala n’okunakuwala. Kijjukire nti ebigambo n’ebikolwa eby’ekisa bye bisingayo obwangu. (Abeefeso 4:32) Okubeerawo obubeezi kyokka kiyinza okubazzaamu amaanyi. (Geraageranya Ebikolwa by’Abatume 28:15.) Bwe yali ng’ajjukira ebyaliwo mu kufa kwa muwala we, Teresea yagamba: “Mu ssaawa ng’emu yokka akasenge k’eddwaliro kaali kakubyeko ab’emikwano; abakadde bonna ne bakyala baabwe baaliwo. Abakyala abamu baava mu saaluuni nga n’enviiri zaabwe zikyali mbisi, ate abalala baali mu ngoye ze bakoleramu. Baaleka buli kye baali bakola ne bajja. Abasinga obungi ku bo baatugambanga nti baali tebamanyi kya kwogera, naye ekyo tekyali kikulu; ekyali kisinga obukulu kwe kubeerawo kwabwe.”
Tobagaana kukaaba: Tuyinza okubagamba nti ‘Tokaaba.’ Naye okukaaba kwa muganyulo. Bwe yali ng’ajjukira ebyaliwo ng’afiiriddwa omwami we, Katherine yagamba: “Kiba kirungi okuleka omuntu afiiriddwa okwoleka enneewulira ze.” Weewale okubuulira abalala engeri gye basaanidde okwewuliramu. Ate era, tokweka nneewulira zo ng’olowooza nti ekyo kijja kuyamba abalala obutooleka zaabwe. Mu kifo ky’ekyo, ‘kaabira wamu n’abo abakaaba,’ nga Baibuli bw’egamba.—Abaruumi 12:15.
Toyanguwa kubakubiriza kweggyako ngoye oba ebintu ebirala ebibadde eby’omugenzi nga tebannatuusa kubyeggyako: Tuyinza okulowooza nti kyandibadde kirungi singa beggyako ebintu ebiyinza okubajjukiza omufu kubanga biyinza okubaviirako okulwawo nga banakuwavu. Eŋŋombo egamba nti “Ebitalabwako tebijjukirwa,” eyinza obutakola wano. Omuntu afiiriddwa ayinza okwagala omugenzi okumuva mu birowoozo mpolampola. Jjukira ekyo Baibuli ky’eyogera ku ngeri Yakobo gye yeewuliramu bwe yagambibwa nti ensolo enkambwe yali esse mutabani we Yusufu. Yakobo bwe yaweebwa ekizibaawo kya Yusufu nga kiriko omusaayi, “yakungubagira omwana we ennaku nnyingi. Batabani be bonna ne bawala be bonna ne bagolokoka okumusanyusa [“okumubudaabuda,” NW] naye n’agaana okusanyusibwa.”—Olubereberye 37:31-35.
Tobagamba nti, ‘Ojja kufuna omwana omulala’: Maama omu eyafiirwa omwana yagamba nti: “Nnanyiigiranga abantu abaŋŋambanga nti nja kufuna omwana omulala.” Abantu abamu bayinza okwogera bwe batyo nga balina ekigendererwa ekirungi, naye ebigambo ng’ebyo biba ‘bifumita ng’ekitala’ eri abazadde abafiiriddwa abaana. (Engero 12:18) Omwana omu tayinza kudda mu kifo kya mulala. Lwaki? Kubanga buli mwana aba wa njawulo.
Teweewala kwogera ku mufu bwe kiba kyetaagisa: Maama omu yagamba nti: “Abantu bangi baali tebakyayogera ku mutabani wange Jimmy wadde okwogera ku linnya lye. Kino kyannumanga nnyo.” N’olwekyo, tokyusa mboozi singa erinnya ly’omufu lyogerwako. Buuza omufiirwa obanga yandyagadde okwogera ku mufu. (Geraageranya Yobu 1:18, 19 ne 10:1) Abantu abamu ababa bafiiriddwa bawulira bulungi bwe bawulira ng’omuntu ayogera ku ngeri ennungi omugenzi z’abadde nazo.—Geraageranya Ebikolwa by’Abatume 9:36-39.
Toyanguyiriza kugamba nti, ‘Kibadde kisingako affe’: Okugezaako okufuna ensonga eraga nti okufa kw’omuntu kubadde kusaana tekitera ‘kugumya’ bantu bafiiriddwa. (1 Abasessaloniika 5:14) Ng’ajjukira okufa kwa maama we, omukyala omu yagamba: “Abamu baagambanga nti, ‘Awonye obulumi,’ ate abalala nti ‘kasita awummudde.’ Naye ebigambo ebyo byampisanga bubi nnyo.” Ebigambo ng’ebyo biyinza okulaga abafiiriddwa nti tebalina kunakuwala oba nti okufiirwa si kintu kya maanyi nnyo. Kyokka, bayinza okuba nga bawulira bubi nnyo olw’okufiirwa omwagalwa waabwe.
Kiba kirungi okwewala okwogera nti, ‘Mmanyi engeri gye weewuliramu’: Ddala omanyi bw’awulira? Ng’ekyokulabirako, oyinza okumanyira ddala engeri omuzadde gye yeewuliramu ng’afiiriddwa omwana we singa oba tofiirwangako ku mwana? Ne bwe kiba nti wafiirwako, kimanye nti abalala tebayinza kuwulirira ddala nga bwe weewulira. (Geraageranya Okukungubaga 1:12.) Ku luuyi olulala, singa kiba kisoboka, kiyinza okuba eky’omuganyulo okubabuulira engeri gye wasobola okuvvuunukamu obulumi bw’okufiirwa omuntu gwe wali oyagala ennyo. Omukyala omu gwe battira muwala we yazzibwamu nnyo amaanyi omukyala omulala eyafiirwako muwala we bwe yamubuulira engeri gye yavvuunukamu embeera eyo. Yagamba: “Omukyala oyo teyasooka kuŋŋamba nti ‘Mmanyi bw’owulira.’ Wabula, yambuulira bubuulizi ebyo bye yayitamu n’andeka okubikwataganya n’embeera yange.”
Okuyamba omuntu afiiriddwa kyetaagisa ekisa, okutegeera, n’okwagala. Tolinda muntu afiiriddwa kujja gy’oli. Tomugamba bugambi nti, “Singa wabaawo kyonna kye wandyagadde okukuyambako . . . ” Weenonyeze ky’oyinza okukola era okikole.
Waliwo ebibuuzo ebirala ebyebuuzibwa: Ate kiri kitya ku ssuubi eriri mu Baibuli ery’okuzuukira? Lirina makulu ki gy’oli n’eri omwagalwa wo eyafa? Tuyinza tutya okuba abakakafu nti essuubi lino lyesigika?