LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • fy sul. 8 lup. 90-102
  • Kuuma Amaka Go Okuva ku Mbeera Ezoonoona

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kuuma Amaka Go Okuva ku Mbeera Ezoonoona
  • Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ANI ANAAYIGIRIZA ABAANA BO?
  • ENDOWOOZA YA KATONDA KU BY’OKWETABA
  • OMULIMU ABAZADDE GWE BALINA OKUKOLA AWAKA
  • MIKWANO GY’ABAANA BO
  • KWESANYUSAAMU KWA NGERI KI?
  • AMAKA GO GASOBOLA OKUWANGULA ENSI
  • Amaka Go Gayinza Gatya Okubaamu Essanyu?—Ekitundu 2
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Abazadde—Muyambe Abaana Bammwe Okwagala Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Okuzimba Amaka Amanywevu mu by’Omwoyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Tendeka Omwana Wo Okuva mu Buwere
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
fy sul. 8 lup. 90-102

ESSUULA EY’OMUNAANA

Kuuma Amaka Go Okuva ku Mbeera Ezoonoona

Ekifaananyi ekiri ku lupapula 91

1-3. (a) Embeera ezoonoona ezoolekedde amaka zisibuka wa? (b) Mu kukuuma amaka gaabwe, abazadde beetaaga obutagwa lubege mu ngeri ki?

OLI kumpi kusindika katabani ko ku ssomero, naye enkuba efukumuka. Okola otya? Omuleka n’agenda nga talina kya kwebikkirira? Oba omwambaza engoye nnyingi nnyo n’aba nga tasobola na kutambula? Mazima ddala, ku ebyo tekuli ky’okolako. Omuwa ebyo byokka bye yeetaaga obutatoba.

2 Mu ngeri y’emu, abazadde bateekwa obutagwa lubege nga bakuuma amaka gaabwe okuva ku mbeera ezoonoona eziboolekedde okuva mu nsibuko eziwerako​—eby’okwesanyusa, eby’empuliziganya, bannaabwe, era oluusi n’amasomero gennyini. Abazadde abamu bakola kitono oba n’obutabaako kyonna kye bakolawo okukuuma amaka gaabwe. Abalala, olw’okuba kumpi buli kimu ekiva ebweru bakitwala okuba eky’akabi, bakugira nnyo abaana ne babulwako n’obwekyusizo. Kisoboka obutagwa lubege?

3 Yee, kisoboka. Okugwa olubege tekuvaamu muganyulo gwonna era kusobola okuvaako emitawaana. (Omubuulizi 7:16, 17) Naye abazadde Abakristaayo basobola batya obutagwa lubege mu kukuuma amaka gaabwe? Ka tulowooze ku bintu bisatu: eby’obuyigirize, emikwano, n’okwesanyusa.

ANI ANAAYIGIRIZA ABAANA BO?

4. Abazadde Abakristaayo basaanidde kulowooza batya ku by’obuyigirize?

4 Abazadde Abakristaayo obuyigirize babutwala nga bwa muwendo. Bakimanyi nti obuyigirize busobozesa abaana okusoma, okuwandiika, n’okufuna empuliziganya, era n’okugonjoola ebizibu. Era bubayigiriza engeri y’okuyigamu. Ebintu bino abaana bye bayiga mu ssomero bisobola okubayamba newakubadde boolekaganye n’ebizibu by’ensi ey’akakyo kano. Okugatta ku ekyo, obuyigirize obulungi buyinza okubayamba okukola emirimu egy’ekikugu.​—Engero 22:29.

5, 6. Abaana abali mu ssomero bayinza batya okwolekezebwa ebintu ebitali bituufu ku nsonga z’okwetaba?

5 Kyokka, essomero era likuŋŋaanyiza wamu abaana​—bangi ku bo nga balina endowooza enkyamu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ndowooza ze balina ku by’okwetaba n’eby’empisa. Mu ssomero erimu erya sekendule mu Nigeria, omuwala omu eyali omukaba ennyo yawanga bayizi banne amagezi ku by’okwetaba. Baamuwulirizanga, wadde nga bye yabagambanga byalimu eby’obusirusiru bingi bye yaggyanga mu bitabo eby’obugwenyufu. Abamu ku bawala abo baagezaako okuteeka mu nkola amagezi ge yabawa. N’ekyavaamu, omuwala omu yafuna olubuto ate n’afa ng’agezaako okuluggyamu.

6 Eky’ennaku, ebimu ku bikyamu ebyogerwa ku kwetaba tebiva mu baana, naye biva mu basomesa. Abazadde bangi balemesebwa eky’okukola amasomero bwe gayigiriza abaana ebikwata ku bitundu eby’ekyama n’okwetaba naye ne gatoogera ku mitindo gy’empisa ennungi n’obuvunaanyizibwa. Maama w’omuwala ow’emyaka 12 egy’obukulu yagamba: “Tubeera mu kitundu kya bannaddiini, naye mu ssomero lya haaya ery’omu kitundu kyaffe, bawa abaana kondomu!” Omukyala ono ne bba beeraliikirira bwe baakimanya nti muwala waabwe yali asendebwasendebwa okwetaba n’abalenzi bwe benkanya emyaka. Abazadde bayinza batya okukuuma amaka gaabwe obutayonoonebwa?

7. Eby’obulimba ebikwata ku by’okwetaba bisobola bitya okulwanyisibwa?

7 Okukuuma abaana obutawulira kintu kyonna ekyogerwa ku by’okwetaba kye kyandisinze obulungi? Nedda. Ekisingako obulungi kwe kuyigiriza abaana bo ggwe kennyini ebikwata ku by’okwetaba. (Engero 5:1) Kya mazima nti mu bitundu bingi eby’omu Bulaaya ne Amereka ey’Amambuka, abazadde beewalira ddala okwogera ku bintu ebyo. Mu ngeri y’emu, mu nsi ezimu ez’omu Afirika, abazadde tebatera kwogera na baana baabwe ku bya kwetaba. “Tekiri mu buwangwa bw’Abafirika okukikola,” bw’atyo taata omu ow’omu Sierra Leone bwe yagamba. Abazadde abamu balowooza nti bw’oyigiriza abaana ebikwata ku by’okwetaba oba obawa ndowooza ezinaabaleetera okukola obwenzi! Naye Katonda alina ndowooza ki?

ENDOWOOZA YA KATONDA KU BY’OKWETABA

8, 9. Kutegeezebwa ki okulungi okukwata ku by’okwetaba okusangibwa mu Baibuli?

8 Baibuli ekiraga bulungi nti si kya nsonyi n’akamu okwogera ku by’okwetaba mu ngeri entuufu. Mu Isiraeri, abantu ba Katonda baagambibwa okukuŋŋaananga awamu, nga mw’otwalidde “n’abaana abato,” okuwuliriza okusomebwa kw’Amateeka ga Musa. (Ekyamateeka 31:10-12; Yoswa 8:35) Amateeka gaayogeranga kaati ku bintu ebiwerako ebikwata ku bitundu eby’ekyama n’okwetaba, nga mw’otwalidde okulwala kw’abakyala okwa buli mwezi, amaanyi g’abasajja, obwenzi, okulya ebisiyaga, okwetaba ne gw’olinako oluganda, n’okwetaba n’ebisolo. (Eby’Abaleevi 15:16, 19; 18:6, 22, 23; Ekyamateeka 22:22) Awatali kubuusabuusa, oluvannyuma lw’okusomebwa kw’ebitundu ng’ebyo, abazadde baabanga na bingi eby’okunnyonnyola abaana baabwe abaayagalanga okumanya ebisingawo.

9 Waliwo ebitundu mu Engero essuula ey’okutaano, ey’omukaaga, n’ey’omusanvu omuli okubuulirira okw’ekizadde okukwata ku kabi k’obukaba. Ennyiriri zino ziraga nti ebiseera ebimu obukaba buyinza okusikiriza. (Engero 5:3; 6:24, 25; 7:14-21) Naye ziyigiriza nti bubi era n’ebibuvaamu bya kabi, era ziwa obulagirizi obuyamba abavubuka okwewala empisa ez’obukaba. (Engero 5:1-14, 21-23; 6:27-35; 7:22-27) Ate era, enjawulo eragibwa wakati w’obukaba n’okwetaba okusaanidde, okw’omu bufumbo. (Engero 5:15-20) Nga ngeri nnungi nnyo ey’okuyigiriza abazadde gye bayinza okugoberera!

10. Lwaki abaana bwe baweebwa okumanya kwa Katonda okukwata ku by’okwetaba tekibaleetera kukola bwenzi?

10 Okuyigiriza ng’okwo kunaaleetera abaana okukola obwenzi? Okwawukanira ddala ku ekyo, Baibuli eyigiriza nti: “Abatuukirivu baliwonyezebwa olw’okumanya.” (Engero 11:9) Ggwe toyagala kuwonya baana bo kutwalirizibwa nsi eno? Taata omu yagamba: “Okuviira ddala ng’abaana bakyali bato nnyo, tugezezzaako okubeera abeesimbu gye bali nga twogera nabo kaati ku bikwata ku by’okwetaba. Mu ngeri eno, bwe bawulira ng’abaana abalala babyogerako, tebasikirizibwa kuwuliriza. Tewali kikwekeddwa gye bali.”

11. Abaana basobola batya okuyigirizibwa ebikwata ku bitundu eby’ekyama n’okwetaba?

11 Nga bwe kyalabibwa mu ssuula ezaasooka, okuyigiriza ku bitundu eby’ekyama n’okwetaba kusaanidde okutandika nga bukyali. Bw’oba oyigiriza abaana amannya g’ebitundu by’omubiri, ebitundu eby’ekyama tobibuuka ng’olinga agamba nti bya nsonyi. Bayigirize amannya gaabyo amatuufu. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, kyetaagisa okubayigiriza biki ebirina okukuumibwa nga bya kyama. Kyandibadde kirungi abazadde bombi okuyigiriza abaana nti ebitundu bino eby’omubiri bya njawulo, tebisaanira kukwatibwako oba kulabibwa bantu balala, wadde okunyumizibwako mu ngeri embi. Abaana bwe bagenda bakula, basaanidde okubuulirwa engeri omusajja n’omukazi bwe baba awamu okufuna omwana. Emibiri gyabwe we gitandikira okufuna enkyukakyuka, basaanidde okuba nga bamanyi enkyukakyuka ezijja okubaawo. Nga bwe kyayogerwako mu Ssuula 5, okuyigirizibwa kuno era kuyinza okuyamba okukuuma abaana obutakwatibwa.​—Engero 2:10-14.

OMULIMU ABAZADDE GWE BALINA OKUKOLA AWAKA

12. Ndowooza ki enkyamu eziyigirizibwa mu masomero?

12 Abazadde balina okuba abeetegefu okuziyiza ebirowoozo ebikyamu ebiyinza okuba nga biyigirizibwa ku ssomero​—endowooza z’ensi, gamba nga ey’obutakkiririza mu kutondebwa, eya mwoyo gwa ggwanga, oba eyo egamba nti tewali mazima gatuukiridde. (1 Abakkolinso 3:19; geraageranya Olubereberye 1:27; Eby’Abaleevi 26:1; Yokaana 4:24; 17:17.) Abakungu b’oku masomero bangi abeesimbu bagulumiza nnyo eky’okufuna obuyigirize obwa waggulu. Wadde ng’omuntu y’alina okwesalirawo ku lulwe ku ky’okufuna obuyigirize obusingako, abasomesa abamu bawa endowooza nti lye kkubo lyokka erituusa omuntu ku buwanguzi.a​—Zabbuli 146:3-6.

13. Abaana abasoma basobola batya okukuumibwa okuva ku ndowooza enkyamu?

13 Abazadde okusobola okuziyiza enjigiriza enkyamu oba ezinyooleddwanyooleddwa, baba balina okumanyira ddala biki abaana baabwe bye bayigirizibwa. N’olwekyo abazadde, mujjukire nti nammwe mulina omulimu ogw’okukola awaka! Laga nga ddala ofaayo ku misomo gy’abaana bo. Yogera nabo nga bakomyewo ku ssomero. Babuuze bye bayiga, bye basinga okwagala, n’ebisinga okubakaluubirira. Tunuulira ebibaweereddwa okukolera eka, bye bawandiise, n’ebivudde mu bigezo bye bakoze. Gezaako okumanya abasomesa baabwe. Leka abasomesa bakimanye nti osiima omulimu gwe bakola era nti wandyagadde okubayamba mu buli ngeri yonna esoboka.

MIKWANO GY’ABAANA BO

14. Lwaki kikulu nnyo abaana abatya Katonda okulonda emikwano emirungi?

14 “Ekyo wakiyigira wa?” Abazadde bameka ababuuzizza ekibuuzo ekyo, nga beewuunya ekintu omwana waabwe ky’aba ayogedde oba ky’aba akoze ekitamugyamu? Era mirundi emeka lwe kibeera nga kivudde ku mukwano gwe omuppya ku ssomero oba ku muliraano? Yee, mikwano gyaffe balina kinene nnyo kye batukolako, ka tube bato oba bakulu. Omutume Pawulo yalabula: “Temulimbibwanga. Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” (1 Abakkolinso 15:33, NW; Engero 13:20) Naddala abavubuka bangu ba kupikirizibwa bannaabwe. Batera obuteekakasa era oluusi baba baagala nnyo okusanyusa n’okwekolera erinnya mu bannaabwe. Kale nno, nga kikulu nnyo nti balonda emikwano emirungi!

15. Abazadde bayinza batya okuwa abaana baabwe obulagirizi mu kulonda emikwano?

15 Nga buli muzadde bw’amanyi, abaana tebajja kulonda bulungi buli kiseera; beetaaga obulagirizi. Kino tekitegeeza kubalondera mikwano. Wabula, bwe bagenda bakula, bayigirize okwekenneenya obulungi era obayambe okulaba ngeri ki ze banditutte okuba ez’omuwendo mu mikwano gyabwe. Engeri esinga obukulu kwe kwagala Yakuwa n’okukola ekituufu mu maaso ge. (Makko 12:28-30) Bayigirize okwagala n’okuwa ekitiibwa abo abalaga obwesigwa, ekisa, obugabi, n’obunyiikivu. Mu kiseera eky’okuyiga kw’amaka, yamba abaana okwekkaanya engeri ng’ezo mu bantu aboogerwako mu Baibuli era bazuule n’engeri ze zimu mu balala abali mu kibiina. Bateerewo ekyokulabirako ng’ogoberera enkola y’emu mu kulonda mikwano gyo.

16. Abazadde bayinza batya okwekebejja emikwano abaana baabwe gye balonda?

16 Omanyi mikwano gy’abaana bo? Lwaki togamba baana bo babaleeteko eka osobole okubamanya? Era oyinza okubuuza abaana bo abaana abalala kye balowooza ku mikwano gyabwe gino. Bamanyiddwa ng’abalina empisa ennungi oba bamanyiddwa ng’abeefuulafuula kye batali? Bwe baba beefuulafuula kye batali, yamba abaana bo okulaba ensonga lwaki emikwano ng’egyo giyinza okuba egy’akabi. (Zabbuli 26:4, 5, 9-12) Bw’olaba enkyukakyuka z’otoyagala mu nneeyisa y’omwana wo, ennyambala, endowooza, oba enjogera, kiyinza okukwetaagisa okwogera naye ku mikwano gye. Omwana wo ayinza okuba alina mukwano gwe amwonoona.​—Geraageranya Olubereberye 34:1, 2.

17, 18. Ng’oggyeko okubalabula obutaba na mikwano mibi, buyambi ki obw’omugaso abazadde bwe basobola okuwa?

17 Kyokka tekimala kuyigiriza baana bo kwewala bwewazi mikwano mibi. Bayambe okuzuula emikwano emirungi. Taata omu yagamba: “Twagezangako buli kiseera okubafunirayo ekirala. Bwe kityo essomero bwe lyayagala omwana waffe abe mu ttiimu yaalyo ey’omupiira, nze ne mukyala wange twatuula wamu naye ne tumulaga lwaki kyali tekijja kuba kirungi​—olw’emikwano emippya gye yali ajja okufuna. Naye ate ne tuleetawo ekirowoozo eky’okufunayo abaana abalala mu kibiina, tubatwale awazannyirwa asambe nabo omupiira. Era ekyo kyakolera ddala bulungi.”

18 Abazadde ab’amagezi bayamba abaana baabwe okufuna emikwano emirungi ate n’okusanyukira awamu nabo mu ngeri ezimba. Naye, eri abazadde bangi, ensonga eno ey’okwesanyusaamu erimu obuzibu bwayo.

KWESANYUSAAMU KWA NGERI KI?

19. Byakulabirako ki eby’omu Baibuli ebiraga nti si kibi amaka okwesanyusaamu?

19 Baibuli evumirira okwesanyusaamu? N’akatono! Baibuli egamba nti waliwo ekiseera “eky’okusekeramu . . . n’ekiseera eky’okuziniramu.”b (Omubuulizi 3:4) Abantu ba Katonda mu Isiraeri ey’edda baanyumirwanga ennyimba n’amazina, emizannyo n’ebikokyo. Yesu Kristo yagenda ku mbaga ennene ey’obugole era ne ku ‘mbaga ennene’ Matayo Leevi gye yamufumbira. (Lukka 5:29; Yokaana 2:1, 2) Kya lwatu nga Yesu yasanyukirangako awamu n’abalala. Enseko n’okwesanyusa ka bireme kutwalibwa ng’ebibi mu maka go!

Ekifaananyi ekiri ku lupapula 99

Okwesanyusaamu okwalondebwa obulungi, gamba ng’olugendo lw’amaka gano olw’okusulako mu weema, kuyinza okuyamba abaana okuyiga n’okukula mu by’omwoyo

20. Bintu ki abazadde bye balina okujjukira nga bateerawo amaka eby’okwesanyusa?

20 Yakuwa ye “Katonda omusanyufu” (1 Timoseewo 1:11, NW) N’olwekyo okusinza Yakuwa kusaanidde okuba ensibuko y’essanyu, so si kintu ekimalako omuntu essanyu mu bulamu. (Geraageranya Ekyamateeka 16:15.) Mu buzaale abaana baba bacamufu era nga balina amaanyi agasobola okukozesebwa mu kuzannya n’okwesanyusaamu. Okwesanyusaamu okutegekeddwa obulungi tekuba kuzannya buzannyi kyokka. Ngeri eyamba omwana okuyiga n’okukula. Omutwe gw’amaka alina obuvunaanyizibwa obw’okuwa ab’omu maka ge ebyetaagibwa, nga mw’otwalidde n’okwesanyusaamu. Kyokka, weetaagisaawo obutagwa lubege.

21. Mitego ki egiri mu by’okwesanyusaamu eby’omu biseera bino?

21 Mu ‘nnaku zino ez’oluvannyuma’ ezijjudde emitawaana, ensi ejjudde abantu “abaagala essanyu okusinga Katonda,” nga Baibuli bwe yalagula. (2 Timoseewo 3:1-5) Eri bangi, okwesanyusaamu kye kintu ekisinga obukulu mu bulamu. Waliwo eby’okwesanyusaamu bingi nnyo ne kiba nti bisobola okubuutikira ebintu ebisingako obukulu. Ate era, eby’okwesanyusaamu eby’ennaku zino bingi byoleka bya bukaba, ttemu, kwekamirira malagala, era n’enneeyisa endala embi ennyo. (Engero 3:31) Kiki ekiyinza okukolebwa okukuuma abato okuva ku by’okwesanyusaamu eby’akabi?

22. Abazadde basobola batya okuyigiriza abaana baabwe okusalawo ekituufu ku kwesanyusa?

22 Abazadde balina okuteekawo ekkomo n’okukugira. Naye ekisinga ku ekyo, balina okuyigiriza abaana baabwe okumanya okwesanyusa okw’akabi era n’okumanya kwesanyusa kwenkana wa okuba kusukkiridde. Okuyigiriza ng’okwo kwetaagisa ebiseera n’amaanyi. Lowooza ku kyokulabirako kino. Taata w’abalenzi babiri yakyetegereza nti mutabani we omukulu yawulirizanga nnyo omukutu gwa rediyo omuppya. Kale olunaku lumu bwe yali avuga emmotoka ye ng’agenda ku mulimu, taata w’abalenzi abo yateekako omukutu ogwo. Yayimirirangako n’awandiika ebigambo ebyali mu nnyimba ezimu. Oluvannyuma yatuula wamu ne batabani be n’ayogera ku bye yali awulidde. Yababuuza ebibuuzo ebisobola okuggyayo endowooza zaabwe, gamba nga “Mulowooza mutya?” era n’awuliriza bye baddamu n’obugumiikiriza. Oluvannyuma lw’okukubaganya nabo ebirowoozo ku nsonga eyo ng’akozesa Baibuli, abalenzi bakkiriza obutaddayo kuwuliriza mukutu ogwo.

23. Abazadde basobola batya okukuuma abaana baabwe okuva ku by’okwesanyusaamu ebitazimba?

23 Abazadde Abakristaayo ab’amagezi beetegereza ennyimba, programu z’oku ttivi, entambi za vidiyo, ebitabo ebirimu ebisesa, emizannyo gya vidiyo, n’ebifaananyi eby’oku ntimbe ebinyumira abaana baabwe. Bekkaanya ebifaananyi ebiba kungulu, ebigambo by’ennyimba, era n’ekisabika, era basoma okuwumbawumba okuba mu mpapula z’amawulire era ne balabako ku biri mu firimu ezinaalagibwa. Bangi beewuunya “okwesanyusaamu” okumu okwolekezebwa abaana mu biseera bino. Abo abaagala okukuuma abaana baabwe obutayonoonebwa batuula nabo ne boogera ku kabi akabirimu, nga bakozesa Baibuli n’ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli, gamba nga Questions Young People Ask​—Answers That Work n’ebitundu ebiri mu magazini za Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!c Abazadde bwe bateekawo okukugira okunywevu, nga tebakyusakyusa ate nga si bakakanyavu, ebivaamu bitera okuba ebirungi.​—Matayo 5:37; Abafiripi 4:5.

24, 25. Ngeri ki ezizimba ez’okwesanyusaamu amaka ze gayinza okwenyigiramu?

24 Kya lwatu nga okuziyiza engeri z’okwesanyusaamu ez’akabi kitundu butundu eky’olutalo. Ebibi birina kuziyizibwa na birungi, bwe kitaba kityo abaana bayinza okuwaba mu kkubo ekkyamu. Amaka mangi ag’Abakristaayo gabadde n’eby’okwesanyusaamu okulungi emirundi mingi​—okuliirako wabweru w’amaka, okutambulako, okusulako mu weema, okuzannya emizannyo, okukyalira ab’eŋŋanda oba ab’emikwano. Abamu bakizudde nti okusomera awamu mu ddoboozi ery’omwanguka kireeta essanyu lingi. Abamu banyumirwa okunyumya engero ezisesa oba ezisanyusa okuwulira. Ate abalala balina bye bakolera awamu mu biseera byabwe eby’eddembe, gamba ng’okubajja oba emirimu emirala egy’emikono, okukuba ebivuga, okusiiga ebifaananyi, oba okwekenneenya ebitonde bya Katonda. Abaana abanyumirwa ebintu ng’ebyo bakuumibwa okuva ku by’okwesanyusaamu bingi ebitali birungi, era bayiga nti okwesanyusaamu tekiteegeza kutuula butuuzi abalala ne bakusanyusa. Emirundi egisinga okwenyigiramu ggwe kennyini kunyuma okusinga okutunuulira obutunuulizi.

25 Okukuŋŋaanako awamu n’abalala nakwo kusobola okuba engeri y’okwesanyusaamu ey’omuganyulo. Bwe kuba kutegekeddwa bulungi ate nga abantu si bangi nnyo ekiyitiridde era nga tekutwala biseera bingi nnyo, abaana tebajja kukoma ku kukufunamu bufunyi ssanyu. Kusobola okwongera okunyweza okwagalana mu kibiina.​—Geraageranya Lukka 14:13, 14; Yuda 12.

AMAKA GO GASOBOLA OKUWANGULA ENSI

26. Ku bikwata ku kukuuma amaka okuva ku mbeera ezoonoona, ngeri ki esinga obukulu?

26 Awatali kubuusabuusa, okukuuma amaka go galeme kwonoonebwa nsi kyetaagisa okufuba kwa maanyi. Naye waliwo ekintu kimu, okusinga ebirala byonna, ekijja okukusobozesa okutuuka ku buwanguzi. Kwe kwagala! Okwagalana mu maka kujja kufuula amaka go okuba ag’emirembe era kujja kukulaakulanya empuliziganya ennungi, ey’obukuumi ennyo eri embeera ezoonoona. Ate era, kikulu nnyo okukulaakulanya ekika ekirala eky’okwagala​—okwagala Yakuwa. Okwagala ng’okwo nga kubugaanye amaka, abaana bajja kukula nga tebaagalira ddala kunyiiza Katonda nga batwalirizibwa engeri z’ensi ezoonoona. Era abazadde abaagala Yakuwa okuviira ddala mu mutima bajja kufuba okukoppa engeri ze ez’okwagala, obutaba mukakanyavu, era n’obutagwa lubege. (Abeefeso 5:1, Yakobo 3:17) Singa abazadde bakola ekyo, abaana baabwe tebajja kuba na nsonga ebaleetera kutwala kusinza Yakuwa ng’olukalala lw’ebintu ebibagaanibwa okukola oba ng’obulamu omutali kusanyukako oba kusekako, bwe baagala baveemu amangu nga bwe kisoboka. Wabula, bajja kulaba nti okusinza Katonda lye kkubo erisingayo okuba ery’essanyu era erimatiza.

27. Amaka gayinza gatya okuwangula ensi?

27 Amaka agasigala nga gali bumu mu kuweereza Katonda n’essanyu, nga gafuba n’omutima gwonna okusigala nga tegaliiko “bbala newakubadde omusango” okuva ku mbeera ezoonoona ez’ensi eno, galeetera Yakuwa essanyu. (2 Peetero 3:14; Engero 27:11) Amaka ng’ago gaba gatambulira mu bigere bya Yesu Kristo, eyaziyiza buli kyonna ensi ya Setaani kye yakola ng’egezaako okumwonoona. Ku nkomerero y’obulamu bwe obw’obuntu, Yesu yasobola okugamba nti: “Mpangudde ensi.” (Yokaana 16:33) Amaka go ka nago gawangule ensi ganyumirwe obulamu emirembe gyonna!

a Okumanya ebisingawo ku buyigirize obusingawo, laba brocuwa Jehovah’s Witnesses and Education, akakubibwa aba Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc., empapula 4-7.

b Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “okuseka” kiyinza okuvvuunulwa mu ngeri endala nga “okuzannya,” “okusanyusa,” “okujaguza,” oba “okwesanyusa.”

c Byakubibwa aba Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.

EMISINGI GINO EGY’OMU BAIBULI GISOBOLA GITYA OKUYAMBA . . . OKUKUUMA AMAKA GO?

Okumanya kukulembera okutuuka ku magezi, agasobola okuwonya obulamu bw’omuntu.​—Omubuulizi 7:12.

“Amagezi ag’omu nsi muno bwe busirusiru eri Katonda.”​—1 Abakkolinso 3:19.

Emikwano emibi giteekwa okwewalibwa.​—1 Abakkolinso 15:33.

Wadde ng’okwesanyusaamu kulina ekifo kyakwo, kulina okugerebwa.​—Omubuulizi 3:4.

TEYAWULIRA NG’ALINA KY’ASUBWA

Paul ne mukyala we, Lu-Ann, abazadde Abakristaayo, bakuŋŋaanya abantu mu maka gaabwe oluusi n’oluusi. Bakakasa nti enkuŋŋaana zino zitegekebwa bulungi era nga ziba ntonotono. Balina ensonga kwe basinziira okulowooza nti abaana baabwe baganyulwa.

Lu-Ann agamba: “Nnyina w’omwana asoma mu kibiina kye kimu ne mutabani wange Eric, ow’emyaka omukaaga, yantuukirira n’aŋŋamba nti yasaasira Eric olw’okuba yatuula yekka n’ateetaba na kibiina ku bubaga bw’amazaalibwa. Nnamugamba: ‘Nsiimye nnyo okuba nti ofaayo ku mutabani wange mu ngeri bw’etyo. Kindaga nga bw’oli omuntu alumirirwa abalala. Era osanga tewali kye nnyinza kwogera ekiyinza okukumatiza nti Eric tawulira ng’alina ky’asubwa.’ Yakkiriza. Awo ne ndyoka mmugamba nti: ‘Nkusaba ggwe kennyini obuuze Eric bw’awulira, omutima gwo gulyoke gudde mu nteeko.’ Bwe nnali siriiwo, yabuuza Eric nti, ‘Towulira bubi kusubwa bubaga bw’amazaalibwa buno obulungi ennyo?’ Eric yamutunuulira, nga yeewuunya, n’amugamba nti: ‘Olowooza eddakiika ekkumi, ne bukeeke obutonotono, n’oluyimba kaba kabaga? Wandizzeeko ewaffe n’olaba akabaga kennyini bwe kaba!’” Ebbugumu ly’omulenzi oyo lyakiraga kaati​—teyawulira ng’alina ky’afiirwa oba ky’asubwa!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share