LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • gf essomo 3 lup. 5
  • Weetaaga Okuyiga Ebikwata ku Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weetaaga Okuyiga Ebikwata ku Katonda
  • Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
  • Similar Material
  • Osobola Okuba Mukwano gwa Yakuwa
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Katonda Akukubiriza Ofuuke Mukwano Gwe
    Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
  • Engeri y’Okuzuulamu Eddiini ey’Amazima
    Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
  • Olowooza Otya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
See More
Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
gf essomo 3 lup. 5

ESSOMO 3

Weetaaga Okuyiga Ebikwata ku Katonda

Okubeera mukwano gwa Katonda, weetaaga okuyiga ebimukwatako. Mikwano gyo bamanyi erinnya lyo era balikozesa? Yee. Katonda ayagala omanye erinnya lye era olikozese. Erinnya lya Katonda ye Yakuwa. (Zabbuli 83:18; Matayo 6:9) Era oteekwa okuyiga by’ayagala ne by’atayagala. Weetaaga okumanya mikwano gye n’abalabe be. Kitwala ekiseera okumanya omuntu. Baibuli egamba nti kya magezi okuwaayo ebiseera okuyiga ebikwata ku Yakuwa.​—Abeefeso 5:15,16.

Mikwano gya Katonda bakola ebimusanyusa. Lowooza ku mikwano gyo. Singa obayisa bubi era n’okola ebintu bye bataagala, baneeyongera okubeera mikwano gyo? Kya lwatu nedda! Mu ngeri y’emu, singa oyagala okubeera mukwano gwa Katonda, weetaaga okukola ebimusanyusa.​—Yokaana 4:24.

Amaka agamu gayimiridde okumpi n’omulyango omufunda era batunuulira abantu abali mu kkubo effunda

Eddiini zonna tezisobozesa muntu kubeera mukwano gwa Katonda. Yesu, mukwano gwa Katonda asingayo okuba ow’oku lusegere, yayogera ku makubo abiri. Erimu ggazi era lirimu abantu bangi. Ekkubo eryo ligenda mu kuzikirira. Ekkubo eddala ffunda era lirimu abantu batono. Ekkubo eryo lye ligenda mu bulamu obutaggwaawo. Kino kitegeeza nti singa oyagala okubeera mukwano gwa Katonda, oteekwa okutegeera engeri entuufu ey’okumusinzaamu.​—Matayo 7:13, 14.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share