LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • gf essomo 16 lup. 26-27
  • Kirage Nti Oyagala Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kirage Nti Oyagala Katonda
  • Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
  • Similar Material
  • “Katonda Ayagala Oyo Agaba n’Essanyu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Osobola Okuba Mukwano gwa Yakuwa
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Katonda Akukubiriza Ofuuke Mukwano Gwe
    Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
  • Olowooza Otya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
See More
Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
gf essomo 16 lup. 26-27

ESSOMO 16

Kirage Nti Oyagala Katonda

Omusajja asaba era asoma Bayibuli

Okukuuma omukwano gwammwe, weetaaga okwogera ne mukwano gwo. Omuwuliriza, era naye akuwuliriza. Era obuulira abalala ebintu ebirungi ebikwata ku mukwano gwo. Kye kimu n’okubeera mukwano gwa Katonda. Lowooza ku ekyo Baibuli ky’eyogera ku nsonga eno:

Yogera ne Yakuwa obutayosa mu kusaba. “Munyiikirirenga okusaba.”​—Abaruumi 12:12, NW.

Soma Ekigambo kya Katonda, Baibuli. “Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga.”​— 2 Timoseewo 3:16.

Yigiriza abalala ebikwata ku Katonda. “Mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa . . . nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe.”​—Matayo 28:19, 20.

Abajulirwa ba Yakuwa babiri nga babuulira omusajja

Kolagana ne mikwano gya Katonda. “Otambulanga n’abantu ab’amagezi, naawe oliba n’amagezi.”​— Engero 13:20.

Genda mu nkuŋŋaana mu Kingdom Hall. “Tulowoozaganenga fekka na fekka okukubirizanga okwagala n’ebikolwa ebirungi, . . . nga tuzziŋŋanamu amaanyi.”​—Abaebbulaniya 10:24, 25, NW.

Wagira omulimu gw’Obwakabaka. “Buli muntu [aweeyo] nga bw’amaliridde mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw’okuwalirizibwa: kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.”​—2 Abakkolinso 9:7.

Abajulirwa ba Yakuwa nga bali ku Kingdom Hall
    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share