LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be essomo 2 lup. 86-lup. 88 kat. 3
  • Okwogera Ebigambo mu Ngeri Etegeerekeka

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okwogera Ebigambo mu Ngeri Etegeerekeka
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Similar Material
  • Kozesa Bulungi Olulimi Lwo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Mwogerenga Ebigambo ‘Ebirungi Ebisobola Okuzimba Abalala’
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Ossaawo ‘Ekyokulabirako Ekirungi mu Kwogera’? | Omunaala gw’Omukuumi ogw’Okusoma
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Yogera Ebigambo ‘Ebirungi Ebisobola Okuzimba Abalala’
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 2 lup. 86-lup. 88 kat. 3

ESSOMO 2

Okwogera Ebigambo mu Ngeri Etegeerekeka

Kiki ky’osaanidde okukola?

Yogera ebigambo mu ngeri etegeerekeka amangu eri abo abakuwuliriza. Kino kizingiramu (1) okukozesa obulungi ebitundu ebikozesebwa mu kwogera awamu (2) n’okutegeera ensengeka y’ebigambo.

Lwaki Kikulu?

Bw’oyogera obulungi kisobozesa abalala okutegeera by’oyogera. Ebigambo ebyogerwa mu ngeri etegeerekeka bitwalibwa nga bikulu.

OKUSOBOLA okunyumya obulungi n’abalala, oteekwa okwogera mu ngeri etegeerekeka. By’oyagala okubategeeza biyinza okuba nga bisanyusa era nga bikulu nnyo, naye singa biba tebitegeerekeka, abakuwuliriza tebajja kufuna makulu gaabyo.

Abantu bwe baba tebategeera byogerwa tebaganyulwa n’akamu. Omuntu ne bw’aba ng’ayogera mu ddoboozi ery’amaanyi, abantu tebayinza kukubirizibwa kubaako kye bakola singa by’ayogera biba tebitegeerekeka. Aba ng’omuntu ayogera olulimi olugwira, abamuwuliriza lwe batategeera. (Yer. 5:15) Baibuli etujjukiza: “Akagombe bwe kavuga eddoboozi eritategeerekeka, ani alyeteekateeka okulwana? Bwe mutyo nammwe bwe mutaaleetenga mu lulimi eddoboozi eriwulikika amangu, ekyogerwa kinaategeerwanga kitya? Kubanga mulyogera mu bbanga.”​—1 Kol. 14:8, 9.

Kiki Ekireetera Ebyogerwa Obutategeerekeka? Kiyinza okuva ku kulemererwa okwasamya obulungi akamwa. Ebinywa by’emba bwe biba nga byereeze era ng’omuntu tayasamizza bulungi kamwa byayogera biyinza obutategeerekeka.

N’okwogera ng’oyanguyiriza nakwo kuyinza okuleetera by’oyogera obutategeerekeka. Kiyinza okufaananako okuyimbisa akatambi ku sipiidi esukkiridde eyo gye kateekeddwa okuyimbirako. Ebigambo oba obiwulira kyokka nga tofuna makulu gaabyo.

Emirundi egimu, okwogera ebitategeerekeka kiva ku kizibu omuntu ky’aba nakyo mu bitundu by’omubiri ebikozesebwa mu kwogera. Kyokka n’abo abalina ekizibu ng’ekyo, bayinza okwogera obulungi singa bassa mu nkola amagezi agali mu ssomo lino.

Naye, emirundi egisinga, okwogera ebitategeerekeka kiva ku kwatula bubi ebigambo oba okubyogerera okumu okumu awatali kusiriikiriramu we kyetaagisiza. Kiyinza okuva ku kubuuka ennyingo z’ebigambo oba obutayatula nnukuta ezikomererayo ku kigambo. Omuntu bw’ayogerera okumu okumu ebigambo awatali kusiriikiriramu we kyetaagisa, abamuwuliriza bayinza okufunako ensonga ezimu kyokka endala ne bateebereza nteebereze. N’olwekyo, omuntu bw’alemererwa okwogera ebigambo mu ngeri etegeerekeka n’engeri gy’ayigirizaamu tejja kuba nnungi.

Okwogera mu Ngeri Etegeerekeka. Ekimu ku ebyo ebisobozesa omuntu okwogera mu ngeri etegeerekeka kwe kumanya engeri ebigambo gye bisengekebwamu mu lulimi lwe. Mu nnimi ezisinga obungi, ebigambo bibaamu ennyingo. Ennyingo ebaamu ennukuta emu oba n’okusingawo era nga zaatulirwa wamu. Mu nnimi ng’ezo, buli nnyingo y’ekigambo erina okwatulwa ng’oyogera, wadde nga teziggumizibwa mu engeri y’emu. Bw’oba oyagala okulongoosa mu ngeri gy’oyogeramu, toyanguyiriza ng’oyogera, era buli nnyingo gyatule. Mu kusooka, kiyinza obutaba kyangu, naye bwe weeyongera okwegezaamu, ojja kusobola okwogera obulungi. Emirundi egimu, okusobola okwogera obulungi kiba kikwetaagisa okwogerera okumu okumu ebigambo ebimu, naye ekyo kirina okwewalibwa singa kiba kitta amakulu g’ebigambo.

Ky’olina okwegendereza: Okusobola okwogera mu ngeri etegeerekeka, oyinza okwegezaamu ng’osoma ebigambo n’obwegendereza. Naye eyo togifuula njogera yo eya bulijjo. Kijja kweyoleka eri abakuwuliriza nti eyo si ye njogera yo eya bulijjo.

Singa ebigambo by’oyogera biba tebivaayo bulungi, yimusa ku mutwe ng’oyogera. Bw’oba osoma okuva mu Baibuli, gikwatire mu kifo we kitakwetaagisa kukyuka nnyo ng’oggya amaaso ku bakuwuliriza okugazza ku Baibuli. Bw’onookola bw’otyo, kijja kusobozesa by’oyogera okuvaayo obulungi.

Bw’oyogera ng’oli mukkakkamu, nakyo kijja kukuyamba okulongoosa mu ngeri gy’oyogeramu. Kimanyiddwa nti ebinywa by’omu maaso oba ebyo ebiyamba mu kussa bwe byereega, kiremesa omuntu okwogera obulungi. Ebinywa ebyo bwe byereega, kitabangula enkola ennungi ebeerawo wakati w’obwongo bwo, ebitundu ebikuyamba okwogera era n’ebyo ebikuyamba mu kussa.

Ebinywa by’emba birina okuba nga byetadde bisobole okugoberera obulagirizi bw’obwongo. N’emimwa nagyo girina okuba nga tegyereeze. Olina okuba ng’osobola bulungi okwasama n’okubunira amaloboozi gasobole okuvaayo obulungi mu kamwa ne mu bulago. Singa ebinywa by’emba n’eby’emimwa biba byereeze, tojja kwasama bulungi era eddoboozi terijja kuvaayo bulungi. Ekyo kijja kuviirako okwogera ebitategeerekeka. Kyokka, okufuba okulaba nti ebinywa by’emba zo n’eby’omumwa tebyereega tekitegeeza nti oba tosaanidde kufaayo ku ngeri gy’oyatulamu ebigambo. Kikwetaagisa obutagwa lubege osobole okwogera mu ngeri etegeerekeka.

Okusoma mu ddoboozi eriwulikika kiyinza okukuyamba okumanya obanga by’oyogera bitegeerekeka. Weetegereze engeri gy’okozesaamu ebitundu by’omubiri gwo ebyeyambisibwa mu kwogera. Oyasama ekimala by’oyogera bisobole okuvaayo obulungi? Olina okujjukira nti olulimi, si lwe lwokka olukozesebwa mu kwogera, wadde nga lweyambisibwa nnyo. Ensingo, oluba, emimwa, ebinywa by’omu maaso, n’eby’omu bulago byonna birina kye bikola. Bw’oba ng’oyogera, obyeyambisa? Bw’oba tobyeyambisa, kyandiba nti by’oyogera tebitegeerekeka bulungi.

Gezaako okukwata eddoboozi lyo ku lutambi ng’oyogera mu ngeri yo eya bulijjo, nga bwe wandyogedde eri omuntu mu buweereza bw’ennimiro. Kwata eddoboozi lyo okumala eddakiika eziwera. Bw’onoowuliriza by’okutte ku lutambi kiyinza okukuyamba okumanya ebigambo ebimu ebikuzibuwalira okwatula. Weetegereze we walidde ebigambo oba we wabigattise, era manya ekyaviiriddeko ekyo. Singa okolera ku magezi agakuweereddwa waggulu oyinza okuvvuunuka obunafu obwo.

Olina ekizibu mu kwogera? Fuba okwasamya akamwa ko okusinga ku bw’okola bulijjo, era gezaako okwogera nga weegendereza. Jjuzza amawuggwe gwo omukka era yogera nga toyanguyiriza. Okukola ekyo kiyambye bangi abaalina ekizibu mu kwogera, okusobola okwogera mu ngeri etegeerekeka. Bw’oba olina ekirimi, olulimi lwo luggye mu mannyo ag’omu maaso ng’oyatula ennukuta s ne z. Wadde ng’ekizibu ekyo oyinza obutakigonjoolera ddala, toggwaamu maanyi. Jjukira nti Yakuwa yalonda Musa, omusajja eyalina obuzibu mu kwogera, okutuusa obubaka obukulu eri Abaisiraeri era n’eri Falaawo mu Misiri. (Kuv. 4:10-12) Bw’oba oli mwetegefu, naawe ajja kukukozesa, era ajja kuwa obuweereza bwo omukisa.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU

  • Buli kigambo kyogere era kisome bulungi​—mu ngeri etegeerekeka, ng’okozesa eddoboozi erimala, ate ku sipiidi esaanira.

  • Toyanguyiriza era toyogerera kumu kumu bigambo ne kikuviirako okwogera ebitategeerekeka eri abakuwuliriza.

  • Tokoteka mutwe, era akamwa kaasamye bulungi ng’oyogera.

  • Fuba okulaba nti ebinywa by’omu bulago, eby’emba, eby’akamwa n’eby’omu maaso tebyereeze.

EKY’OKUKOLA: Yogera mu ngeri yo eya bulijjo. Akamwa okaasamya kwenkana wa? Weetaaga okukaasamya okusingawo era n’okukozesa ebinywa eby’omu maaso mu ngeri esingawo? Weegezeemu okukola ekyo ng’osoma Matayo 8:23-27 mu ddoboozi eriwulikika. Yimusa omutwe gwo, era gezaako okulaba nti ebinywa by’emba zo tebyereeze.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share