LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be essomo 13 lup. 124-lup. 127 kat. 1
  • Okutunuulira Abakuwuliriza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okutunuulira Abakuwuliriza
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Similar Material
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Faayo ku Bantu —ng’Obatunuulira mu Maaso
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Ennyanjula Esikiriza
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Ebiganyula Abakuwuliriza
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 13 lup. 124-lup. 127 kat. 1

ESSOMO 13

Okutunuulira Abakuwuliriza

Kiki ky’osaanidde okukola?

Tunuulira b’oyogera nabo okumala akaseera akawerako bwe kiba nga kikkirizibwa mu kitundu kyammwe. Tunuulira abantu kinnoomu, so si bonna wamu.

Lwaki Kikulu?

Mu mawanga mangi, bw’otunuulira omuntu mu maaso kiraga nti omufaako. Era kiraga nti by’oyogera obyekakasa.

AMAASO gaffe gooleka endowooza n’enneewulira yaffe. Gasobola okulaga nti weewuunyizza oba otidde. Gasobola okwoleka obusaasizi oba okwagala. Emirundi egimu gooleka nti omuntu abuusabuusa oba nti munakuwavu. Omusajja omu omukadde yayogera bw’ati ku bantu ab’omu nsi ye abaali babonyeebonye ennyo: “Amaaso gaffe gooleka ekituli ku mitima.”

Abamu bayinza okutulowoozaako obubi oba obulungi okusinziira ku ngeri gye tuba tutunuddemu. Mu nsi nnyingi, abantu batera okwesiga omuntu abatunuulira mu ngeri eyoleka okwagala. Ku luuyi olulala, bayinza okubuusabuusa obwesimbu oba obusobozi bw’omuntu ayogera ng’atunula wansi oba ng’atunuulira ekintu ekirala mu kifo ky’okutunuulira oyo gw’ayogera naye. Mu nsi ezimu, okutunuulira omuntu enkaliriza kitwalibwa ng’ekikolwa ekyoleka obukambwe oba obutassa kitiibwa mu muntu. Naddala bw’oba oyogera n’omuntu bwe mutafaananya kikula, omukungu, oba omuntu omulala yenna ow’ekitiibwa. Ate mu nsi endala, singa omuvubuka atunuulira omuntu omukulu enkaliriza ng’ayogera naye kiyinza okutwalibwa nti tamusizzaamu kitiibwa.

Kyokka mu kitundu gye kitatwalibwa bubi, okutunuulira omuntu mu maaso ng’olina ensonga enkulu gy’omunnyonnyola, kiyinza okwongera okuggumiza ensonga gy’oyogerako. Kiyinza okulaga nti omwogezi yeekakasa by’ayogera. Weetegereze Yesu kye yakola abayigirizwa be bwe beewuunya ennyo era ne bagamba nti: “Kale ani ayinza okulokolebwa?” Baibuli egamba: ‘Yesu n’abatunuulira mu maaso, n’abagamba nti: mu bantu ekyo tekiyinzika, naye eri Katonda buli kimu kisoboka.’ (Mat. 19:25, 26) Ate era Ebyawandiikibwa biraga nti n’omutume Pawulo yeetegerezanga engeri abamuwuliriza gye baakwatibwangako ebyo by’ayogera. Lumu, omusajja eyazaalibwa nga mulema yali mu abo abaali bawuliriza nga Pawulo ayogera. Ebikolwa 14:9, 10 wagamba: ‘Omusajja oyo n’awulira Pawulo ng’ayogera: Pawulo n’amwekaliriza amaaso n’alaba ng’alina okukkiriza okulokoka, n’ayogera n’eddoboozi ddene nti Yimirira ku bigere byo, weegolole.’

Kye Tuyinza Okukola nga Tuli mu Buweereza bw’Ennimiro. Bw’obeera mu buweereza bw’ennimiro, yoleka omukwano n’ebbugumu ng’otuukirira abantu. Bwe kiba nga kituukirawo, kozesa ebibuuzo ebinaakuyamba okutegeera omuntu ky’alowooza, kikusobozese okutandika emboozi ekwata ku kintu ekimukwatako. Bw’oba oyogera n’omuntu, gezaako okumutunuulira mu ngeri ey’omukwano era ey’ekisa. Kisikiriza nnyo bw’ossaako akamwenyumwenyu akooleka essanyu. Ekyo kisobola okulaga omuntu oyo nti oli wa mukwano era ne kimuleetera obutakweraliikirira ng’oyogera naye.

Okwetegereza engeri omuntu gy’atunulamu, kiyinza okukuyamba okumanya eky’okukola. Singa omuntu oyo aba munyiivu oba n’alaga nti tayagala by’omubuulira, osobola okukiraba. Era osobola okumanya obanga by’oyogera tabitegeera. Bw’aba nga yeetamiddwa osobola okukimanya. Bw’aba ng’asiima by’oyogera, kino nakyo ojja kukitegeera. Endabika y’omuntu ey’oku maaso esobola okukuyamba okumanya obanga weetaaga okukendeeza ku sipiidi gy’oyogererako, okumusaba naye abeeko ky’ayogera, ggwe kennyini okukomya awo emboozi, oba okweyongera mu maaso omulage engeri y’okuyigamu Baibuli.

Ka kibe nti oli mu buweereza bw’ennimiro oba ng’oyigiriza omuntu Baibuli mu maka ge, fuba okumutunuulira mu ngeri eraga nti omussaamu ekitiibwa. Tomutunuulira nkaliriza, kubanga kiyinza obutamuyisa bulungi. (2 Bassek. 8:11) Naye, mutunuulire mu ngeri eyoleka okwagala. Mu nsi nnyingi ekyo kiba kiraga nti ofaayo ku balala. Kya lwatu, bw’oba osoma okuva mu Baibuli oba mu kitabo ekirala, amaaso go gajja kuba ku ebyo by’osoma. Naye okusobola okuggumiza ensonga, kiyinza okukwetaagisa okutunuulira gw’oyogera naye, kyokka mutunuulire okumala akaseera katono. Singa ogera akaseera n’oddamu n’omutunuulira, kijja kukusobozesa okumanya engeri ebyo by’osomye gye bimukutteko.

Bwe kiba nga kikuzibuwalira okutunuulira omuntu mu maaso olw’okuba olina ensonyi, toggwaamu maanyi. Singa weemanyiiza okutunuulira abantu ng’oyogera nabo, oluvannyuma lw’ekiseera kijja kukubeerera kyangu, era kijja kukuyamba okwogera obulungi n’abalala.

Ng’Owa Emboozi. Baibuli etutegeeza nti nga Yesu tannatandika Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, ‘yayimusa amaaso ge n’atunuulira abayigirizwa be.’ (Luk. 6:20) Koppa ekyokulabirako kye. Bw’oba ogenda kwogera eri ekibinja ky’abantu, sooka obatunuulire okumala akaseera katono nga tonnatandika kwogera. Mu nsi nnyingi, kino kitwaliramu okubaako gw’otunuulira obutereevu. Bw’osooka okutunuulira abawuliriza okumala akaseera katono nga tonnatandika kwogera kijja kukuyamba okuggwaamu ekiwuggwe. Era kino kijja kuyamba abakuwuliriza okutegeera enneewulira gy’oyoleka ku maaso ng’oyogera. Okugatta ku ebyo, kijja kubasobozesa okukkalira mu bifo byabwe era babeere beetegefu okukuwuliriza.

Bw’oba ng’owa emboozi, tunuulira abakuwuliriza, ng’ogezaako okutunuulira abantu kinnoomu. Mu mawanga mangi, omwogezi asuubirwa okutunuulira abamuwuliriza.

Okutunuulira abakuwuliriza tekikoma ku kutambuza butambuza maaso okugaggya ku luuyi olumu okugazza ku lulala. Tunuulira omuntu mu ngeri eraga nti omuwa ekitiibwa, era bwe kiba kisoboka, yogera ebigambo bitonotono ng’omutunuulidde. Bw’omala tunuulira n’omulala, era baako ebigambo bibiri oba bisatu by’oyogera ng’omutunuulidde. Totunuulira muntu omu kumala kiseera kiwanvu ne kiba nti omumalako emirembe. Ate era totunuulira bantu be bamu buli kiseera. Weeyongere okutambuza amaaso go mu ngeri eyo ng’otunuulira abakuwuliriza, naye bw’obaako ne gw’otunuulidde, baako by’oyogera gy’ali era weetegereze engeri gy’akwatibwako ebyo by’oyogera nga tonnamuggyako maaso.

Empapula okuli by’owandiise zirina kubeera ku kameeza omwogezi k’akozesa, oba zikwate mu ngalo, oba ziteeke mu Baibuli, kikwanguyire okuzitunulako amangu. Singa okoteka omutwe ng’osoma bye wawandiise, tojja kusobola kutunuulira bakuwuliriza. Osaanidde okumanya lw’olina okutunuulira bye wawandiise. Singa otunuulira bye wawandiise ng’ofundikira emboozi yo, tojja kumanya engeri abakuwuliriza gye bakwatiddwako era enfundikira yo eyinza obutabamatiza. Mu ngeri y’emu, bw’oba nga buli kiseera otunuulira bye wawandiise, tojja kusobola kutunuulira bakuwuliriza.

Bw’okasukira omuntu omupiira, ofaayo okulaba obanga agukutte. Buli nsonga gy’oyogerako mu mboozi yo obeera nga “agikasukira” abakuwuliriza. Ekiraga nti “bagikutte” ye ngeri gye beeyisaamu gamba, nga banyeenya ku mutwe, nga bamwenyamu oba nga tebakuggyako maaso. Bw’otunuulira abakuwuliriza, osobola okumanya oba nga ensonga zo “bazikutte.”

Singa osabibwa okusomera ekibiina, osobola okugezaako okusoma nga bw’otunuulira abakuwuliriza? Abawuliriza bwe baba bagoberera mu Baibuli zaabwe, abasinga obungi tebajja kumanya obanga obatunuulidde oba nedda. Naye bw’osoma nga bw’otunuulako eri abakuwuliriza, by’osoma bijja kuba binyuvu era kijja kukusobozesa okumanya engeri gye bakwatibwako. Ate singa mu bawuliriza mubaamu abadde tagoberera mu Baibuli era nga tataddeeyo mwoyo, omwogezi bw’amutunuulira kiyinza okumuyamba okussaayo omwoyo ku bisomebwa. Kya lwatu nti ojja kubatunuulira kumala kaseera katono, oleme kusikattira ng’osoma. Ekyo okusobola okukituukiriza, kiba kya magezi okukwata Baibuli yo mu ngalo era ogisome nga tokotese mutwe.

Emirundi egimu, abakadde basabibwa okuwa emboozi ez’okusoma obusomi ku nkuŋŋaana ennene. Okusobola okusoma emboozi ezo, kyetaagisa obumanyirivu, okuteekateeka obulungi, n’okwegezaamu emirundi egiwerako. Kyo kituufu nti emboozi esomebwa obusomebwa tesobozesa bulungi mwogezi kutunuulira bawuliriza. Naye singa omwogezi aba yateeseteese bulungi, aba asobola okutunulako eri abamuwuliriza ng’eno bw’asoma. Bw’akola bw’atyo, kijja kusobozesa abawuliriza okussaayo omwoyo ku ebyo by’ayogera basobole okuganyulwa mu bujjuvu mu bulagirizi bw’eby’omwoyo obuba bubaweebwa.

ENSONGA ZE TULINA OKUJJUKIRA

  • Yogera mu ngeri eya bulijjo era ey’omukwano, ng’ofaayo ku bakuwuliriza.

  • Bw’oba osoma, empapula okuli bye wawandiise zikwate mu ngalo era tokoteka mutwe kikusobozese okutambuza amaaso gokka, so si mutwe.

EKY’OKUKOLA: Ng’onyumya n’ab’omu maka oba ne mikwano gyo, fuba okubatunuulira mu maaso era kikole mu ngeri etuukagana n’empisa y’omu kitundu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share