LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be essomo 15 lup. 131-lup. 134 kat. 4
  • Endabika Ennungi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Endabika Ennungi
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Similar Material
  • Lwaki Kikulu Okufaayo ku Nnyambala Yaffe ne ku Ndabika Yaffe?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Engeri gy’Oyambalamu Eweesa Katonda Ekitiibwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Lwaki Twambala Bulungi nga Tugenda mu Nkuŋŋaana Zaffe?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Endabika Ennungi Eweesa Ekitiibwa
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 15 lup. 131-lup. 134 kat. 4

ESSOMO 15

Endabika Ennungi

Kiki ky’osaanidde okukola?

Yambala engoye ezisaanira era nga nnyonjo. Enviiri zisanirire bulungi. Yimirira oba tuula mu ngeri eraga nti owa abalala ekitiibwa.

Lwaki Kikulu?

Endabika yo erina kinene nnyo ky’ekola ku ngeri abalala gye batwalamu enzikiriza zo ez’Ekikristaayo n’enneeyisa yo.

ENDABIKA yo eraga kiki ky’oli. Wadde nga Yakuwa atunuulira ekiri mu mutima, abantu, bo, balaba ‘bya kungulu.’ (1 Sam. 16:⁠7) Bw’obeera omuyonjo era ng’oyambadde bulungi, abalala bajja kumanya nti weewa ekitiibwa, era kino kijja kubaleetera okukuwuliriza. Ate era bw’oyambala mu ngeri esaanira kijja kuwa abakuwuliriza ekifaananyi ekirungi ku kibiina kya Yakuwa ky’okiikirira awamu ne Katonda gw’osinza.

Emisingi egy’Okugoberera. Baibuli tewa biragiro bingi ku ngeri omuntu gye yandirabiseemu. Naye etuwa emisingi emirungi egiyinza okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Omusingi ogusingayo obukulu kwe ‘kukola ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.’ (1 Kol. 10:31) Misingi ki egikwata ku ndabika yaffe?

Ogusooka, Baibuli etukubiriza okunaaba n’okwoza engoye zaffe. Mu Mateeka Yakuwa ge yawa Isiraeri ey’edda, mwalimu agakwata ku buyonjo. Ng’ekyokulabirako, bakabona bwe baabanga bagenda okuweereza, baalinanga okusooka okunaaba n’okwoza engoye zaabwe. (Leev. 16:​4, 24, 26, 28) Wadde ng’Abakristaayo tebali wansi w’Amateeka ga Musa, emisingi egigalimu gibakwatako. (Yok. 13:10; Kub. 19:⁠8) Naddala bwe tuba tugenda mu bifo gye tusinziza oba nga tuli mu buweereza bw’ennimiro, tulina okukakasa nti emibiri gyaffe, omukka gwe tussa, n’engoye zaffe tebyesittaza balala. Abo abawa emboozi mu kibiina oba abalaga ebyokulabirako ku pulatifomu, balina okuteekawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. Okufaayo ku ndabika yaffe kiraga nti tussa ekitiibwa mu Yakuwa n’ekibiina kye.

Ogw’okubiri, Baibuli etukubiriza okuba abeegendereza n’okwoleka endowooza ennuŋŋamu. Omutume Pawulo yakubiriza abakazi Abakristaayo ‘okubeera abeegendereza nga bambala engoye ezisaanira era n’okwoleka endowooza ennuŋŋamu, nga tebassa ssira ku kulanga nviiri oba ku zaabu ne luulu oba engoye ez’omuwendo omungi; wabula ku ngeri esaanira abakazi abeeyita abatya Katonda.’ (1 Tim. 2:​9, 10) N’abasajja nabo basaanidde okubeera abeegendereza n’okwoleka endowooza ennuŋŋamu mu ngeri gye bambalamu ne gye beekolako.

Omuntu eyeegendereza teyeegulumiza era afaayo obuteesittaza balala. Endowooza ennuŋŋamu esobozesa omuntu okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Omuntu alina engeri ezo tagwa lubege olw’okuba assa ekitiibwa mu misingi gya Katonda. Okwoleka engeri ezo tekitegeeza nti tetulina kwambalako bulungi, wabula engeri ezo zituyamba okwambala mu ngeri esaanira era ne twewala okwekolako ekisukkiridde. (1 Yok. 2:​16) Twagala okukolera ku misingi gino ka tubeere nga tuli mu kifo eky’okusinzizaamu, nga tuli mu nnimiro, oba nga tukola emirimu emirala. N’engoye ze twambala mu biseera byaffe eby’eddembe zirina okulaga nti tuli beegendereza era nti tulina endowooza ennuŋŋamu. Nga tuli ku ssomero oba ku mirimu gyaffe, tuyinza okufuna akakisa okubuulira embagirawo. Wadde nga tuyinza okuba nga tetwambadde mu ngeri gye twambalamu nga tuli mu nkuŋŋaana, engoye zaffe zirina okuba nga nnyonjo era nga zisaanira.

Kya lwatu ffenna tetwambala mu ngeri y’emu. Era tetusuubirwa kwambala mu ngeri y’emu. Buli muntu abaako n’ekimusingira obulungi. Naye, tetusaanidde kusuula muguluka obulagirizi bwa Baibuli.

Omutume Peetero yalaga nti ekintu ekikulu ennyo okusinga emisono gy’enviiri n’engoye, kwe kuba ‘n’omuntu ow’omwoyo atalabika.’ (1 Peet. 3:​3, 4) Bwe tubeera n’okwagala, essanyu, emirembe, ekisa n’okukkiriza okunywevu, tuba twambadde ebyambalo eby’omwoyo ebiweesa Katonda ekitiibwa.

Ogw’okusatu, Baibuli etukubiriza okukakasa nti endabika yaffe esaanira. Timoseewo Ekisooka 2:​9, woogera ku “byambalo ebisaana.” Wadde ng’omutume Pawulo yali ayogera ku byambalo by’abakazi, omusingi ogwo gukwata ne ku basajja. Ekintu ekisaanira kiba kiyonjo era nga kirungi. Ka tube bulungi mu by’enfuna oba nedda, ffenna tusobola okwambala mu ngeri esaanira.

Ekimu ku bintu abalala bye basooka okulaba ku ndabika yaffe ze nviiri. Zirina okuba nga nnyonjo era nga nsanirire bulungi. Engeri enviiri z’abantu gye zifaananamu kitera okusinziira ku mpisa y’omu kitundu n’ekika ky’enviiri. Mu 1 Abakkolinso 11:​14, 15, mulimu okubuulirira kw’omutume Pawulo okukwata ku misono gy’enviiri, era nga kirabika yalowooza ku bintu ebyo ebibiri. Kyokka, singa omusono gw’enviiri guleetera omusajja okulabika ng’omukazi oba omukazi okulabika ng’omusajja, kino kiba kikontana n’emisingi gya Baibuli.​​​—⁠Ma. 22:⁠5.

Abasajja okusobola okulabika obulungi balina okumwa obulungi ebirevu. Mu bifo gye kitwalibwa nti si kibi okubeera n’amasuulubbu, oyo abeera nago asaanidde okugakomola obulungi.

Ogw’okuna, endabika yaffe terina kwoleka nti twagala ensi n’amakubo gaayo. Omutume Yokaana yalabula: “Temwagalanga nsi newakubadde ebiri mu nsi.” (1 Yok. 2:​15-​17) Okwegomba okubi kucaase nnyo mu nsi. Mu bintu Yokaana by’ayogerako mwe muli okwegomba okw’omubiri n’okwenyumiririza mu by’obugagga. Ate era Ebyawandiikibwa byogera ku bujeemu, oba obutagondera ba buyinza. (Nge. 17:11; Bef. 2:⁠2) Okwegomba okwo n’endowooza ezifaananako bwe zityo bitera okweyolekera mu ngeri abantu gye bambalamu era n’engeri gye beekolako. N’olwekyo, endabika yaabwe eyinza obutaba nnungi n’akamu. Ng’abaweereza ba Yakuwa, twewala emisono egyoleka engeri ng’ezo ez’ensi.

Nga kyandibadde kirungi nnyo okukoppa ennyambala n’okwekolako eby’abakazi n’abasajja abakuze mu by’omwoyo abali mu kibiina Ekikristaayo mu kifo ky’okukoppa ensi! Abavubuka abaluubirira okuwa emboozi za bonna mu biseera eby’omu maaso, bayinza okwetegereza ennyambala y’abo abawa emboozi ezo. Ffenna tusobola okuyigira ku kyokulabirako ekiteekeddwawo abo abaweerezza n’obwesigwa okumala emyaka mingi.​​​—⁠1 Tim. 4:​12; 1 Peet. 5:​2, 3.

Ogw’okutaano, nga tusalawo ennyambala n’okwekolako ebisaanira, tusaanidde okujjukira nti “ne Kristo teyeesanyusanga yekka.” (Bar. 15:⁠3) Ekintu ekyali kisinga obukulu mu bulamu bwa Yesu kwali okukola Katonda by’ayagala. Ate era Yesu yakulembezanga ebyetaago by’abalala mu kifo ky’okusoosa ebibye ku bubwe. Kiba kitya singa emisono egimu egy’ennyambala n’okwekolako giyinza okwesittaza abantu b’omu kitundu gye tubuulira? Bwe tukoppa obuwombeefu Kristo bwe yayoleka kiyinza okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Omutume Pawulo yawa omusingi guno: ‘Tetulina kwesittaza bantu mu kintu kyonna.’ (2 Kol. 6:​3, NW) N’olw’ensonga eyo, tuyinza okulekayo emisono gy’enviiri oba ennyambala ebiyinza okuleetera abantu be tubuulira obutatuwuliriza.

Okuyimirira. Endabika ennungi ezingiramu n’okuyimirira obulungi. Kya lwatu, ffenna tetuyimirira mu ngeri y’emu. Kyokka, okusinziira ku Baibuli, omuntu okuyimirira nga yenna yeegolodde bulungi aba alaga nti yeewa ekitiibwa. (Leev. 26:13; Luk. 21:28) Kyokka, oluvannyuma lw’emyaka mingi ng’akola akutaamiridde oba olw’obukadde oba olw’obulwadde, ow’oluganda ayinza obutasobola kuyimirira nga yeegolodde bulungi oba ayinza okwetaaga okwewanirira ku kintu. Naye oli bw’aba asobola, kiba kirungi okuyimirira obusimba ng’ayogera n’abalala aleme kubawa kifaananyi kibi oba okulabika ng’eyeebwalabwala. Ate era, wadde ng’oluusi n’oluusi omwogezi ayinza okuteeka emikono gye ku kameeza k’akozesa, tekyandibadde kirungi emikono gye okugirekera ddala okwo.

Eby’Okukozesa Ebiyonjo. Tetusaanidde kufaayo ku ndabika yaffe yokka, naye era ne bye tukozesa mu buweereza bw’ennimiro birina okubeera ebiyonjo.

Faayo ku Baibuli yo. Buli omu ku ffe ayinza obutasobola kufuna Baibuli mpya nga gye tubadde tukozesa ekaddiye. Kyokka, ka tube nga tumaze nayo bbanga ki, engeri gy’efaananamu yandiraze nti tugikuumye bulungi.

Kya lwatu, waliwo engeri nnyingi ez’okutegekamu ebitabo mu nsawo zaffe ze tukozesa mu kubuulira, naye tulina okukakasa nti bitegekebwa bulungi. Wali olabyeko empapula nga zigwa okuva mu Baibuli ng’omubuulizi agenda okusomera omuntu ekyawandiikibwa, oba ng’ow’oluganda awa emboozi mu kibiina? Ekyo tekyawugula ebirowoozo byo? Bwe kiba nti empapula z’otadde mu Baibuli ziyinza okuviirako abantu okuwugulibwa, okuziteeka mu kifo ekirala kijja kulaga nti by’okozesa obitegeka bulungi. Ate era kijjukire nti mu bitundu ebimu okuteeka Baibuli oba ebitabo ebikwata ku ddiini wansi ku ttaka kitwalibwa ng’obitabiwa kitiibwa.

Okuba n’endabika ennungi twandikitutte nga kikulu nnyo. Ate era kirina kinene nnyo kye kikola ku ngeri abalala gye batutwalamu. Naye okusinga byonna, tufaayo ku ndabika yaffe olw’okuba twagala ‘okulungiya okuyigiriza kw’Omulokozi waffe Katonda, mu byonna.’​​​—⁠Tit. 2:​10.

KEBERA ENDABIKA YO

  • Buli kimu kiyonjo?

  • Endabika yo eraga nti oli mwegendereza?

  • Ensawo yo etegekeddwa bulungi?

  • Enviiri zo nsanirire bulungi?

  • Waliwo ekintu kyonna mu ndabika yo ekiyinza okwoleka nti oyagala ensi?

  • Waliwo ensonga yonna kw’oyinza okusinziira okulowooza nti endabika yo eyinza okwesittaza omuntu?

EKY’OKUKOLA: Omulundi gumu buli lunaku okumala wiiki nnamba, k’obe ng’oteekateeka kukola ki, weekebere nga weeyambisa ebibuuzo ebiri mu kasanduuko akalina omutwe: “Kebera Endabika Yo,” ku lupapula 132.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share