ESSOMO 49
Okuwa Obukakafu Obumatiza
BW’OBAAKO ky’oyogera, abakuwuliriza bayinza okwebuuza: “Ekyo ky’ayogedde kituufu? Bukakafu ki obulaga nti bituufu?” Ng’omusomesa, ogwanidde okuddamu ebibuuzo ng’ebyo oba okuyamba abakuwuliriza okufuna eby’okuddamu. Singa ensonga gy’oyogerako eba nkulu nnyo, kakasa nti abakuwuliriza obawa obukakafu obumala. Kino kijja kukuyamba okumatiza obulungi abakuwuliriza.
Omutume Pawulo yayogeranga mu ngeri ematiza. Yasobola okuyamba abaamuwulirizanga okukyusa endowooza yaabwe ng’akubaganya nabo ebirowoozo era ng’abannyonnyola mu ngeri ematiza. Yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. (Bik. 18:4; 19:8) Kya lwatu, aboogezi abamu mu nsi bakozesa ebigambo ebisikiriza okukubiriza abantu okukola ebikyamu. (Mat. 27:20; Bik. 14:19; Bak. 2:4) Bayinza okutandika nga bawa endowooza enkyamu, ne bagyesigamya ku nsibuko eziteesigika, ne batawa bukakafu bumatiza, ne babuusa amaaso endowooza ezaawukana ku yaabwe, oba ne baleetera abantu okukkiriza endowooza yaabwe kyokka nga tebabawadde bukakafu bumatiza. Tulina okwewala okukola bwe tutyo.
Bwesigamye ku Kigambo kya Katonda. Bye tuyigiriza tebirina kwesigamizibwa ku magezi gaffe. Tufuba okubuulira abalala ebyo bye tuyize okuva mu Baibuli. Mu mulimu gwaffe ogw’okuyigiriza abantu Baibuli tweyambisa nnyo ebitabo ebikubiddwa omuddu omwesigwa era ow’amagezi. Ebitabo ebyo bituyamba okwekenneenya Ebyawandiikibwa n’obwegendereza. Oluvannyuma lw’okubyekenneenya, tuyigiriza abantu nga tulina ekigendererwa eky’okubalaga ekyo Baibuli ky’egamba, so si okubalaga nti ffe batuufu. Tukkiriziganya n’ebigambo Yesu Kristo bye yayogera ng’asaba Kitaawe nti: “Ekigambo kyo ge mazima.” (Yok. 17:17) Olw’okuba Yakuwa Katonda, Omutonzi w’eggulu n’ensi y’asingiridde obuyinza, obukakafu bwe tuwa okusobola okuba nga bwesigika bulina kwesigamizibwa ku Kigambo kye.
Oluusi oyinza okwogera n’abantu abatamanyi Baibuli ky’egamba oba abo abatagitwala nti Kigambo kya Katonda. Ng’oyogera n’abantu ng’abo kikwetaagisa okumanya ddi lwe wandikozesezza Ebyawandiikibwa era na ngeri ki gye wandibikozesezzaamu. Naye wandifubye okubalaga nti by’obabuulira byesigamiziddwa ku Baibuli amangu ddala nga bwe kisoboka.
Wandibadde n’endowooza nti bw’okozesa ekyawandiikibwa ekituukirawo oba owadde obukakafu obumala? Nedda. Kiyinza okukwetaagisa okubalaga ennyiriri eziriraanyewo basobole okukakasa nti ekyawandiikibwa ky’osomye kiwagira ensonga gy’oyogerako. Bw’oba onokolayo bunokozi musingi oguli mu kyawandiikibwa era ng’ensonga gye kyogerako si yeeyo yennyini gy’oyogerako, kiyinza okukwetaagisa okuwa obukakafu obusingawo. Kiyinza okukwetaagisa okukozesa ebyawandiikibwa ebirala ebyogera ku nsonga eyo osobole okukakasa abakuwuliriza nti by’oyogera ddala byesigamiziddwa ku Byawandiikibwa.
Weewale okwongeramu ebitali mu kyawandiikibwa. Kisome n’obwegendereza. Ekyawandiikibwa kiyinza okuba nga kikwatagana n’ensonga gye mwogerako. Kyokka, oyo gw’oyogera naye okusobola okumatira obulungi, aba alina okukiraba nti ekyawandiikibwa ekyo kikakasizza ky’omugambye.
Obukakafu Okuva mu Nsonda Endala. Ng’oggyeko okukozesa obukakafu obuli mu Baibuli, mu mbeera ezimu kiyinza okuba ekirungi okuwa obukakafu okuva ku nsibuko endala eyeesigika okusobola okuyamba abantu okutegeera ekintu ekyogerwako mu Byawandiikibwa.
Ng’ekyokulabirako, oyinza okukozesa obutonde obulabika okuwa obukakafu obulaga nti waliwo Omutonzi. Oyinza okulaga omuntu nti okubeerawo kw’obutonde, gamba ng’amaanyi agasika ebintu okubizza ku ttaka, bukakafu obulaga nti waliwo Omuteesi w’Amateeka. Omuntu oyo ajja kumatira singa by’oyogera obyesigamya ku Kigambo kya Katonda. (Yobu 38:31-33; Zab. 19:1; 104:24; Bar. 1:20) Okuwa obukakafu ng’obwo kiyamba kubanga kiraga gw’oyogera naye nti ekyo Baibuli ky’eyogera kikwatagana n’ebintu ebiriwo.
Olina gw’ogezaako okuyamba okutegeera nti Baibuli Kigambo kya Katonda? Oyinza okumubuulira ku bakugu abamu abakakasa nti Baibuli Kigambo kya Katonda, naye ekyo ku bwakyo kiba kimala? Singa ojuliza abakugu ng’abo kijja kuganyula bantu ababakkiririzaamu. Kisoboka okweyambisa sayansi okulaga nti Baibuli ntuufu? Singa weeyambisa endowooza za bannasayansi abatatuukiridde ng’okakasa by’oyogera, obeera ozimbira ku musingi omunafu. Ku luuyi olulala, singa osooka okulaga omuntu Ekigambo kya Katonda kye kigamba ate oluvannyuma n’omulaga n’ebyo ebivumbuddwa mu sayansi ebiraga nti Baibuli ntuufu, by’oyogera bijja kuba ku musingi omunywevu.
Buli ky’oba oyagala okukakasa omuntu, muwe obukakafu obumala. Obukakafu bw’onoowa bujja kusinziira ku ekyo abakuwuliriza kye bamanyi. Ng’ekyokulabirako, bw’oba ng’oyogera ku nnaku ez’enkomerero nga bwe zoogerwako mu 2 Timoseewo 3:1-5, oyinza okutegeezaayo abakuwuliriza ekintu kimu ekibadde mu mawulire ekiraga nti abantu ‘tebalina kwagala.’ Ekyokulabirako ekyo ekimu kiyinza okumala okukakasa omuntu nti akabonero ako akakwata ku nnaku ez’enkomerero katuukirizibwa mu kiseera kino.
Ekintu ekirala ekiyinza okukuyamba okuwa obukakafu obumatiza kwe kugeraageranya ekyo ky’oyogerako ku kintu ekirala ekikifaananako. Okugerageranya ebintu mu ngeri eyo ku bwakyo tekikakasa nti ky’oyogera kituufu; wabula era oba olina okulaga ekyo Baibuli ky’egamba. Bw’ogeraageranya ebintu mu ngeri eyo kiyinza okuyamba omuntu okutegeera obulungi ensonga. Ng’ekyokulabirako, okusobola okuyamba omuntu okutegeera nti Obwakabaka bwa Katonda gavumenti oyinza okumugamba nti okufaananako gavumenti z’abantu, Obwakabaka bwa Katonda bulina abafuzi, abafugibwa, amateeka, abalamuzi n’enteekateeka ey’okuyigiriza abantu.
Ebituuse ku bantu abamu oyinza okubyeyambisa okulaga obukulu bw’okussa mu nkola okubuulirira kwa Baibuli. Naawe kennyini by’oyiseemu mu bulamu nabyo biyinza okukozesebwa okukakasa by’oyogera. Ng’ekyokulabirako, bw’oba onnyonnyola omuntu nti kikulu okusoma Baibuli, oyinza okumutegeeza engeri gye kirongoosezzaamu obulamu bwo. Okusobola okuzzaamu baganda be amaanyi, omutume Peetero yababuulira ku kufuusibwa kwa Yesu, ye kennyini kwe yalabako n’amaaso ge. (2 Peet. 1:16-18) Ne Pawulo yayogera ku ebyo bye yayitamu. (2 Kol. 1:8-10; 12:7-9) Kya lwatu, osaanidde okwegendereza ng’oyogera ebikukwatako ebirowoozo by’abakuwuliriza bireme kudda ku ggwe.
Okuva abantu bwe baawukana mu ndowooza era nga ne bye bayiseemu bya njawulo, ekimatiza omuntu omu kiyinza obutamatiza mulala. N’olwekyo, sooka omanye endowooza z’abakuwuliriza ng’osalawo obukakafu bw’onookozesa n’engeri gy’onoobukozesaamu. Engero 16:23 (NW) wagamba: “Omutima gw’omuntu ow’amagezi gusobozesa akamwa ke okwogera eby’amagezi, era emimwa gye gyogera ebimatiza.”