LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • cl sul. 7 lup. 79-90
  • Amaanyi ag’Obukuumi—“Katonda Kye Kiddukiro Kyaffe”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Amaanyi ag’Obukuumi—“Katonda Kye Kiddukiro Kyaffe”
  • Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Katonda Asuubiza Okutukuuma
  • “Katonda Waffe . . . Asobola Okutuwonya”
  • Obukuumi bwa Katonda Kye Butategeeza
  • Yakuwa Akuuma Obulamu Bwaffe
  • Yakuwa Atukuuma mu by’Omwoyo
  • ‘Laba! Ono Ye Katonda Waffe’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • “Anaabeera Mukwano Gwo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Okubeera Abantu ba Yakuwa—Kisa kya Nsusso
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Yakuwa Ye Musumba Waffe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
See More
Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
cl sul. 7 lup. 79-90
Omusumba ng’asitulidde akaliga mu kifuba kye.

ESSUULA 7

Amaanyi ag’Obukuumi—“Katonda Kye Kiddukiro Kyaffe”

1, 2. Abayisirayiri baali mu kabi ki bwe baatuuka mu kitundu ekiyitibwa Sinaayi mu 1513 E.E.T, naye Yakuwa yabazzaamu atya amaanyi?

ABAYISIRAYIRI baali mu kabi bwe baatuuka mu kitundu ekiyitibwa Sinaayi mu 1513 E.E.T. Baali bagenda kutindigga olugendo okuyita mu ‘ddungu eddene era ery’entiisa, omwali emisota n’enjaba eby’obusagwa.’ (Ekyamateeka 8: 15) Era baali mu kabi ak’okulumbibwa amawanga ag’obulabe. Yakuwa ye yali atuusizza abantu be mu mbeera eno. Nga Katonda waabwe, yandisobodde okubakuuma?

2 Ebigambo Yakuwa bye yayogera byali bizzaamu nnyo amaanyi. Yagamba nti: “Mmwe mmwennyini mwalaba kye nnakola Abamisiri, okusobola okubasitula ng’empungu ku biwaawaatiro byange mbaleete gye ndi.” (Okuva 19:4) Yakuwa yajjukiza abantu be nti yali abanunudde okuva e Misiri, mu ngeri ey’akabonero, ne baba ng’empungu beesitudde n’ebatwala mu kifo awatali kabi. Kyokka waliwo n’ensonga endala lwaki ebigambo “ebiwaawaatiro by’empungu” byoleka bulungi obukuumi bwa Katonda.

3. Lwaki ‘ebiwaawaatiro by’empungu’ biraga bulungi engeri Yakuwa gy’akuumamu abantu be?

3 Empungu tekozesa biwaawaatiro byayo ebinene era eby’amaanyi mu kubuuka kwokka. Akasana bwe kaba keememula, eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo, ebiweza ffuuti musanvu, okubikka abaana baayo baleme okwokebwa akasana. Ate mu biseera eby’obunnyogovu ebikka abaana baayo n’ebiwaawaatiro. Ng’empungu bw’ekuuma abaana baayo, ne Yakuwa bw’atyo bwe yakuuma eggwanga lya Isirayiri. Nga bali mu ddungu, abantu be bandyeyongedde okufuna obukuumi bwe, bwe bandisigadde nga beesigwa gy’ali. (Ekyamateeka 32:9-11; Zabbuli 36:7) Mu kiseera kino, naffe tuyinza okusuubira Katonda okutukuuma?

Katonda Asuubiza Okutukuuma

4, 5. Lwaki tuli bakakafu nti Katonda ajja kutukuuma?

4 Mazima ddala, Yakuwa asobola okukuuma abaweereza be. Ye “Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna,” ekitiibwa ekiraga nti alina amaanyi mangi nnyo. (Olubereberye 17:1) Okufaananako amayengo g’ennyanja agatayinza kuziyizibwa kutuuka ku lubalama, amaanyi ga Yakuwa tegayinza kuziyizibwa. Ekyo kiri bwe kityo kubanga asobola okukola kyonna ky’ayagala. Tuyinza okwebuuza nti, ‘Yakuwa ayagala okukozesa amaanyi ge okukuuma abantu be?’

5 Eky’okuddamu kiri nti, yee! Mu Bayibuli, Yakuwa atukakasa nti ajja kukuuma abantu be. Zabbuli 46:1 egamba nti: “Katonda kye kiddukiro kyaffe era ge maanyi gaffe, bulijjo abaawo okutuyamba nga tuli mu buzibu.” Okuva Katonda ‘bw’atayinza kulimba,’ tuli bakakafu nti ajja kutukuuma nga bwe yasuubiza. (Tito 1:2) Ka tulabe ebyokulabirako Yakuwa by’akozesa okulaga engeri gy’atuwaamu obukuumi.

6, 7. (a) Omusumba w’omu biseera by’edda yakuumanga atya endiga ze? (b) Bayibuli eraga etya nti Yakuwa ayagala nnyo okukuuma n’okulabirira endiga ze?

6 Yakuwa ye Musumba waffe; “tuli bantu be era tuli ndiga ez’omu ddundiro lye.” (Zabbuli 23:1; 100:3) Nsolo ntono nnyo ezeetaaga obukuumi obw’amaanyi ng’endiga. Omusumba ow’omu biseera by’edda yalinanga okubeera omuvumu okusobola okukuuma endiga ze zireme kulumbibwa mpologoma, ebibe, amalubu, awamu n’ababbi. (1 Samwiri 17:34, 35; Yokaana 10:12, 13) Naye emirundi egimu okukuuma endiga kyazingirangamu okuzikwata n’obwegendereza. Endiga bwe yazaaliranga ewala n’ekisibo, omusumba afaayo yagikuumanga, ate oluvannyuma n’asitula omwana gwayo n’agutwala mu kisibo.

Omusumba ng’asitulidde akaliga mu kifuba kye.

‘Alibasitulira mu kifuba kye’

7 Nga yeegeraageranya ku musumba, Yakuwa atukakasa nti ayagala nnyo okutukuuma. (Ezeekyeri 34:11-16) Jjukira engeri Yakuwa gy’ayogerwako mu Isaaya 40:11, olunnyonnyolwa mu Ssuula 2 mu katabo kano. Olunyiriri olwo lugamba nti: “Okufaananako omusumba, ajja kulabirira ekisibo kye. Ajja kukuŋŋaanya endiga ento n’omukono gwe, era ajja kuzisitulira mu kifuba kye.” Akaana k’endiga katuuka katya okubeera mu “kifuba” ky’omusumba? Kayinza okusemberera omusumba ne keekulukuunya ku magulu ge. Kyokka omusumba y’alina okukutama n’asitula akaliga ako n’akateeka mu kifuba kye. Ekyo kyoleka bulungi engeri Omusumba waffe ow’Ekitalo gy’ayagala ennyo okutukuuma.

8. (a) Baani Katonda b’akuuma, era kino kiragibwa kitya mu Engero 18:10? (b) Kiki kye tulina okukola okusobola okufuna obukuumi mu linnya lya Katonda?

8 Okusobola okufuna obukuumi bwa Katonda, waliwo ekyetaagisa. Abo bokka abalina enkolagana ennungi naye be bayinza okubufuna. Engero 18:10 lugamba nti: “Erinnya lya Yakuwa kigo kya maanyi. Omutuukirivu addukira omwo n’afuna obukuumi.” Mu biseera by’edda, ebigo byazimbibwanga mu ddungu okuba ebifo eby’obukuumi. Naye kyabanga eri oyo eyabanga mu kabi okuddukira mu kigo ng’ekyo okufuna obukuumi. Bwe kityo bwe kiri ku bikwata ku kufuna obukuumi mu linnya lya Katonda. Tekikoma ku kwogera bwogezi linnya lya Katonda, kubanga erinnya lya Katonda ku bwalyo si lya byamagero. Wabula tulina okumanya n’okussa obwesige mu nnannyini linnya eryo era ne tutambuliza obulamu bwaffe ku mitindo gye egy’obutuukirivu. Olw’okuba Yakuwa wa kisa nnyo, yasuubiza okutukuuma singa tumwesiga.

“Katonda Waffe . . . Asobola Okutuwonya”

9. Kiki Yakuwa kye yakola ekiraga nti takoma ku kusuubiza busuubiza kukuuma bantu be?

9 Yakuwa tatusuubiza busuubiza kutukuuma. Mu biseera by’edda, yalaga nti asobola okukuuma abantu be mu ngeri ey’ekyamagero. Mu byafaayo bya Isirayiri, “omukono” gwa Yakuwa ogw’amaanyi emirundi mingi gwabakuumanga abalabe baabwe ne batabatuusaako kabi. (Okuva 7:4) Kyokka era Yakuwa yakozesa n’amaanyi ge okukuuma abantu be kinnoomu.

10, 11. Byakulabirako ki mu Bayibuli ebiraga engeri Yakuwa gye yakozesaamu amaanyi ge okukuuma abantu abamu?

10 Abavubuka basatu Abebbulaniya, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, bwe baagaana okuvunnamira ekifaananyi kya Kabaka Nebukadduneeza ekya zzaabu, kabaka oyo yasunguwala nnyo n’abatiisatiisa okubasuula mu kikoomi ky’omuliro. Kabaka oyo eyali asinga amaanyi mu nsi mu kiseera ekyo yabagamba nti: “Katonda ki oyo asobola okubanunula mu mukono gwange?” (Danyeri 3:15) Abavubuka abasatu baali bakakafu nti Katonda waabwe yali asobola okubakuuma, naye tebaakitwala nti yali ateekeddwa okukikola. Bwe kityo, baagamba kabaka nti: “Bwe tunaaba ba kusuulibwa mu muliro, Katonda waffe gwe tuweereza asobola okutuwonya.” (Danyeri 3:17) Wadde ng’omuliro ogwo gwasinga ku gwa bulijjo emirundi musanvu, tekyalemesa Katonda ow’amaanyi kubakuuma. Kabaka Nebukadduneeza yawalirizibwa okutegeera nti: “Teriiyo katonda mulala yenna asobola kuwonya ng’oyo.”—Danyeri 3:29.

11 Era Yakuwa yayoleka amaanyi ge ag’obukuumi bwe yakyusa obulamu bw’Omwana we eyazaalibwa omu yekka n’abuteeka mu lubuto lwa Maliyamu, Omuyudaaya eyali embeerera. Malayika yagamba Maliyamu nti: “Oliba olubuto era olizaala omwana ow’obulenzi.” Era yagattako nti: “Omwoyo omutukuvu gulikujjako, era amaanyi g’Oyo Asingayo Okuba Waggulu galikujjako.” (Lukka 1:31, 35) Kyalabika nti mu kiseera ekyo obulamu bw’Omwana wa Katonda bwali mu kaseera kazibu nnyo. Ekibi kya Maliyamu n’obutali butuukirivu bwe tebyandyonoonye bulamu bwa mwana eyali mu lubuto lwe? Sitaani yandisobodde okutta oba okutuusa ebisago ku Mwana oyo nga tannazaalibwa? Nedda! Yakuwa yakuuma Maliyamu ne kiba nti obutali butuukirivu bwe, omuntu yenna, oba dayimooni, tebyayinza kutuusa kabi konna ku mwana oyo okuviira ddala mu kiseera lwe yateekebwa mu lubuto lwa Maliyamu. Yakuwa yeeyongera okukuuma Yesu mu buvubuka bwe. (Matayo 2:1-15) Okutuusa mu kiseera ekigereke Yesu lwe yawaayo obulamu bwe, Yakuwa yakuuma Omwana we omwagalwa n’atatuusibwako kabi.

12. Lwaki Yakuwa yakuuma abantu abamu mu ngeri ey’ekyamagero mu biseera by’edda?

12 Lwaki Katonda yakuuma abantu abamu mu ngeri ng’eyo ey’ekyamagero? Emirundi mingi, Yakuwa yakuuma abantu kinnoomu asobole okutuukiriza ekintu ekisingawo obukulu, nga kino kye kigendererwa kye. Ng’ekyokulabirako, kyali kyetaagisa Yesu okukuumibwa ng’akyali muwere okusobola okutuukiriza ekigendererwa kya Katonda, mu nkomerero ekyandiganyudde abantu bonna. Engeri Yakuwa gy’akozesaamu amaanyi ge eyogerwako mu Byawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa, era nga “byawandiikibwa okutuyigiriza, tusobole okuba n’essuubi okuyitira mu bugumiikiriza ne mu kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa.” (Abaruumi 15:4) Mu butuufu, ebyokulabirako bituyamba okweyongera okwesiga Katonda waffe Omuyinza w’ebintu byonna. Naye bukuumi ki bwe tusuubira okuva eri Katonda leero?

Obukuumi bwa Katonda Kye Butategeeza

13. Yakuwa ateekeddwa okutukuuma mu ngeri ey’eky’amagero? Nnyonnyola.

13 Ekisuubizo kya Katonda eky’okutukuuma tekitegeeza nti ateekeddwa okutukolera ebyamagero. Katonda waffe tatusuubiza nti tetujja kuba na bizibu mu bulamu mu nteekateeka eno embi. Abaweereza ba Yakuwa bangi abeesigwa boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, nga mw’otwalidde obwavu, entalo, obulwadde, n’okufa. Yesu yategeeza abayigirizwa be nti abamu ku bo bandittiddwa olw’okukkiriza kwabwe. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yalaga nti kikulu okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero. (Matayo 24:9, 13) Singa mu buli mbeera Yakuwa akozesa amaanyi ge okuyamba abaweereza be mu ngeri ey’ekyamagero, Sitaani yandisinzidde ku ekyo n’avumirira Yakuwa ng’agamba nti abantu tebaweereza Yakuwa olw’okuba bamwagala.—Yobu 1:9, 10.

14. Byakulabirako ki ebiraga nti Yakuwa takuuma baweereza be mu ngeri y’emu?

14 Ne mu biseera by’edda, Yakuwa teyakozesa maanyi ge okukuuma buli muweereza we aleme kuttibwa. Ng’ekyokulabirako, omutume Yakobo yattibwa Kerode mu 44 E.E.; kyokka, ekiseera kitono oluvannyuma lw’ekyo, Peetero yanunulwa okuva “mu mukono gwa Kerode.” (Ebikolwa 12:1-11) Ate Yokaana, muganda wa Yakobo, yawangaala okusinga Peetero ne Yakobo. Kya lwatu tetuyinza kusuubira Katonda kukuuma baweereza be bonna mu ngeri y’emu. Ng’oggyeeko ekyo, “ebiseera ebizibu n’ebintu ebitasuubirwa” bitutuukako ffenna. (Omubuulizi 9:11) Naye Yakuwa akuuma atya abantu be leero?

Yakuwa Akuuma Obulamu Bwaffe

15, 16. (a) Bukakafu ki obulaga nti Yakuwa akuumye abaweereza be ng’ekibiina? (b) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kukuuma abaweereza be mu kiseera kino ne mu ‘kibonyoobonyo ekinene’?

15 Okusooka, lowooza ku ngeri Yakuwa gy’akuumamu obulamu bwaffe. Ng’abaweereza ba Yakuwa, tumusuubira okutukuuma ng’ekibiina. Singa tekyali bwe kityo, Sitaani yandibadde yatuzikiriza dda ffenna. Lowooza ku kino: Sitaani, “omufuzi w’ensi eno,” ayagala nnyo okusaanyawo okusinza okw’amazima. (Yokaana 12:31; Okubikkulirwa 12:17) Gavumenti ezimu ez’amaanyi ennyo ziweze omulimu gwaffe ogw’okubuulira era zigezezzaako okutusaanyizaawo ddala. Kyokka abantu ba Yakuwa basigadde banywevu era beeyongedde okubuulira awatali kuddirira! Lwaki amawanga ag’amaanyi tegasobodde kuyimiriza mulimu gw’Abakristaayo bano abatono ennyo abalabika ng’abatalina bukuumi bwonna? Olw’okuba Yakuwa atukuuma wansi w’ebiwaawaatiro bye eby’akabonero!—Zabbuli 17:7, 8.

16 Yakuwa anaatukuuma mu “kibonyoobonyo ekinene”? Yee. Tekijja kutwetaagisa kutya ng’ababi bazikirizibwa, kubanga “Yakuwa amanyi okununula abo abamwemalirako n’abaggya mu kugezesebwa, naye abatali batuukirivu ajja kubazikiriza ku lunaku olw’okusalirako omusango.” (Okubikkulirwa 7:14; 2 Peetero 2:9) Ng’ekyo tekinnabaawo, tuli bakakafu ku bintu bibiri. Ekisooka, Yakuwa tagenda kukkiriza baweereza be abeesigwa kumalibwawo ku nsi. Eky’okubiri, ajja kuwa abo bonna abeesigwa gy’ali obulamu obutaggwaawo mu nsi empya; bwe kiba kyetaagisa, okuyitira mu kuzuukira. Ekyo kiri bwe kityo, kubanga n’abo abafa Yakuwa asigala abajjukira.—Yokaana 5:28, 29.

17. Yakuwa atukuuma atya okuyitira mu Kigambo kye?

17 Ne mu kiseera kino, Yakuwa atukuuma okuyitira mu ‘kigambo’ kye ekiramu, ekisobola okukyusa emitima n’obulamu bw’abantu. (Abebbulaniya 4:12) Bwe tugoberera emisingi egikirimu, tuyinza okukuumibwa ne tutatuukibwako kabi mu mubiri. Isaaya 48:17 wagamba nti: “Nze Yakuwa, . . . akuyigiriza osobole okuganyulwa.” Awatali kubuusabuusa, okugoberera Ekigambo kya Katonda kiyinza okulongoosa obulamu bwaffe ne tuwangaala. Ng’ekyokulabirako, olw’okuba tugoberera okubuulirira okuli mu Bayibuli okukwata ku kwewala ebikolwa eby’obugwenyufu n’okwenaazaako byonna ebyonoona omubiri, twewala ebikolwa ebitali birongoofu era eby’akabi ebiviriddeko abantu bangi abatatya Katonda okufuna ebizibu eby’amaanyi. (Ebikolwa 15:29; 2 Abakkolinso 7:1) Nga tusiima nnyo obukuumi bwe tufuna okuyitira mu Kigambo kya Katonda!

Yakuwa Atukuuma mu by’Omwoyo

18. Yakuwa atukuuma atya mu by’omwoyo?

18 Ekisingira ddala obukulu, Yakuwa atukuuma mu by’omwoyo. Katonda waffe atukuuma ne tutatuukibwako kabi mu by’omwoyo, ng’atuwa bye twetaaga okugumira ebigezo era n’okukuuma enkolagana yaffe naye. Mu ngeri eyo, Yakuwa akuuma obulamu bwaffe si kumala myaka mitono, naye emirembe gyonna. Lowooza ku bimu ku bintu Katonda by’atuwadde okutukuuma mu by’omwoyo.

19. Omwoyo gwa Yakuwa guyinza gutya okutuyamba okwaŋŋanga ebizibu?

19 Yakuwa “awulira okusaba.” (Zabbuli 65:2) Ebizibu bwe biba bitusukkiriddeko, tuyinza okufuna obuweerero bwe tumweyabiza. (Abafiripi 4:6, 7) Ayinza obutaggyaawo bizibu byaffe mu ngeri ey’ekyamagero, naye bwe tumusaba, ayinza okutuwa amagezi ne tumanya engeri y’okubikolako. (Yakobo 1:5, 6) Ate era Yakuwa awa omwoyo omutukuvu abo abagumusaba. (Lukka 11:13) Omwoyo ogwo ogw’amaanyi, guyinza okutuyamba okwaŋŋanga ekigezo oba ekizibu kyonna. Guyinza okutuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo” okukigumiikiriza okutuusa lw’anaggyawo ebizibu byonna mu nsi empya eneetera okutuuka.—2 Abakkolinso 4:7.

20. Yakuwa akozesa atya amaanyi ge okutukuuma ng’ayitira mu bakkiriza bannaffe?

20 Emirundi egimu, amaanyi ga Yakuwa ag’obukuumi gayinza okuyitira mu bakkiriza bannaffe. Yakuwa akuŋŋaanyizza abantu be ‘mu luganda’ olw’ensi yonna. (1 Peetero 2:17; Yokaana 6:44) Nga tuli mu luganda olwo olulimu okwagala, tulaba obujulizi obulaga nti omwoyo gwa Katonda omutukuvu gusobola okukyusa abantu. Omwoyo ogwo gutuyamba okubala ekibala kyagwo ekirimu engeri ez’omuwendo gamba ng’okwagala, ekisa, n’obulungi. (Abaggalatiya 5:22, 23) Bwe kityo, bwe tuba mu nnaku era mukkiriza munnaffe n’atuwa amagezi agatuyamba oba n’atuzzaamu amaanyi, twebaza Yakuwa olw’okutukuuma. 

21. (a) Mmere ki ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atuwa okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi’? (b) Oganyuddwa otya mu bintu Yakuwa by’atuwa okutukuuma mu by’omwoyo?

21 Yakuwa atuwa ekintu ekirala ekituwa obukuumi, ng’eno ye mmere ey’eby’omwoyo etuukira mu kiseera ekituufu. Okusobola okutuyamba okufuna amaanyi okuva mu Kigambo kye, Yakuwa awadde “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” omulimu gw’okutuwa emmere ey’eby’omwoyo. Omuddu oyo omwesigwa akozesa ebitabo, nga mw’otwalidde Omunaala gw’Omukuumi, Zuukuka! n’omukutu ogwa jw.org, awamu n’enkuŋŋaana ennene n’entono okutuwa ‘emmere gye twetaaga mu kiseera ekituufu.’ (Matayo 24:45) Wali owuliddeko ekintu mu nkuŋŋaana zaffe, ka kibe ekyo mukkiriza munno kye yaddamu, ekyayogerwako mu mboozi, oba mu kusaba, ekyakuzzaamu amaanyi? Wali okwatiddwako ekitundu ekimu ekyafulumira mu bitabo byaffe? Bulijjo kijjukire nti Yakuwa y’akola enteekateeka ezo zonna okusobola okutukuuma mu by’omwoyo.

22. Yakuwa bulijjo akozesa atya amaanyi ge, era ekyo kituganyula kitya?

22 Mazima ddala Yakuwa ngabo “eri abo bonna abamufuula ekiddukiro kyabwe.” (Zabbuli 18:30) Tukimanyi nti takozesa maanyi ge kutukuuma mu buli kabi. Kyokka akozesa amaanyi ge okukakasa nti ekigendererwa kye kituukirizibwa. By’akola byonna biba biganyula bantu be. Singa tufuna enkolagana ennungi naye ne tusigala mu kwagala kwe, ajja kutuwa obulamu obutaggwaawo. Nga tulina ekyo mu birowoozo, okubonaabona kwonna kwe tufuna mu nteekateeka eno, tusaanidde okukutunuulira ‘ng’okw’akaseera obuseera ate nga kutono.’—2 Abakkolinso 4:17.

Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako

  • Zabbuli 23:1-6 Ng’Omusumba Omukulu, Yakuwa akuuma atya abantu be abalinga endiga?

  • Zabbuli 91:1-16 Yakuwa atukuuma atya mu by’omwoyo, era tuteekwa kukola ki okufuna obukuumi bwe?

  • Danyeri 6:16-22, 25-27 Yakuwa yayigiriza atya kabaka ow’edda ebikwata ku maanyi ge, era kiki kye tuyigira ku kyokulabirako ekyo?

  • Matayo 10:16-22, 28-31 Kuziyizibwa kwa ngeri ki kwe tuyinza okusuubira, naye lwaki tetwanditidde batuziyiza?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share