ESSUULA 15
Yesu ‘Aleetawo Obwenkanya mu Nsi’
1, 2. Ddi Yesu lwe yanyiiga, era lwaki?
YESU yali munyiivu ddala, era yali mutuufu okunyiiga. Kiyinza okukuzibuwalira okumulowoozaako mu ngeri eyo, kubanga yali musajja mukkakkamu nnyo. (Matayo 21:5) Wadde nga yanyiiga yeefuga, kubanga obusungu bwe bwali bwa butuukirivu.a Naye kiki ekyanyiiza omusajja oyo ayagala emirembe? Ekikolwa eky’obutali bwenkanya.
2 Yeekaalu ey’omu Yerusaalemi, Yesu yali agitwala nga ya muwendo nnyo. Kye kyali ekifo kyokka ekitukuvu mu nsi yonna eky’okusinzizaamu Kitaawe ow’omu ggulu. Abayudaaya baavanga mu bifo bingi ebyesudde okujja okusinziza mu yeekaalu eyo. N’ab’amawanga abaali batya Katonda bajjanga ne bayingira mu luggya lwa yeekaalu mwe baali bakkirizibwa okusinziza. Naye Yesu bwe yali yaakatandika obuweereza bwe ku nsi, lumu yayingira mu yeekaalu n’alaba ekintu ekibi ekyali kikolebwa. Yeekaalu yali erabika ng’akatale, so si ekifo eky’okusinzizaamu! Yali ejjuddemu abasuubuzi n’abawaanyisa ssente. Lwaki ekyo tekyali kya bwenkanya? Abasajja abo baali batwala yeekaalu ya Katonda ng’ekifo eky’okufuniramu amagoba okuva mu bantu, kabekasinge n’okubabba. Mu ngeri ki?—Yokaana 2:14.
3, 4. Kintu ki ekitaali kirungi ekyali kikolerwa mu nnyumba ya Yakuwa, era Yesu yakolawo ki?
3 Abakulembeze b’eddiini baali baasalawo nti ekika kimu kyokka ekya ssente ez’ekyuma kye kyalina okukozesebwa okusasula omusolo gwa yeekaalu. Abajjanga okusinza baalinanga okuwaanyisa ssente zaabwe bafune ssente ez’ekika ekyo. N’olw’ensonga eyo, abasuubuzi abaawaanyisanga ssente baateekanga emmeeza zaabwe mu yeekaalu, era baggyanga empooza nnene nnyo ku buli muntu gwe baakyusizanga ssente. Kyokka okutunda ebisolo kwe kwali kusinga okuvaamu amagoba. Abaali baagala okuwaayo ssaddaaka baali basobola okugula ebiweebwayo ku musuubuzi yenna mu kibuga, naye abakungu b’omu yeekaalu baali bayinza okugaana ebiweebwayo ebyo nga bagamba nti tebisaanira. Naye byo ebiweebwayo ebyagulibwanga mu yeekaalu byakkirizibwanga. Bwe kityo, olw’okuba abantu baawalirizibwanga kugula ku bo, abasuubuzi abo emirundi egimu baasabanga ebisale bya waggulu nnyo.b Kuno tekwali kwagala kufuna bufunyi magoba kyokka, wabula bwali bubbi bwennyini!
4 Yesu yali tayinza kugumiikiriza butali bwenkanya ng’obwo. Eno yali nnyumba ya Kitaawe! Yafuna omuguwa n’agukolamu embooko n’agoba ente n’endiga mu yeekaalu. Oluvannyuma yagenda awaali abawaanyisa ssente n’avuunika emmeeza zaabwe. Kiteeberezeemu nga ssente ezo zonna ez’ekyuma ziyiika wansi mu yeekaalu! Yalagira abasajja abatunda amayiba nti: “Ebintu bino mubiggye wano.” (Yokaana 2:15, 16) Kirabika tewali n’omu yali ayinza kuziyiza musajja oyo omuvumu.
“Muggyeewo ebintu bino!”
Omwana Akoppa Kitaawe
5-7. (a) Ekiseera Yesu kye yaliwo nga tannafuuka muntu, kyamuleetera kuba na ndowooza y’ani ku bwenkanya, era kiki kye tuyinza okuyiga bwe twekenneenya ekyokulabirako kye? (b) Yesu akozeewo ki okulwanyisa obutali bwenkanya obukwata ku bufuzi bwa Yakuwa n’erinnya lye, era ekyo anaakikola atya mu biseera eby’omu maaso?
5 Kya lwatu, oluvannyuma abasuubuzi baakomawo. Nga wayiseewo emyaka ng’esatu, yakola ku nsonga y’emu, ku luno ng’ajuliza ebigambo bya Yakuwa kennyini ebyali bivumirira abo abaafuula ennyumba ya Yakuwa ‘empuku y’abanyazi.’ (Yeremiya 7:11; Matayo 21:13) Yesu bwe yalaba ng’abasuubuzi ab’omululu basaba abantu ssente nnyingi nnyo era nga boonoona ne yeekaalu ya Katonda, yawulira bubi nga Kitaawe. Ekyo tekyewuunyisa! Okumala emyaka mingi nnyo, Yesu yali ayigiriziddwa Kitaawe ow’omu ggulu. N’ekyavaamu, yafuna endowooza ya Yakuwa ekwata ku bwenkanya. N’olwekyo, bwe tuba twagala okufuna akafaananyi ekituufu ku bwenkanya bwa Yakuwa, engeri esingayo obulungi ey’okukikolamu, kwe kufumiitiriza ku kyokulabirako kya Yesu Kristo.—Yokaana 14:9, 10.
6 Omwana wa Yakuwa eyazaalibwa omu yekka yaliwo Sitaani bwe yayita Yakuwa Katonda omulimba era n’akiraga nti Yakuwa si Mufuzi mulungi. Mu butuufu, ebyo Sitaani bye yayogera ku Yakuwa byali bibi nnyo! Ate era Omwana oyo oluvannyuma yawulira Sitaani ng’agamba nti tewali muntu n’omu yandiweerezza Yakuwa olw’okuba amwagala. Eby’obulimba bino mazima ddala byanakuwaza nnyo Yesu. Ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okukimanya nti yandibadde n’ekifo ekikulu mu kulaga nti Sitaani bye yayogera byali bya bulimba! (2 Abakkolinso 1:20) Ekyo yandikikoze atya?
7 Nga bwe twayiga mu Ssuula 14, Yesu Kristo yakyoleka bulungi nti Sitaani bye yayogera ng’abuusabuusa obwesigwa bw’ebitonde bya Yakuwa byali bya bulimba. Bwe kityo, Yesu yassaawo omusingi ogwandisinziddwako okumalawo ekivume ekyaleetebwa ku linnya lya Katonda, Yakuwa, nga muno mwe muli n’eky’okugamba nti Yakuwa si Mufuzi mulungi. Ng’Omubaka wa Yakuwa Omukulu, Yesu ajja kusobozesa obwenkanya bwa Katonda okubaawo mu butonde bwonna. (Ebikolwa 5:31) Ebyo bye yakola ne bye yayigiriza ng’ali ku nsi byayoleka obwenkanya bwa Katonda. Yakuwa yamwogerako bw’ati: “Ndimuteekako omwoyo gwange, era alimanyisa amawanga obwenkanya.” (Matayo 12:18) Yesu yatuukiriza atya ebigambo bino?
Yesu Annyonnyola ‘Obwenkanya Kye Buli’
8-10. (a) Obulombolombo bw’abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya bwaviirako butya obutassa kitiibwa mu bantu abataali Bayudaaya era n’abakazi? (b) Mu ngeri ki amateeka abantu ge beeteerawo gye gaafuula etteeka lya Yakuwa erikwata ku Ssabbiiti omugugu?
8 Yesu yayagala nnyo Amateeka ga Yakuwa era n’agagobereranga. Kyokka abakulembeze b’eddiini ab’omu kiseera kye baanyoolanyoola Amateeka ago era ne bagakozesa mu ngeri enkyamu. Yesu yabagamba nti: ‘Zibasanze mmwe abawandiisi n’Abafalisaayo, bannanfuusi, kubanga temutuukiriza bintu ebisinga obukulu mu Mateeka: obwenkanya, obusaasizi, n’obwesigwa.’ (Matayo 23:23) N’olwekyo, abo abaali bayigiriza b’Amateeka ga Katonda tebannyonnyola bulungi ‘obwenkanya kye buli.’ Mu kifo ky’ekyo, baakifuula kizibu okutegeera obwenkanya bwa Katonda. Mu ngeri ki?
9 Lowooza ku byokulabirako bino. Yakuwa yalagira abantu be okweyawula ku mawanga amakafiiri agaali gabeetoolodde. (1 Bassekabaka 11:1, 2) Kyokka abakulembeze b’eddiini abamu, baakubiriza abantu okunyooma buli muntu ataali Muyudaaya. Ekitabo ekiyitibwa Mishnah kyalimu etteeka lino: “Ebisolo tebisaanidde kulekebwa mu bisulo by’ab’amawanga kubanga bateeberezebwa okwegatta nabyo.” Tekyali kya bwenkanya okusosola abataali Bayudaaya mu ngeri eyo, era kyali kikontana n’Amateeka ga Musa. (Eby’Abaleevi 19:34) Amateeka amalala abantu ge beeteerawo gaafeebyanga abakazi. Amateeka ago gaali gagamba nti omukyala asaanidde kutambulira mabega w’omwami we so si ku lusegere lwe. Omusajja yali takkirizibwa kunyumya na mukazi mu lujjudde, wadde mukyala we. Okufaananako abaddu, abakazi tebakkirizibwanga kuwa bujulizi mu kkooti. Waalingawo n’essaala abasajja mwe beebalizanga Katonda olw’obutabeera bakazi.
10 Abakulembeze b’eddiini baakulembeza ebiragiro n’amateeka g’abantu, mu kifo ky’Amateeka ga Katonda. Ng’ekyokulabirako, etteeka lya Ssabbiiti lyali ligaana abantu okukola emirimu ku Ssabbiiti, kibasobozese okusinza ku lunaku olwo, okuddamu amaanyi mu by’omwoyo, n’okuwummula. Naye Abafalisaayo etteeka eryo baalifuula mugugu. Beewa obuyinza okusalawo ‘mirimu’ ki egyali gyogerwako. Waaliwo ebintu 39 bye baasalawo nti omuntu bw’abikola aba akoze emirimu. Mu bintu ebyo mwe mwali okukungula n’okuyigga. Ekyo kyaleetawo ebibuuzo bingi. Ng’ekyokulabirako, omuntu bwe yattanga enkukunyi ku Ssabbiiti, yabanga ayigga? Bwe yanoganga olubatu lw’eŋŋaano okulya ng’atambula, yabanga akungula? Bwe yandiwonyeza omulwadde, yandibadde akoze omulimu? Ebibuuzo ng’ebyo baabiddangamu nga beeyambisa amateeka amakakali.
11, 12. Yesu yakiraga atya nti obulombolombo bw’Abafalisaayo bwali bukontana n’Ebyawandiikibwa?
11 Mu mbeera ng’eyo, Yesu yandiyambye atya abantu okutegeera obwenkanya kye buli? Mu bye yayigirizanga n’engeri gye yatambuzaamu obulamu bwe, yakiraga nti yali takkiriziganya na bakulembeze ba ddiini abo. Lowooza ku bimu ku ebyo bye yayigiriza. Yavumirira olukunkumuli lw’amateeka abantu ge beeteerawo ng’agamba nti: “Mudibya ekigambo kya Katonda olw’obulombolombo bwe mwateekawo.”—Makko 7:13.
12 Yesu yayigiriza nti Abafalisaayo baali bakyamu ku tteeka lya Ssabbiiti. Yalaga nti baali tebategedde kigendererwa kya tteeka eryo. Yagamba nti Masiya ye “Mukama wa Ssabbiiti.” N’olwekyo yalina obuyinza okuwonya abantu ku Ssabbiiti. (Matayo 12:8) Okusobola okuggumiza ensonga eyo, yawonya abantu mu ngeri ey’ekyamagero ku Ssabbiiti. (Lukka 6:7-10) Okuwonya okwo kwasonga ku kuwonya okulibaawo mu nsi yonna mu Bufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi. Emyaka egyo Olukumi kijja kuba kiseera kya Ssabbiiti enkulu, abantu bonna abeesigwa lwe baliwummula oluvannyuma lw’okumala emyaka nkumi na nkumi nga batawanyizibwa ekibi n’okufa.
13. Tteeka ki Yesu lye yawa abagoberezi be, era lyali lyawukana litya ku Mateeka ga Musa?
13 Era Yesu yalaga ekyo obwenkanya kye buli bwe yawa abayigirizwa be etteeka eppya eriyitibwa “etteeka lya Kristo.” Etteeka eryo lyatandika okukola ng’amalirizza obuweereza bwe ku nsi. (Abaggalatiya 6:2) Okwawukana ku Mateeka ga Musa, etteeka lino eppya okusingira ddala lyesigama ku misingi so si ku biragiro ebingi ebiri mu buwandiike. Naye etteeka eryo lyalimu n’ebiragiro. Ekimu ku biragiro ebyo Yesu yakiyita “etteeka eriggya.” Yesu yayigiriza abagoberezi be bonna okwagalana nga ye bwe yabaagala. (Yokaana 13:34, 35) Mu butuufu, okwagala okuzingiramu okwefiiriza kwe kwandibadde kwawulawo abo bonna abagoberera “etteeka lya Kristo.”
Ekyokulabirako Ekirungi eky’Obwenkanya
14, 15. Yesu yalaga atya nti yali amanyi obuyinza bwe we bukoma, era lwaki ekyo kizzaamu amaanyi?
14 Yesu teyakoma ku kuyigiriza buyigiriza bantu kwagala. Ye kennyini yagoberera “etteeka lya Kristo.” Lyeyoleka mu bulamu bwe bwonna. Weetegereze engeri ssatu Yesu mwe yayolekera obulungi obwenkanya kye buli.
15 Esooka, Yesu yeewalira ddala okukola ekintu kyonna ekitali kya bwenkanya. Oboolyawo okirabye nti ebintu bingi ebitali bya bwenkanya bikolebwa abantu abatatuukiridde bwe bafuna amalala ne bakozesa obubi obuyinza bwabwe. Yesu teyakola bw’atyo. Lumu omusajja yatuukirira Yesu n’amugamba nti: “Omuyigiriza, gamba muganda wange angabanyize ku by’obusika.” Yesu yamuddamu nti: “Ani yannonda okuba omulamuzi wammwe oba oyo ow’okubagabanyizaamu ebyammwe?” (Lukka 12:13, 14) Ekyo tekyewuunyisa? Amagezi Yesu ge yalina, okutegeera kwe, era n’obuyinza bwe yaweebwa Katonda byali bisingira wala eby’omuntu omulala yenna ku nsi. Kyokka yagaana okweyingiza mu nsonga eyo, kubanga yali taweereddwa buyinza kukola ku nsonga ng’ezo. Yesu yali mwetoowaze nnyo ne mu kiseera ekiwanvu ennyo kye yaliwo nga tannajja ku nsi. (Yuda 9) Olw’okuba Yesu yayolekanga obwetoowaze n’aleka Yakuwa okusalawo ekigwanidde, kirina kinene nnyo kye kituyigiriza ku Yesu.
16, 17. (a) Yesu yayoleka atya obwenkanya ng’abuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda? (b) Yesu yalaga atya nti obwenkanya bwe bwali bugendera wamu n’obusaasizi?
16 Ey’okubiri, Yesu yayoleka obwenkanya mu ngeri gye yabuuliramu amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Yali tasosola. Yafuba okutuuka ku bantu aba buli kika, ka babe baavu oba bagagga. Okwawukana ku ekyo, Abafalisaayo baanyoomanga abantu aba bulijjo n’abaavu, nga babayita ʽam-ha·ʼaʹrets, ekigambo ekifeebya ekyali kitegeeza “abantu ab’omu nsi.” Yesu yalaga nti ekikolwa ekyo tekyali kya bwenkanya. Yabuuliranga abantu amawulire amalungi, yalyanga nabo, yabawanga eby’okulya, yabawonyanga, era yazuukiza abafu. Mu ngeri eyo yayoleka obwenkanya bwa Katonda ayagala ‘abantu aba buli kika’ okumumanya.c—1 Timoseewo 2:4.
17 Ey’okusatu, obwenkanya bwa Yesu bwagenderanga wamu n’obusaasizi. Yafubanga okuyamba aboonoonyi. (Matayo 9:11-13) Yayambanga abantu abatalina mwasirizi. Ng’ekyokulabirako, Yesu yali takkiriziganya n’endowooza y’abakulembeze b’eddiini abaali bayigiriza abantu okwekengera ab’amawanga. Yayigiriza abamu ku b’amawanga, wadde ng’okusingira ddala yali atumiddwa kuyigiriza Bayudaaya. Yakkiriza okuwonya omuweereza w’omukungu omu mu ggye ly’Abaruumi, era n’agamba nti: “Sirabangako muntu mu Isirayiri alina kukkiriza kwa maanyi nga kuno.”—Matayo 8:5-13.
18, 19. (a) Yesu yawa atya abakyala ekitiibwa? (b) Ekyokulabirako kya Yesu kituyamba kitya okumanya akakwate akaliwo wakati w’obuvumu n’obwenkanya?
18 Mu ngeri y’emu, Yesu teyawagira ndowooza nkyamu abantu gye baalina ku bakazi. Mu kifo ky’ekyo, yayoleka obwenkanya mu nsonga eyo. Okufaananako ab’amawanga, abakazi Abasamaliya nabo baatwalibwanga okuba abatali bayonjo. Kyokka ekyo tekyalobera Yesu kubuulira mukazi Musamaliya ku luzzi lw’e Sukali. Mu butuufu, omukazi oyo Yesu gwe yasooka okubuulira obutereevu nti ye Masiya eyasuubizibwa. (Yokaana 4:6, 25, 26) Abafalisaayo baagambanga nti abakazi tebasaanidde kuyigirizibwa Mateeka ga Katonda, naye Yesu yawaayo ebiseera bingi n’amaanyi okuyigiriza abakazi. (Lukka 10:38-42) Wadde nga waaliwo akalombolombo akagamba nti abakazi baali tebayinza kuwa bujulizi bwesigika, Yesu yawa abakazi abawerako enkizo ey’enjawulo ey’okusooka okumulaba oluvannyuma lw’okuzuukira kwe. Era yabagamba bagende babuulire abayigirizwa be abasajja ekintu ekyo ekikulu ekyali kibaddewo!—Matayo 28:1-10.
19 Mazima ddala, Yesu yalaga bulungi amawanga obwenkanya kye buli. Emirundi mingi yateeka obulamu bwe mu kabi ng’akola ekyo. Ekyokulabirako kya Yesu kituyamba okukimanya nti kyetaagisa obuvumu okusobola okubeera abenkanya. Kituukirawo okuba nti Yesu yayitibwa “Empologoma y’omu kika kya Yuda.” (Okubikkulirwa 5:5) Jjukira nti empologoma ekiikirira obuvumu n’obwenkanya. Kyokka mu maaso awo, Yesu ajja kubaako ky’akolawo okuleetawo “obwenkanya mu nsi” mu bujjuvu.—Isaaya 42:4.
Kabaka ‘Aleetawo Obwenkanya mu Nsi’
20, 21. Mu kiseera kyaffe, Yesu aleeseewo atya obwenkanya mu nsi yonna ne mu kibiina Ekikristaayo?
20 Okuva bwe yafuuka Kabaka mu 1914, Yesu aleese obwenkanya mu nsi. Mu ngeri ki? Akakasizza nti obunnabbi bwe yayogera obuli mu Matayo 24:14 butuukirira. Abagoberezi ba Yesu ku nsi bayigirizza abantu mu nsi yonna amazima agakwata ku Bwakabaka bwa Yakuwa. Okufaananako Yesu, babuulidde abantu nga tebalina gwe basosola, nga bafuba okuwa buli omu akakisa okumanya ebikwata ku Yakuwa, ka babe bato oba bakulu, bagagga oba baavu, basajja oba bakazi.
21 Ate era Yesu atumbula obwenkanya mu kibiina Ekikristaayo ky’akulembera. Nga bwe kyalagulwa, agabye ‘ebirabo mu bantu,’ kwe kugamba, abakadde Abakristaayo abeesigwa, okutwala obukulembeze mu kibiina. (Abeefeso 4:8-12) Mu kulunda ekisibo kya Katonda eky’omuwendo, abasajja abo bagoberera ekyokulabirako kya Yesu Kristo mu kwoleka obwenkanya. Bakijjukira nti Yesu ayagala bonna mu kibiina okuyisibwa mu ngeri ey’obwenkanya, ka babe na buyinza ki, nga bamanyiddwa nnyo oba nedda, oba ka babe bagagga oba baavu.
22. Yakuwa awulira atya bw’alaba obutali bwenkanya obuli mu nsi leero, era Omwana we amuwadde buyinza kukola ki?
22 Kyokka mu maaso awo, Yesu ajja kusobozesa obwenkanya okubaawo mu nsi mu ngeri etabangawo. Obutali bwenkanya bungi nnyo mu nsi eno embi. Buli mwana afa enjala kiba kiva ku butali bwenkanya, naddala singa olowooza ku ssente ezisaasaanyizibwa okukola eby’okulwanyisa ne ku by’amasanyu. Obutali bwenkanya obuliwo bwe buviirako obukadde n’obukadde bw’abantu okufa buli mwaka, era ekyo kireetera Yakuwa okusunguwala. Awadde Omwana we obuyinza okuzikiriza enteekateeka y’ebintu eno embi asobole okumalirawo ddala obutali bwenkanya.—Okubikkulirwa 16:14, 16; 19:11-15.
23. Oluvannyuma lwa Amagedoni, Kristo anaayoleka atya obwenkanya emirembe gyonna?
23 Kyokka olw’okuba Yakuwa mwenkanya nnyo ajja kukola ekisingawo ku kuzikiriza abantu ababi. Alonze Omwana we okufuga nga “Omukulu ow’Emirembe.” Oluvannyuma lw’olutalo Amagedoni, obufuzi bwa Yesu bujja kuleetawo emirembe mu nsi yonna, era bujja kufuga “mu bwenkanya.” (Isaaya 9:6, 7) Olwo nno, Yesu ajja kuggyawo obutali bwenkanya bwonna obuviiriddeko okubonaabona n’ennaku mu nsi. Ajja kwoleka obwenkanya bwa Yakuwa obutuukiridde emirembe gyonna. N’olwekyo, kikulu nnyo kati okukoppa obwenkanya bwa Yakuwa. Ka tulabe engeri gye tuyinza okukikolamu.
a Mu kwoleka obusungu obw’obutuukirivu, Yesu yalinga Yakuwa, ‘asunguwalira’ abakola ebibi. (Nakkumu 1:2) Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’okugamba abantu be abajeemu nti baali bafudde ennyumba ye ‘empuku y’abanyazi,’ Yakuwa yagamba nti: “Obusungu bwange n’ekiruyi kyange bijja kuyiibwa ku kifo kino.”—Yeremiya 7:11, 20.
b Okusinziira ku biwandiiko by’Abayudaaya ebiyitibwa Mishnah, oluvannyuma lw’emyaka egiwerako, abantu beemulugunya olw’obuseere bw’amayiba agaatundibwanga mu yeekaalu. Olw’okwemulugunya okwo, ebbeeyi yaago yakendeezebwa ebitundu 99 ku buli kikumi! Baani abaali basinga okuganyulwa mu busuubuzi obwo? Bannabyafaayo abamu bagamba nti obutale bw’omu yeekaalu bwali bw’ab’enju ya Kabona Asinga Obukulu, Anaasi, ne kireetera amaka ago okugaggawala ennyo.—Yokaana 18:13.
c Abafalisaayo baayigirizanga nti abantu aba bulijjo abaali batamanyi Mateeka, ‘baakolimirwa.’ (Yokaana 7:49) Baagambanga nti tewali n’omu yali alina kuyigiriza bantu ng’abo oba okukolagana nabo mu by’obusuubuzi wadde okulya nabo oba okusaba nabo. Omuntu okuwaayo muwala we okubafumbirwa, kyandibadde kibi nnyo n’okusinga okumuwaayo eri ensolo enkambwe okumutaagulataagula. Baakitwalanga nti abantu ng’abo tebajja kuzuukira.