EKITUNDU 3
“ALINA OMUTIMA OGW’AMAGEZI”
Amagezi aga nnamaddala kye kimu ku bintu eby’omuwendo by’oyinza okuluubirira okufuna. Yakuwa ye Nsibuko y’amagezi ago. Mu kitundu kino tugenda kwekenneenya amagezi ga Yakuwa Katonda agataliiko kkomo. Yobu yamwogerako bw’ati: “Alina omutima ogw’amagezi.” —Yobu 9:4, obugambo obuli wansi.