LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • cl sul. 19 lup. 226-237
  • ‘Amagezi ga Katonda Agali mu Kyama Ekitukuvu’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Amagezi ga Katonda Agali mu Kyama Ekitukuvu’
  • Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Kibikkulwa Mpolampola
  • Endagaano Eyakolebwa ne Ibulayimu
  • Endagaano Eyakolebwa ne Isirayiri
  • Endagaano y’Obwakabaka Eyakolebwa ne Dawudi
  • Ekyama Ekitukuvu Kibikkulwa!
  • Endagaano Empya
  • Amagezi ga Katonda n’Ekyama Ekitukuvu
  • Ba n’Okukkiriza okw’Amaanyi mu Bwakabaka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Mujja Kuba ‘Obwakabaka bwa Bakabona’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Engeri Katonda gy’Anaatuukirizaamu Ebigendererwa Bye
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Ebirimu
    Zuukuka!—2018
See More
Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
cl sul. 19 lup. 226-237
Ibulayimu ng’atunuulidde emmunyeenye.

ESSUULA 19

‘Amagezi ga Katonda Agali mu Kyama Ekitukuvu’

1, 2. ‘Kyama ki ekitukuvu’ kye twagala okumanya era lwaki?

EBYAMA! Olw’okuba bisikiriza era nga biwuniikiriza, abantu batera okuzibuwalirwa okubikuuma. Kyokka, Bayibuli egamba nti: “Ekitiibwa kya Katonda kwe kukuuma ensonga nga ya kyama.” (Engero 25:2) Yakuwa, Omufuzi w’Obutonde Bwonna era Omutonzi, akuuma ebintu ebimu nga bya kyama okutuusa ng’ekiseera eky’okubibikkula kituuse.

2 Kyokka waliwo ekyama ekiwuniikiriza era ekyewuunyisa Yakuwa ky’abikkudde mu Kigambo kye. Kiyitibwa “ekyama ekitukuvu eky’ebyo by’ayagala.” (Abeefeso 1:9) Okumanya ebikwata ku kyama ekyo tekijja kukoma ku kuleetera ssanyu, naye era kijja kukuviirako okulokolebwa n’okutegeera ebintu ebimu ebikwata ku magezi ga Yakuwa agatakoma.

Kibikkulwa Mpolampola

3, 4. Obunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15 bwawa butya essuubi, era bwalimu ‘kyama ki ekitukuvu’?

3 Adamu ne Kaawa bwe baayonoona, ekigendererwa kya Yakuwa eky’okufuula ensi olusuku lwe olulimu abantu abatuukiridde kyalabika ng’ekiremeseddwa. Kyokka amangu ddala Katonda yayogera ekyo kye yandikoze okugonjoola ensonga eyo! Yagamba nti: “Nja kuteekawo obulabe wakati wo [omusota] n’omukazi, ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde lye. Alikubetenta omutwe era naawe olimubetenta ekisinziiro.”—Olubereberye 3:15.

4 Ebigambo ebyo byali bitegeeza ki? Omukazi oyo ye yali ani? Omusota gwali gukiikirira ani? Ani yali “ezzadde” eryandibetense omutwe gw’omusota? Adamu ne Kaawa baali tebamanyi. Kyokka ebyo Katonda bye yayogera byawa essuubi bazzukulu ba Adamu ne Kaawa abandibadde abeesigwa. Ekigendererwa kya Katonda kyali kirina okutuukirira. Mu ngeri ki? Ekyo kyali kyama! Bayibuli ekiyita ‘amagezi ga Katonda agali mu kyama ekitukuvu.’—1 Abakkolinso 2:7.

5. Waayo ekyokulabirako ekiraga ensonga lwaki Yakuwa yabikkula mpolampola ekyama kye.

5 Yakuwa, oyo “abikkula ebyama,” ddaaki yandibikkudde kalonda yenna akwata ku kyama ekyo. (Danyeri 2:28) Kyokka ekyo yandikikoze mpolampola. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri taata gye yandizzeemu ng’omwana we amubuuzizza nti, “Taata, nnazaalibwa ntya?” Taata ow’amagezi ategeeza omwana we ebyo byokka omwana oyo by’ayinza okutegeera. Omwana bw’agenda akula, taata yeeyongera okumutegeeza ebirala. Mu ngeri y’emu, Yakuwa asalawo ddi lw’alina okutegeeza abantu by’ayagala n’ekigendererwa kye.—Engero 4:18; Danyeri 12:4.

6. (a) Endagaano eba na kigendererwa ki? (b) Lwaki Yakuwa akola endagaano n’abantu?

6 Yakuwa yabikkula atya ekyama kye? Yakozesa endagaano ezitali zimu okubikkula bingi ebikwata ku kyama ekitukuvu. Oyinza okuba nga wali okozeeko endagaano, oboolyawo ng’ogula ennyumba oba nga weewola ssente. Endagaano ng’eyo ewa obukakafu nti ebyo ebikkiriziganyiziddwako bijja kutuukirizibwa. Naye lwaki kyali kyetaagisa Yakuwa okukola endagaano n’abantu? Kya lwatu, ekigambo kye kiwa obukakafu nti ebisuubizo bye bijja kutuukirizibwa. Ekyo kituufu, naye emirundi mingi Katonda by’ayogera abikakasa ng’akola endagaano. Ffe abantu abatatuukiridde, endagaano zino zituyamba okweyongera okuba abakakafu nti Yakuwa bye yasuubiza bijja kutuukirira.—Abebbulaniya 6:16-18.

Endagaano Eyakolebwa ne Ibulayimu

7, 8. (a) Ndagaano ki Yakuwa gye yakola ne Ibulayimu, era biki by’etuteegeeza ku kyama ekitukuvu? (b) Yakuwa yalaga atya olunyiriri lw’obuzaale ezzadde eryasuubizibwa mwe lyandiyitidde?

7 Emyaka egisoba mu nkumi bbiri nga Adamu ne Kaawa bamaze okugobebwa mu Lusuku Edeni, Yakuwa yagamba Ibulayimu omuweereza we omwesigwa nti: “Nja kwaza ezzadde lyo libe ng’emmunyeenye ez’oku ggulu, . . . era amawanga gonna ag’oku nsi galyefunira omukisa okuyitira mu zzadde lyo olw’okuba owulirizza eddoboozi lyange.” (Olubereberye 22:17, 18) Yakuwa yakakasa ekisuubizo kino ng’akola endagaano naye era ng’agikakasa n’ekirayiro. (Olubereberye 17:1, 2; Abebbulaniya 6:13-15) Kyewuunyisa okuba nti Mukama Afuga Byonna yakola endagaano ey’okuwa abantu omukisa!

“Nja kwaza ezzadde lyo libe ng’emmunyeenye ez’oku ggulu”

8 Endagaano gye yakola ne Ibulayimu yakiraga nti ezzadde eryasuubizibwa yandibadde muntu, kubanga yandibadde muzzukulu wa Ibulayimu. Yandibadde ani? Ekiseera bwe kyayitawo, Yakuwa yagamba nti ezzadde lyandiyitidde mu Isaaka, mutabani wa Ibulayimu. Ku batabani ba Isaaka ababiri, Yakobo ye yalondebwa okuyitiramu ezzadde. (Olubereberye 21:12; 28:13, 14) Oluvannyuma Yakobo yayogera ebigambo bino eby’obunnabbi ku omu ku batabani be 12: “Ddamula teevenga mu Yuda, n’omuggo gw’oyo afuga teguuvenga wakati wa bigere bye, okutuusa Siiro [oba, Nnannyini Kyo,” obugambo obuli wansi] lw’alijja, era abantu balimugondera.” (Olubereberye 49:10) Kati kyali kitegeerekese nti ezzadde yandibadde kabaka, ng’ava mu lunyiriri lwa Yuda!

Endagaano Eyakolebwa ne Isirayiri

9, 10. (a) Yakuwa yakola ndagaano ki n’eggwanga lya Isirayiri, era endagaano eyo yawa bukuumi ki? (b) Amateeka gaalaga gatya nti abantu beetaaga ekinunulo?

9 Mu 1513 E.E.T., Yakuwa yakola enteekateeka eyandisobozesezza okubikkula ebirala ebikwata ku kyama ekitukuvu. Yakola endagaano ne bazzukulu ba Ibulayimu, eggwanga lya Isirayiri. Wadde nga tekyagobererwa, endagaano y’Amateeka ga Musa yalina ekifo kikulu nnyo mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa eky’okuleeta ezzadde eryasuubizibwa. Mu ngeri ki? Lowooza ku bintu bisatu. Ekisooka, endagaano y’Amateeka yalinga ekisenge ekiwa obukuumi. (Abeefeso 2:14) Amateeka ag’obutuukirivu agaagirimu gaalinga ekisenge ekyali kyawula Abayudaaya n’ab’amawanga. Bwe kityo, Amateeka ago gaayamba okukuuma olunyiriri omwandiyitidde ezzadde eryasuubizibwa. Olw’obukuumi obwo, ekiseera Katonda kye yali ateeseteese Masiya okuzaalibwa mu kika kya Yuda we kyatuukira, eggwanga lya Isirayiri lyali likyaliwo.

10 Eky’okubiri, Amateeka gaalaga bulungi nti abantu beetaaga ekinunulo. Olw’okuba gaali gatuukiridde, gaalaga nti abantu aboonoonyi tebasobola kugatuukiriza mu bujjuvu. Bwe kityo, Amateeka gaayoleka “ebyonoono, okutuusa ezzadde eryaweebwa ekisuubizo lwe lyandizze.” (Abaggalatiya 3:19) Ssaddaaka z’ensolo Abayisirayiri ze baalagirwa okuwangayo, zaali tezisobola kutangirira bibi mu bujjuvu. Omutume Pawulo yagamba nti ‘omusaayi gw’ente ennume n’ogw’embuzi tegusobola kuggyawo bibi.’ N’olwekyo, ssaddaaka ezo zaali zisonga ku ssaddaaka ya Kristo. (Abebbulaniya 10:1-4) N’olwekyo, eri Abayudaaya abeesigwa, endagaano eyo ey’amateeka yali ‘mukuumi abatwala eri Kristo.’—Abaggalatiya 3:24.

11. Endagaano y’Amateeka yawa Isirayiri ssuubi ki ery’ekitalo, naye lwaki eggwanga eryo okutwalira awamu lyafiirwa enkizo eyo?

11 Eky’okusatu, endagaano yawa eggwanga lya Isirayiri essuubi ery’ekitalo. Yakuwa yagamba Abayisirayiri nti bwe bandikoledde ku ebyo ebyali mu ndagaano, bandifuuse “obwakabaka bwa bakabona era eggwanga ettukuvu.” (Okuva 19:5, 6) Eggwanga lya Isirayiri lye lyavaamu abaasooka okubeera bakabona mu bwakabaka obw’omu ggulu. Kyokka okutwalira awamu, Abayisirayiri baajeemera endagaano y’Amateeka, ne bagaana okukkiriza ezzadde eryafuuka Masiya, era bwe kityo ne bafiirwa enkizo eyo gye baalina ey’okubeera bakabona mu bwakabaka obw’omu ggulu. Kati olwo baani abandijjuzza omuwendo gwa bakabona era bakabaka? Bakabona era bakabaka abo bandibadde na kakwate ki n’ezzadde eryasuubizibwa? Ebintu ng’ebyo ebikwata ku kyama ekitukuvu byandibikkuddwa mu kiseera ekituufu.

Endagaano y’Obwakabaka Eyakolebwa ne Dawudi

12. Yakuwa yakola ndagaano ki ne Dawudi, era endagaano eyo yatangaaza etya ku kyama kye ekitukuvu?

12 Mu kyasa 11, E.E.T., Yakuwa yayongera okutangaaza ku kyama ekitukuvu bwe yakola endagaano endala. Yasuubiza Kabaka Dawudi eyali omwesigwa nti: “Ndissaawo ezzadde lyo eririkuddirira, . . . era ndinyweza obwakabaka bwe . . . era ndinyweza entebe y’obwakabaka bwe emirembe n’emirembe.” (2 Samwiri 7:12, 13; Zabbuli 89:3) Ebigambo ebyo biraga nti ezzadde eryasuubizibwa lyali lya kuva mu nnyumba ya Dawudi. Naye omuntu obuntu owa bulijjo ye yandifuze “emirembe n’emirembe”? (Zabbuli 89:20, 29, 34-36) Era kabaka ng’oyo yandisobodde okununula abantu okuva mu kibi n’okufa?

13, 14. (a) Okusinziira ku Zabbuli 110, Yakuwa yasuubiza ki Kabaka gwe yafukako amafuta? (b) Bannabbi ba Yakuwa baayogera bintu ki ebirala ebikwata ku Zzadde eryasuubizibwa?

13 Ng’aluŋŋamizibwa omwoyo gwa Katonda, Dawudi yawandiika bw’ati: “Yakuwa yagamba Mukama wange nti: ‘Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ng’entebe y’ebigere byo.’ Yakuwa alayidde era talikyusa kirowoozo: ‘Oli kabona emirembe gyonna nga Merukizeddeeki!’” (Zabbuli 110:1, 4) Ebigambo bya Dawudi byali bikwata butereevu ku zzadde eryasuubizibwa, oba Masiya. (Ebikolwa 2:35, 36) Kabaka yandifuze nga tasinziira mu Yerusaalemi, wabula ng’asinziira mu ggulu ku ‘mukono ogwa ddyo’ ogwa Yakuwa. Ekyo kyandimusobozesezza okuba n’obuyinza, si ku Isirayiri yokka, naye ku nsi yonna. (Zabbuli 2:6-8) Wano era waliwo ekirala ekyabikkulwa. Weetegereze nti Yakuwa yalayira nti Masiya yandibadde ‘kabona nga Merukizeddeeki.’ Okufaananako Merukizeddeeki, eyaweereza nga kabaka era kabona mu kiseera kya Ibulayimu, ezzadde eryasuubizibwa lyandirondeddwa okuweereza nga Kabaka era Kabona!—Olubereberye 14:17-20.

14 Mu myaka egyaddirira, Yakuwa yakozesa bannabbi be okubikkula ebirala ebikwata ku kyama kye ekitukuvu. Ng’ekyokulabirako, Isaaya yagamba nti ezzadde lyandiwaddeyo obulamu bwalyo nga ssaddaaka. (Isaaya 53:3-12) Mikka yalagula ekifo Masiya gye yandizaaliddwa. (Mikka 5:2) Danyeri yalagula ekiseera kyennyini ezzadde we lyandirabikidde ne we lyandifiiridde.—Danyeri 9:24-27.

Ekyama Ekitukuvu Kibikkulwa!

15, 16. (a) Omwana wa Yakuwa yatuuka atya ‘okuzaalibwa omukazi’? (b) Kiki Yesu kye yali asobola okubeera olw’olunyiriri lw’obuzaale bw’abazadde be, era yalabika ddi ng’ezzadde eryasuubizibwa?

15 Engeri obunnabbi obwo gye bwandituukiriziddwamu kyasigala nga kyama okutuusa ng’ezzadde limaze okujja. Abaggalatiya 4:4 lugamba nti: “Ekiseera ekigereke bwe kyatuuka, Katonda yatuma Omwana we eyazaalibwa omukazi.” Mu mwaka 2 E.E.T., malayika yagamba Maliyamu, omuwala Omuyudaaya eyali embeerera nti: “Laba! oliba olubuto era olizaala omwana ow’obulenzi era olimutuuma erinnya Yesu. Oyo aliba mukulu era aliyitibwa Mwana w’Oyo Asingayo Okuba Waggulu; era Yakuwa Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe. . . . Omwoyo omutukuvu gulikujjako, era amaanyi g’Oyo Asingayo Okuba Waggulu galikujjako. N’olw’ensonga eyo, n’oyo alizaalibwa aliyitibwa mutukuvu, Mwana wa Katonda.”—Lukka 1:31, 32, 35.

16 Oluvannyuma Yakuwa yaggya obulamu bw’Omwana we mu ggulu n’abuteeka mu lubuto lwa Maliyamu, n’asobola okuzaalibwa omukazi. Maliyamu yali tatuukiridde. Kyokka Yesu teyasikira butali butuukirivu, kubanga yali “Mwana wa Katonda.” Ate era olw’okuba bazadde ba Yesu baali bazzukulu ba Dawudi, Yesu yali asobola okubeera omusika wa Dawudi. (Ebikolwa 13:22, 23) Yesu bwe yabatizibwa mu mwaka gwa 29 E.E., Yakuwa yamufukako omwoyo omutukuvu era n’agamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsiima.” (Matayo 3:16, 17) Kyaddaaki, ezzadde lyalabika! (Abaggalatiya 3:16) Ekiseera kyali kituuse okubikkula ebirala ebikwata ku kyama ekitukuvu.—2 Timoseewo 1:10.

17. Kiki ekyabikkulwa ku abo aboogerwako mu Olubereberye 3:15?

17 Mu buweereza bwe ku nsi, Yesu yakiraga nti omusota ogwogerwako mu Olubereberye 3:15, ye Sitaani, era nti n’ezzadde ly’omusota beebo abakola Sitaani by’ayagala. (Matayo 23:33; Yokaana 8:44) Oluvannyuma Yakuwa yalaga engeri abo bonna gye bandizikiriziddwamu. (Okubikkulirwa 20:1-3, 10, 15) Ate omukazi ayogerwako ye “Yerusaalemi ekya waggulu,” ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa ekirimu ebitonde eby’omwoyo.a—Abaggalatiya 4:26; Okubikkulirwa 12:1-6.

Endagaano Empya

18. “Endagaano empya” erina kigendererwa ki?

18 Oboolyawo ekintu ekyasingirayo ddala okwewuunyisa kyekyo ekyabikkulwa mu kiro ekyasembayo nga Yesu tannattibwa, bwe yategeeza abayigirizwa be abeesigwa ku ‘ndagaano empya.’ (Lukka 22:20) Okufaananako Endagaano y’Amateeka eyasookawo, endagaano eno empya yandiviiriddeko abantu abamu okufuuka ‘bakabaka era bakabona.’ (Okuva 19:6; 1 Peetero 2:9) Kyokka endagaano eno teyandiviiriddeko kuteekebwawo ggwanga ery’omubiri, wabula ery’omwoyo, “Isirayiri wa Katonda,” nga lirimu abagoberezi ba Yesu abeesigwa abaafukibwako amafuta. (Abaggalatiya 6:16) Bano abali mu ndagaano empya baali ba kukolera wamu ne Yesu okuleetera abantu emikisa!

19. (a) Lwaki endagaano empya esobozesa abantu okufuuka ‘bakabaka era bakabona’? (b) Lwaki Abakristaayo abaafukibwako amafuta bayitibwa ‘ekitonde ekiggya,’ era bameka abanaaweereza ne Kristo mu ggulu?

19 Naye endagaano empya esobozesa etya abantu abamu okufuuka ‘bakabaka era bakabona’ ab’okuleetera abantu emikisa? Mu kifo ky’okuleetera abayigirizwa ba Yesu okubaako omusango, esobozesa ebibi byabwe okusonyiyibwa okuyitira mu ssaddaaka ye. (Yeremiya 31:31-34) Bwe bafuna enkolagana ennungi ne Yakuwa, abafuula ab’omu maka ge mu ggulu era n’abafukako omwoyo omutukuvu. (Abaruumi 8:15-17; 2 Abakkolinso 1:21) Mu ngeri eyo, ‘abazaala buggya ne baba n’essuubi eddamu eribaterekeddwa mu ggulu.’ (1 Peetero 1:3, 4) Olw’okuba abantu baatondebwa kubeera ku nsi, Abakristaayo abaafukibwako amafuta bayitibwa ‘ekitonde ekiggya.’ (2 Abakkolinso 5:17) Bayibuli eraga nti 144,000 bajja kufuga abantu ku nsi nga basinziira mu ggulu.—Okubikkulirwa 5:9, 10; 14:1-4.

20. (a) Kiki Yakuwa kye yabikkula ku kyama ekitukuvu mu 36 E.E.? (b) Baani abanaafuna emikisa egyasuubizibwa Ibulayimu?

20 Yesu n’abaafukibwako amafuta bano, lye “ezzadde lya Ibulayimu.”b (Abaggalatiya 3:29) Abaasooka okulondebwa baali Bayudaaya ab’omubiri. Naye mu mwaka gwa 36 E.E., waliwo ekirala ekyabikkulwa ekikwata ku kyama kino ekitukuvu: Ab’amawanga, kwe kugamba, abo abatali Bayudaaya, nabo bandibadde n’essuubi ery’okugenda mu ggulu. (Abaruumi 9:6-8; 11:25, 26; Abeefeso 3:5, 6) Abakristaayo abaafukibwako amafuta be bokka abandifunye emikisa egyasuubizibwa Ibulayimu? Nedda. Ssaddaaka ya Yesu eganyula abantu bonna. (1 Yokaana 2:2) Ekiseera bwe kyayitawo, Yakuwa yagamba nti “ekibiina ekinene” omuntu yenna ky’atayinza kubala kyandiwonyeewo ng’enteekateeka ya Sitaani ezikirizibwa. (Okubikkulirwa 7:9, 14) Abantu abalala bangi nnyo bajja kuzuukizibwa babeere mu Lusuku lwa Katonda emirembe gyonna!—Lukka 23:43; Yokaana 5:28, 29; Okubikkulirwa 20:11-15; 21:3, 4.

Amagezi ga Katonda n’Ekyama Ekitukuvu

21, 22. Mu ngeri ki ekyama kya Yakuwa gye kyolekamu amagezi ge?

21 Ekyama kya Katonda ekitukuvu kyoleka ‘amagezi ge’ amangi. (Abeefeso 3:8-10) Nga Yakuwa yayoleka amagezi mangi nnyo mu kuteekawo ekyama kino, ate oluvannyuma n’akibikkula mpolampola! Yakimanya nti abantu tebandisobodde kutegeera byonna ebizingirwa mu kyama kino omulundi gumu. Bwe yakibikkula empolampola yaleka abantu okukyoleka nti bamwesiga.—Zabbuli 103:14.

22 Ate era Yakuwa yayoleka amagezi ge amangi ennyo bwe yalonda Yesu okuba Kabaka. Omwana wa Yakuwa yeesigika okusinga ebitonde ebirala byonna. Olw’okuba yaliko omuntu alina omusaayi n’omubiri, Yesu yayita mu bizibu bingi nnyo. Amanyi bulungi ebizibu by’abantu. (Abebbulaniya 5:7-9) Ate abo abanaafuga ne Yesu? Mu byasa bingi ebizze biyitawo, abasajja n’abakazi okuva mu bika, ennimi, n’ebitundu eby’enjawulo, bafukiddwako omwoyo omutukuvu. Okutwalira awamu, abantu abo tebalina kizibu kyonna kye batayolekaganye nakyo. (Abeefeso 4:22-24) Okubeera wansi w’obufuzi bwa bakabaka bano era bakabona abasaasizi, kijja kuba kya ssanyu nnyo!

23. Lwaki nkizo ya maanyi okumanya ekyama ekitukuvu, era kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?

23 Omutume Pawulo yagamba nti: “Ekyama ekitukuvu ekyakwekebwa okuva ku nteekateeka z’ebintu ez’edda n’okuva mu mirembe egy’edda . . . kimanyisiddwa eri abatukuvu be.” (Abakkolosaayi 1:26) Abatukuvu ba Yakuwa bategedde bingi ebikwata ku kyama kye, era babibuuliddeko obukadde n’obukadde bw’abantu abalala. Tulina enkizo ya maanyi nnyo okuba nti Yakuwa “atutegeeza ekyama ekitukuvu eky’ebyo by’ayagala”! (Abeefeso 1:9) Ka tubuulire abalala ku kyama kino nga tubayamba okutegeera amagezi ga Yakuwa amangi ennyo!

a “Ekyama kino ekitukuvu eky’okwemalira ku Katonda,” kyabikkulwa mu Yesu. (1 Timoseewo 3:16) Okumala ekiseera kiwanvu, kyali tekinnamanyika obanga omuntu yenna yandisobodde okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa ne mu mbeera enzibu ennyo. Yesu yalaga nti ekyo kisoboka. Mu bigezo byonna Sitaani bye yamuleetera, yasigala nga mwesigwa eri Yakuwa.—Matayo 4:1-11; 27:26-50.

b Yesu era yakola “endagaano y’obwakabaka” n’ekibinja kye kimu. (Lukka 22:29, 30) Mu ngeri endala, Yesu yakola endagaano ‘n’ekisibo ekitono,’ bafuge naye mu ggulu ng’ekitundu eky’okubiri eky’ezzadde lya Ibulayimu.—Lukka 12:32.

Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako

  • Yokaana 16:7-12 Yesu yakoppa atya Kitaawe mu kubikkula amazima mpolampola?

  • 1 Abakkolinso 2:6-16 Lwaki bangi tebasobola kutegeera byama bya Yakuwa ebitukuvu, naye ffe tuyinza tutya okubitegeera?

  • Abeefeso 3:10 Abakristaayo balina nkizo ki leero ku bikwata ku kyama kya Katonda ekitukuvu?

  • Abebbulaniya 11:8-10 Ekyama kya Katonda ekitukuvu kyanyweza kitya okukkiriza kw’abasajja ab’edda, wadde nga byonna ebikikwatako byali tebinnamanyibwa?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share