Essuula Eyokusatu
Nywerera ku Kigambo kya Katonda
1. (a) Ekigambo kya Katonda kyatuukirizibwa kitya eri Isiraeri ey’edda? (b) Lwaki ekyo kikulu gye tuli?
“NAMMWE mumanyi mu mitima gyammwe gyonna ne mu mmeeme zammwe zonna, nga tewali kigambo [na] kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako; byonna bi[tuukiri]dde.” (Yoswa 23:14-16) Bw’atyo, Yoswa bwe yagamba abakadde b’omu Isiraeri oluvannyuma lw’okusenga mu Nsi Ensuubize. Yee, ebisuubizo bya Yakuwa byatuukirira. Ebintu ebyo n’ebirala byonna ebiri mu Baibuli, byawandiikibwa ‘tusobole okuba n’essuubi.’—Abaruumi 15:4.
2. (a) Baibuli ‘yaluŋŋamizibwa Katonda’ mu ngeri ki? (b) Bwe tumanya nti Baibuli yaluŋŋamizibwa Katonda, tubeera tulina kukola ki?
2 Wadde ng’abantu nga 40 be baakozesebwa okuwandiika Baibuli, Yakuwa kennyini ye Yawandiisa Baibuli. Kino kitegeeza nti ye yakubiriza okuwandiika buli ekigirimu? Yee. Ekyo yakikola ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu, amaanyi ge agakola. Omutume Pawulo yayogera kituufu bwe yagamba: “Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda . . . omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng’alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.” Abantu abakakafu ku ekyo bakkiriza ebiri mu Baibuli era bagoberera ebigirimu mu bulamu bwabwe.—2 Timoseewo 3:16, 17; 1 Abasessalonika 2:13.
Yamba Abalala Okugitegeera
3. Ngeri ki esingayo obulungi ey’okuyambamu bangi abatakkiriza nti Baibuli Kigambo kya Katonda?
3 Bangi be twogera nabo tebakkiriza nti Baibuli Kigambo kya Katonda. Tuyinza tutya okubayamba? Emirundi mingi, engeri esingayo obulungi kwe kugibikkula n’obalaga ebigirimu. “Ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga buli kitala kyonna eky’obwogi obubiri . . . era kyangu okwawula okulowooza n’okufumiitiriza okw’omu mutima.” (Abaebbulaniya 4:12) “Ekigambo kya Katonda” si kitabo kya byafaayo; kya makulu! Ebisuubizo bya Baibuli bigenda kutuukirizibwa. Obubaka bwa Baibuli kye bukola ku mutima gw’omuntu kya maanyi nnyo okusinga kyonna kye tuyinza okwogera.
4. Nnyinnyonnyola ki ez’amazima ga Baibuli ezikyusizza endowooza z’abantu abamu, era lwaki?
4 Okulaba erinnya lya Katonda mu Baibuli kireetedde bangi okutandika okugyekenneenya. Abalala basazeewo okuyiga Baibuli bwe balagiddwa ky’eyogera ku kigendererwa ky’obulamu, lwaki Katonda akyaleseewo obubi, amakulu g’ebintu ebiriwo, oba essuubi ly’obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi. Mu bitundu abantu gye batawaanyizibwa emyoyo emibi olw’okwenyigira mu bikolwa ebimu eby’eddiini, ennyinnyonnyola ya Baibuli ekwata ku kiviirako okutawanyizibwa ng’okwo n’engeri y’okufunamu obuweerero ereetedde abamu okwagala okumanya ebisingawo. Lwaki ensonga zino zisikiriza abantu abeesimbu? Kubanga Baibuli ye yokka eyeesigika mu kunnyonnyola ensonga ezo enkulu.—Zabbuli 119:130.
5. (a) Abantu bwe bagamba nti tebakkiririza mu Baibuli, kiyinza kuba nga kivudde ku ki? (b) Tuyinza tutya okuyamba abantu ng’abo?
5 Kyokka, kiba kitya singa abantu batugamba nti tebakkiririza mu Baibuli? Ekyo kyandituleetedde okulekera awo okwogera nabo? Nedda. Bwe baba nga beetegefu okukubaganya ebirowoozo twandyeyongedde okwogera nabo. Kyandiba nga Baibuli bagitwala okuba ekitabo kya Kristendomu. Obunnanfuusi bwa Kristendomu, okweyingiza mu by’obufuzi, awamu n’okusabiriza ssente, biyinza okuba nga bye bibaleetedde obutakkiririza mu Baibuli. Lwaki tobabuuza obanga ekyo kye kibaviiriddeko okuba n’endowooza eyo? Baibuli okuba nti evumirira amakubo ga Kristendomu, awamu n’enjawulo eriwo wakati wa Kristendomu n’Obukristaayo obw’amazima, biyinza okubaleetera okwagala okumanya ebisingawo.—Mikka 3:11, 12; Matayo 15:7-9; Yakobo 4:4.
6. (a) Ggwe kiki ekikukakasa nti Baibuli Kigambo kya Katonda? (b) Nsonga ki endala eziyinza okukozesebwa okuyamba abantu okutegeera nti Baibuli yava eri Katonda?
6 Abalala bayinza okuyambibwa singa mukubaganya ebirowoozo ku bujulizi obulaga nti Baibuli yaluŋŋamizibwa Katonda. Ggwe kiki ekikukakasa nti Baibuli yava eri Yakuwa Katonda? Kyekyo Baibuli ky’egamba okuba ensibuko yaayo? Oba kwe kuba nti Baibuli erimu obunnabbi bungi obukwata ku biseera eby’omu maaso, obuteekwa okuba nga bwava eri oyo alina obuyinza obusukkiridde obw’abantu? (2 Peetero 1:20, 21) Kwe kuba nti Baibuli yonna ekwatagana, wadde nga yawandiikibwa abasajja 40 ab’enjawulo mu bbanga lya myaka nga 1,600? Oba kwe kuba nti ntuufu ku bikwata ku sayansi okwawukana ku bitabo ebirala ebyawandiikibwa mu kiseera kyayo? Kyandiba obwesimbu bw’abo abaagiwandiika? Oba kwe kuba nti ekyaliwo wadde nga waaliwo okufuba okw’amaanyi okugizikiriza? Kyonna ekikusikirizza oyinza okukikozesa okuyamba abalala.a
Okusoma Kwaffe Okwa Baibuli
7, 8. (a) Ku bikwata ku Baibuli, twandikoze ki? (b) Kiki kye twetaaga ng’oggyeko okusoma Baibuli ku lwaffe? (c) Ggwe ku lulwo oyize otya ebigendererwa bya Yakuwa?
7 Ng’oggyeko okuyamba abalala okukkiriza Baibuli, ffe ffenyini twetaaga okuwaayo ebiseera okugisoma obutayosa. Bw’otyo bw’okola? Mu bitabo byonna ebyali bikubiddwa, kino kye kisinga obukulu. Kya lwatu kino tekitegeeza nti bwe tugisoma ku lwaffe tuba tetwetaaga kintu kirala kyonna. Ebyawandiikibwa bitulabula obuteeyawula ku bannaffe. Tetwandirowoozezza nti tusobola okutegeera ebintu byonna ku lwaffe. Okwesomesa ffekka n’obutayosa kubaawo mu nkuŋŋaana za bantu ba Katonda, byetaagisa bwe tuba ab’okubeera Abakristaayo abatagudde lubege.—Engero 18:1; Abaebbulaniya 10:24, 25.
8 Ku nsonga eno, Baibuli eyogera ku mukungu Omuwesiyopya eyali asoma obunnabbi bwa Isaaya. Malayika yagamba Firipo, omubuulizi Omukristaayo okubuuza omusajja: “Obitegedde by’osoma?” N’obwetoowaze, Omuwesiyopya yaddamu: “Nnyinza ntya, wabula nga waliwo anandagirira?” Omuwesiyopya yasaba Firipo okumunnyonnyola Ebyawandiikibwa ebyo. Kyokka, Firipo teyali muntu eyasomanga Baibuli ku lulwe yekka era n’awa endowooza ye ku Byawandiikibwa. Yakolaganiranga wamu n’entegeka ya Katonda erabika. N’olwekyo, yali asobola okuyamba Omuwesiyopya okuganyulwa mu kuyigirizibwa Yakuwa okuyitira mu ntegeka eyo. (Ebikolwa 6:5, 6; 8:5, 26-35) Mu ngeri y’emu leero, tewali n’omu ategeera ebigendererwa bya Yakuwa ku lulwe. Ffenna twetaaga obuyambi Yakuwa bw’awa okuyitira mu ntegeka ye erabika.
9. Nteekateeka ki ey’okusoma Baibuli eyinza okutuganyula ffenna?
9 Okutuyamba okutegeera Baibuli, entegeka ya Yakuwa ennyonnyola Ebyawandiikibwa mu bitabo ebitali bimu. Okugatta ku ekyo, waliwo enteekateeka ey’okusoma Baibuli mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa byonna okwetooloola ensi yonna. Tuyinza okufuna emiganyulo mingi mu kwekenneenya Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. (Zabbuli 1:1-3; 19:7, 8) Fuba okusoma Baibuli obutayosa. Wadde nga tojja kutegeera buli kimu, kijja kukuganyula nnyo okumanya ebiri mu Byawandiikibwa byonna okutwalira awamu. Ng’ekyokulabirako, singa osoma empapula nnya zokka oba ttaano buli lunaku, oyinza okumalako Baibuli mu mwaka nga gumu.
10. (a) Ddi lw’osoma Baibuli? (b) Baani abalala be wandisomye nabo Baibuli, era lwaki kikulu okugisoma obutayosa?
10 Ddi lw’oyinza okusoma Baibuli? Singa owaayo eddakiika 10 oba 15 buli lunaku, ojja kuganyulwa nnyo. Ekyo bw’oba tokisobola, waakiri tegekawo ebiseera ebikakafu eby’okugisoma buli wiiki era obinywerereko. Bw’oba oli mufumbo, ggwe ne munno, buli omu ayinza okusomera munne Baibuli mu ddoboozi eriwulikika. Bwe muba n’abaana abamanyi okusoma, bayinza okusoma mu mpalo era mu ddoboozi eriwulikika. Okusoma Baibuli yandibadde mpisa yaffe eya bulijjo ng’okulya emmere. Tukimanyi nti singa omuntu talya bulungi, ayinza okulwalalwala. Mu ngeri y’emu, embeera yaffe ey’eby’omwoyo, era n’obulamu bwaffe obw’olubeerera, byesigamye ku kuliisibwa obutayosa ku ‘buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.’—Matayo 4:4.
Ekigendererwa Kyaffe
11. Twandibadde na kigendererwa ki mu kusoma Baibuli?
11 Twandibadde na kigendererwa ki mu kusoma Baibuli? Ekiruubirirwa kyaffe tekyandibadde kusoma busomi kumalako empapula ze tutegese okusoma. Ekiruubirirwa kyaffe kyandibadde okumanya Katonda mu ngeri esingawo, tweyongere okumwagala n’okumusinza mu ngeri gy’asiima. (Yokaana 5:39-42) Endowooza yaffe yandibadde ng’ey’omuwandiisi wa Baibuli eyagamba: “Ondage amakubo go, ai Mukama; onjigirize empenda zo.”—Zabbuli 25:4.
12. (a) Lwaki kikulu okufuna ‘okumanya okutuufu,’ era kufuba kwa ngeri ki okuyinza okwetaagisa ng’osoma okusobola okufuna okumanya ng’okwo? (b) Nsonga ki ennya ze tuyinza okukozesa okwekenneenya bye tusoma mu Baibuli? (Laba akasanduuko ku lupapula 30.) (c) Laga engeri y’okukozesaamu ensonga ezo ng’oddamu ebibuuzo ebiweereddwa mu katundu kano. Kebera ebyawandiikibwa ebiweereddwa, naye nga tebinokoddwayo mu Baibuli
12 Nga tuyigirizibwa Yakuwa, twandyegombye okufuna ‘okumanya okutuufu.’ Awatali kumanya ng’okwo, twandisobodde tutya okugoberera Ekigambo kya Katonda mu bulamu bwaffe oba okukinnyonnyola obulungi abalala? (Abakkolosaayi 3:10; 2 Timoseewo 2:15) Okufuna okumanya okutuufu kyetaagisa okusoma n’obwegendereza, era akatundu bwe kaba akazibu okutegeera, kiyinza okutwetaagisa okukasoma emirundi egiwerako okusobola okufuna amakulu agakalimu. Era tuganyulwa bwe tufumiitiriza ku bye tusomye, ne tubirowoozaako. Ensonga nnya ez’okukozesa nga twekenneenya ebyawandiikibwa ziragiddwa ku lupapula 30. Ebyawandiikibwa bingi biyinza okwekenneenyezebwa ng’okozesa emu ku zo, oba n’okusingawo. Ng’oddamu ebibuuzo ku mpapula eziddirira, ojja kulaba engeri kino gye kiyinza okukolebwamu.
(1) Emirundi mingi, ekyawandiikibwa ky’osoma kiyinza okukutegeeza Yakuwa ekyo ky’ali. Ng’ekyokulabirako, mu Zabbuli 139:13, 14, tukiraba nti Katonda afaayo nnyo ku mwana atannazaalibwa: “Wambikkako mu lubuto lwa mmange. Naakwebazanga; kubanga okukolebwa kwange kwa ntiisa, kwa kitalo: emirimu gyo gya kitalo; n’ekyo emmeeme yange ekimanyidde ddala.” Ng’ebitonde bya Yakuwa bya kitalo nnyo! Engeri abantu gye baakolebwamu eyoleka okwagala kwe okungi gye tuli.
Okusinziira ku biri mu Yokaana 14:9, 10, bwe tusoma ku ngeri Yesu gye yakolaganamu n’abalala, tuba tulaba ekyo Yakuwa kennyini kye yandikoze. Nga tulina ekyo mu birowoozo byaffe, kiki kye tuyinza okumanya ku Yakuwa okusinziira ku biri mu Lukka 5:12, 13 ne Lukka 7:11-15?
(2) Lowooza ku ngeri ebyo by’osoma gye bikwataganamu n’omutwe gwa Baibuli: okulaga obutuufu bw’obufuzi bwa Yakuwa n’okutukuza erinnya lye ng’ayitira mu Bwakabaka obufugibwa Ezzadde eryasuubizibwa, Yesu Kristo.
Ezeekyeri ne Danyeri baggumiza batya omutwe gwa Baibuli? (Ezeekyeri 38:21-23; Danyeri 2:44; 4:17; 7:9-14)
Baibuli eraga etya nti Yesu lye Zzadde eryasuubizibwa? (Abaggalatiya 3:16)
Ekitabo ky’Okubikkulirwa kyogera ku bintu ki ebikulu ebikwata ku mutwe gw’Obwakabaka? (Okubikkulirwa 11:15; 12:7-10; 17:16-18; 19:11-16; 20:1-3, 21:1-5)
(3) Weebuuze engeri gy’oyinza okuteeka mu nkola by’osoma. Ng’ekyokulabirako, mu kitabo ky’Okuva okutuuka mu Ekyamateeka tusoma ku mpisa ez’obugwenyufu n’obujeemu bwa Isiraeri. Tuyiga nti ebikolwa ebyo byavaamu obubi. Ekyo kyandituleetedde okwewala ekyokulabirako kya Isiraeri ekibi okusobola okusanyusa Yakuwa. “Ebyo byababaako abo okubeeranga ebyokulabirako; era byawandiikibwa olw’okutulabulanga ffe abatuukiddwako enkomerero z’emirembe.”—1 Abakkolinso 10:11.
Ebikwata ku Kayini okutta Abeeri tubiyigirako ki? (Olubereberye 4:3-12; Abaebbulaniya 11:4; 1 Yokaana 3:10-15; 4:20, 21)
Baibuli by’ebuulirira Abakristaayo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu, bikwata ne ku abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi? (Okubala 15:16; Yokaana 10:16)
Wadde nga tulina ennyimirira ennungi mu kibiina Ekikristaayo, lwaki twetaaga okweyongera okugoberera okubuulirira kwa Baibuli kwe tumanyi? (2 Abakkolinso 13:5; 1 Abasessalonika 4:1)
(4) Lowooza ku ngeri gy’oyinza okukozesaamu by’osoma okuyamba abalala. Abantu bonna bafaayo ku nsonga y’obulwadde. N’olwekyo tuyinza okubasomera ebyo Yesu bye yakola okubalaga ky’alikola ku kigero ekinene ng’afuga nga Kabaka: “Ebibiina bingi ne bijja gy’ali, nga birina abawenyera, n’abazibe b’amaaso, ne bakasiru, n’abalema, n’abalala bangi, . . . n’abawonya.”—Matayo 15:30.
Ani ayinza okuyambibwa ebyo ebikwata ku kuzuukizibwa kwa muwala wa Yayiro? (Lukka 8:41, 42, 49-56)
13. Biki bye tuyinza okusuubira okuva mu nteekateeka y’ekibiina kya Yakuwa ey’okusomanga n’okuyiganga Baibuli?
13 Ng’okusoma Baibuli kuba kwa muganyulo nnyo bwe tukozesa engeri ezo ennya ezoogeddwako waggulu! Mazima ddala, okusoma Baibuli si kintu kyangu. Naye kuyinza okutuganyula ekiseera kyonna eky’obulamu bwaffe, kubanga bwe tweyongera okusoma Ebyawandiikibwa, tweyongera okunywera mu by’omwoyo. Okusoma Baibuli obutayosa kujja kutusobozesa okunyweza enkolagana yaffe ne Kitaffe ow’okwagala, Yakuwa, era n’eri baganda baffe Abakristaayo. Kujja kutuyamba okugoberera okubuulirira ‘kw’okunywerera ku kigambo ky’obulamu.’—Abafiripi 2:16, NW.
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ensonga lwaki Baibuli egwana okwekenneenyezebwa, laba brocuwa A Book for All People, eyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Eby’Okwejjukanya
• Lwaki Baibuli yawandiikibwa era n’ekuumibwa okutuusa mu kiseera kyaffe?
• Tuyinza tutya okuyamba abalala okutegeera n’okuwa Baibuli ekitiibwa?
• Lwaki kya muganyulo okusoma Baibuli obutayosa? Nsonga ki ennya ze tuyinza okukozesa okwekenneenya bye tusoma?
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
BW’OBA OSOMA EKITUNDU MU BAIBULI, LOWOOZA KU
Kye kikutegeeza ku Yakuwa
Engeri gye kikwataganamu n’omutwe gwa Baibuli
Engeri gye kyandikutte ku bulamu bwo
Engeri gy’oyinza okukikozesaamu okuyamba abalala