LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lr sul. 5 lup. 32-36
  • “Ono Ye Mwana Wange”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Ono Ye Mwana Wange”
  • Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Similar Material
  • Yesu Kristo​—Tusaanidde Kumutwala Tutya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Yesu Azaalibwa mu Kisibo
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Yesu Yayiga Okubeera Omuwulize
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Malayika Akyalira Malyamu
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
See More
Yigira ku Muyigiriza Omukulu
lr sul. 5 lup. 32-36

ESSUULA 5

“Ono Ye Mwana Wange”

ABAANA bwe bakola ebintu ebirungi, abo ababalabirira basanyuka nnyo. Omuwala bw’akola ekintu ekirungi, taata we asanyuka nnyo era asobola okugamba abalala nti: “Ono muwala wange.” Era n’omulenzi bw’akola ebintu ebirungi, taata we asanyuka nnyo n’agamba nti: “Ono mutabani wange.”

Ne Yesu bulijjo akola ebisanyusa Kitaawe. Ye nsonga lwaki Kitaawe amwenyumirizaamu. Ojjukira ekyo Kitaawe wa Yesu kye yakola nga Yesu ali wamu n’abagoberezi be basatu?— Yee, Katonda yasinziira mu ggulu n’abagamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsiima.”​—Matayo 17:5.

Bulijjo Yesu kimusanyusa nnyo okukola ebyo Kitaawe by’ayagala. Omanyi lwaki? Kubanga ayagala nnyo Kitaawe. Omuntu bw’akola ekintu olw’okuba alina okukikola, kimuzibuwalira. Naye bw’akikola ng’ayagala, kimwanguyira.

Era ne bwe yali nga tannajja ku nsi, Yesu yalinga mwetegefu okukola kyonna Kitaawe kye yamugambanga. Kyali kityo kubanga ayagala nnyo Kitaawe, Yakuwa Katonda. Yesu yalina ekifo kikulu nnyo mu ggulu ng’ali ne Kitaawe. Naye waliwo omulimu omukulu ennyo Katonda gwe yali ayagala Yesu akole. Okusobola okukola omulimu ogwo, Yesu yalina okuva mu ggulu. Yalina okuzaalibwa ku nsi ng’omwana. Yesu yali mwetegefu okukola ekyo kubanga ekyo Yakuwa kye yali ayagala.

Malayika Gabulyeri alabikra Maliyamu

Kiki malayika Gabulyeri kye yagamba Maliyamu?

Yesu okusobola okuzaalibwa ku nsi ng’omwana, yali alina okubaako nnyina. Omanyi maama we?— Ye Maliyamu. Yakuwa yatuma malayika we Gabulyeri okuva mu ggulu ayogere ne Maliyamu. Gabulyeri yamugamba nti yali agenda kuzaala omwana ow’obulenzi. Omwana oyo yandituumiddwa erinnya Yesu. Naye kitaawe w’omwana oyo yandibadde ani?— Malayika yagamba nti Kitaawe w’omwana oyo yandibadde Yakuwa Katonda. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yandiyitiddwa Omwana wa Katonda.

Olowooza Maliyamu yawulira atya?— Yagamba nti, “Saagala kubeera maama wa Yesu”? Nedda, Maliyamu yali mwetegefu okukola Katonda kye yali ayagala. Naye Omwana wa Katonda ow’omu ggulu yandisobodde atya okuzaalibwa ku nsi ng’omwana? Mu ngeri ki okuzaalibwa kwa Yesu gye kwali okw’enjawulo ennyo ku kw’abaana abalala? Eky’okuddamu okimanyi?—

Katonda yatonda bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, nga basobola okwegatta bombi. Oluvannyuma lw’okwegatta, omwana yanditandise okukulira mu lubuto lwa maama we. Abantu bagamba nti kino kyamagero! Ndowooza naawe bw’ogamba.

Naye waliwo ekyamagero Katonda kye yakola ekyewuunyisa ennyo n’okusingawo. Yaddira obulamu bw’Omwana we eyali mu ggulu n’abuteeka mu lubuto lwa Maliyamu. Ekyo Katonda yali takikolangako era taddangamu kukikola okuva olwo. Nga Katonda amaze okukola ekyamagero ekyo, Yesu yatandika okukulira mu lubuto lwa Maliyamu ng’abaana abalala bwe bakulira mu mbuto za ba maama baabwe. Oluvannyuma, Maliyamu yafumbirwa Yusufu.

Ekiseera bwe kyatuuka Yesu okuzaalibwa, Maliyamu ne Yusufu baali mu kibuga ky’e Besirekemu. Naye kyali kijjudde abantu. Maliyamu ne Yusufu baabulwa aw’okusula, ne basula mu kifo ensolo we zisula. Nga bali mu kifo kyo, Maliyamu yazaala Yesu, era n’amuteeka mu lutiba ebisolo mwe biriira, nga bw’olaba mu kifaananyi kino.

Maliyamu ne Yusufu bateeka Yesu mu lutiba ebisolo mwe biriira

Lwaki Yesu ateekebwa mu lutiba ebisolo mwe biriira?

Waliwo ebintu ebyewuunyisa ebyaliwo ekiro ekyo nga Yesu azaaliddwa. Okumpi ne Besirekemu, malayika yalabikira abasumba abamu. Yabagamba nti Yesu yali muntu mukulu nnyo. Malayika yagamba nti: ‘Laba! Mbabuulira amawulire amalungi agajja okusanyusa abantu. Leero waliwo azaaliddwa ajja okulokola abantu.’—Lukka 2:10, 11.

Abasumba batunuulira bamalayika abatendereza Katonda

Mawulire ki amalungi omu ku bamalayika bano g’abuulidde abasumba?

Malayika yagamba abasumba nti bandisanze Yesu e Besirekemu, ng’azazikiddwa mu lutiba ebisolo mwe biriira. Amangu ago, bamalayika abalala okuva mu ggulu beegatta ku malayika ono eyasooka ne batendereza Katonda. Bamalayika baayimba nga bagamba nti “Ekitiibwa kibeere eri Katonda, n’emirembe gibeere ku nsi mu bantu Katonda b’asiima.”​—Lukka 2:12-14.

Nga bamalayika bamaze okugenda, abasumba baagenda e Besirekemu ne balaba Yesu. Bwe baatuuka eyo, baagamba Yusufu ne Maliyamu ebintu byonna ebirungi bye baali bawulidde. Osobola okuteebereza essanyu Maliyamu lye yafuna olw’okukkiriza okubeera maama wa Yesu?

Nga wayiseewo akaseera, Yusufu ne Maliyamu baatwala Yesu mu kibuga ky’e Nazaaleesi. Eyo Yesu gye yakulira. Ng’akuze, yatandika omulimu gwe omukulu ennyo ogw’okuyigiriza. Guno gwe gumu ku mirimu Yakuwa Katonda gye yali ayagala Omwana we akole ku nsi. Yesu yali mwetegefu okukola omulimu ogwo kubanga yali ayagala nnyo Kitaawe ow’omu ggulu.

Nga Yesu tannatandika mulimu gwe ng’Omuyigiriza Omukulu, Yokaana Omubatiza yamubatiza mu Mugga Yoludaani. Oluvannyuma lw’ekyo, waaliwo ekintu ekyewuunyisa! Yesu bwe yali ng’ava mu mazzi, Yakuwa yayogera ng’ayima mu ggulu n’agamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira.” (Matayo 3:17) Tosanyuka nga bazadde bo bakugambye nti bakwagala?— Ne Yesu ateekwa okuba nga yasanyuka.

Bulijjo Yesu yakolanga ekituufu. Teyeefuulanga kuba ekyo ky’atali. Teyagambanga bantu nti ye Katonda. Malayika Gabulyeri yali agambye Maliyamu nti Yesu yandiyitiddwa Omwana wa Katonda. Yesu kennyini yagamba nti yali Mwana wa Katonda. Era teyagambanga bantu nti yali amanyi bingi okusinga Kitaawe. Yagamba nti: “Kitange ansinga.”​—Yokaana 14:28.

Ne bwe yali mu ggulu, Kitaawe bwe yamuwanga omulimu gw’okukola, Yesu yagukolanga yakolanga. Teyagambanga nti agenda kugukola ate n’akola ekirala. Yali ayagala Kitaawe. N’olwekyo yawulirizanga ekyo Kitaawe kye yamugambanga. Era Yesu bwe yajja ku nsi, yakola ekyo Kitaawe ow’omu ggulu kye yamutuma okukola. Teyamalira biseera bye ku bintu birala. Mazima ddala, tekyewuunyisa nti Yakuwa asanyukira nnyo Omwana we!

Naffe twagala okusanyusa Yakuwa, si bwe kiri?— N’olwekyo, tulina okulagira ddala nti tuwuliriza Katonda nga Yesu bwe yakola. Katonda ayogera naffe okuyitira mu Bayibuli. Tekyandibadde kirungi okwefuula nti tuwuliriza Katonda naye ate ne tukkiriza oba ne tukola ebintu ebikontana ne Bayibuli, ggwe olowooza otya?— Era kijjukire nti tujja kusanyusa Yakuwa bwe tuba nga ddala tumwagala.

Kati soma ebyawandiikibwa bino ebirala ebiraga ebintu ebikwata ku Yesu bye twetaaga okumanya n’okukkiriza: Matayo 7:21-23; Yokaana 4:25, 26; ne 1 Timoseewo 2:5, 6.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share