LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lr sul. 6 lup. 37-41
  • Omuyigiriza Omukulu Yaweerezanga Abalala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Omuyigiriza Omukulu Yaweerezanga Abalala
  • Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Similar Material
  • Ensonga Lwaki Yesu Yali Muyigiriza Mukulu
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Ayigiriza ku Bwetoowaze ku Mbaga ey’Okuyitako Esembayo
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Bulijjo Oyagala Okuba nga Ggwe Asooka?
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • ‘Mbateereddewo Ekyokulabirako’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
Yigira ku Muyigiriza Omukulu
lr sul. 6 lup. 37-41

ESSUULA 6

Omuyigiriza Omukulu Yaweerezanga Abalala

KIKUSANYUSA nnyo ng’omuntu akukoledde ekintu ekirungi?— Yee, n’abantu abalala kibasanyusa nnyo ng’omuntu abakoledde ekintu ekirungi. Ffenna ekyo kitusanyusa. Omuyigiriza Omukulu ekyo yali akimanyi, era bulijjo yakoleranga abantu ebintu ebirungi. Yagamba nti: ‘Sajja kuweerezebwa, wabula okuweereza.’—Matayo 20:28.

Yesu alaba ng’abayigirizwa be babiri bakaayana

Abagoberezi ba Yesu baali bakaayanira ki?

N’olwekyo, bwe tuba twagala okubeera ng’Omuyigiriza Omukulu, kiki kye tulina okukola?— Tulina okuweereza abalala. Tulina okukolera abalala ebintu ebirungi. Kyo kituufu nti abantu bangi si bwe bakola. Mu butuufu, abantu abasinga obungi baagala abalala be baba babaweereza. N’abayigirizwa ba Yesu baalinako endowooza efaananako bw’etyo. Buli omu yali ayagala okuba nga y’asinga banne obukulu n’ekitiibwa.

Lumu Yesu yali atambula n’abayigirizwa be. Bwe baatuuka mu kibuga ky’e Kaperunawumu, okumpi n’Ennyanja y’e Ggaliraaya, ne bayingira bonna mu nnyumba. Nga bali omwo, Yesu yababuuza nti: “Mubadde mukaayanira ki mu kkubo?” Baasirika, kubanga bwe baali mu kkubo baali bakaayana bokka na bokka ani ku bo eyali asinga obukulu.​—Makko 9:33, 34.

Yesu yali akimanyi nti kikyamu omuyigirizwa we yenna okulowooza nti y’asinga banne obukulu. N’olwekyo, nga bwe twayiga mu ssuula esooka ey’ekitabo kino, yayimiriza omwana omuto wakati waabwe n’abagamba nti balina okuba abawombeefu ng’omwana oyo omuto. Naye era tebaayiga. N’olw’ensonga eyo, nga wabulayo akaseera katono attibwe, Yesu yabayigiriza ekintu kye baali batagenda kwerabira. Yakola ki?—

Bwe baali balya, Yesu yasituka ku mmeeza n’aggyako ekyambalo kye eky’okungulu. N’akwata ekitambaala n’akyesiba. Oluvannyuma n’ateeka amazzi mu bbenseni. Abagoberezi be bateekwa okuba nga baali beebuuza ky’agenda okukola. Nga bamutunuulidde, Yesu yasemberera buli omu, n’akutama, n’amunaaza ebigere. Era n’asiimuula ebigere byabwe ng’akozesa ekitambaala. Ekyo kiteeberezeemu! Singa waliwo, wandiwulidde otya?—

Yesu anaaza ebigere by’abayigirizwa be

Kiki Yesu kye yayigiriza abagoberezi be?

Abagoberezi be baali balowooza nti tekisaana Omuyigiriza Omukulu okukola ekintu ng’ekyo. Kyabakwasa ensonyi. Mu butuufu, Peetero yali tagenda kukkiriza Yesu kumunaaza bigere. Naye Yesu yagamba nti kyali kikulu nnyo ye okukikola.

Mu kiseera kyaffe abantu tebatera kunaaza bigere bya bannaabwe. Naye kino kyakolebwanga mu kiseera Yesu we yabeerera ku nsi. Omanyi lwaki?— Mu nsi Yesu n’abagoberezi be gye baabeeranga, abantu baayambalanga engatto ezitabikka bigere. N’olwekyo, bwe baayitanga mu nguudo omuli enfuufu, ebigere byabwe byajjulanga enfuufu. Kyalinga kikolwa kya kisa okunaaza ebigere by’omuntu eyabanga azze okukyala.

Naye ku mulundi guno, tewali n’omu ku bayigirizwa ba Yesu yali mwetegefu kunaaza bigere by’abalala. Eyo ye nsonga lwaki Yesu kennyini yabanaaza ebigere. Mu kukola kino, Yesu yayigiriza abagoberezi be ekintu ekikulu. Baali beetaaga okukiyiga. Era naffe tulina okukiyiga.

Omanyi kye yabayigiriza?— Yesu bwe yamala okuzzaako ekyambalo kye eky’okungulu era n’addayo mu kifo kye, yabagamba nti: “Mutegedde kye mbakoze? Mumpita ‘Muyigiriza,’ era ‘Mukama waffe,’ era muli batuufu okumpita bwe mutyo kubanga ekyo kye ndi. Kale, oba nga nze Mukama wammwe era Omuyigiriza, mbanaazizza ebigere, nammwe mugwanidde buli omu okunaazanga ebigere bya munne.”—Yokaana 13:2-14.

Omwana aleeta entamu eri abakazi babiri abawaata

Kiki ky’osobola okukola okuyamba abalala?

Awo Omuyigiriza Omukulu yakiraga nti yali ayagala abagoberezi be okuweerezagana. Yali tayagala beerowoozeeko bokka. Yali tayagala balowooze nti bo ba waggulu nnyo era nti abalala be basaanidde okubaweereza. Yali ayagala babeere beetegefu okuweereza abalala.

Ekyo si kya kuyiga kirungi?— Onoobeera ng’Omuyigiriza Omukulu n’oweereza abalala?— Ffenna tusobola okukolera abalala ebirungi. Kino kijja kubasanyusa. N’ekisinga byonna, kijja kusanyusa Yesu ne Kitaawe.

Abaana bayamba maama waabwe okusiimuula ennyumba

Si kizibu okuweereza abantu abalala. Bwe weetegereza, oyinza okulaba ebintu bingi by’osobola okukolera abalala. Lowooza ku kino: Waliwo ekintu kyonna ky’osobola okukola okuyamba maama wo? Okimanyi nti alina ebintu bingi by’akukolera ggwe n’abalala ab’awaka. Osobola okumuyamba?— Lwaki tomubuuza ky’oyinza okukola okumuyamba?

Oboolyawo osobola okutegeka emmeeza nga mugenda okulya. Oba oyinza okuggyawo ebintu ku mmeeza nga mumaze okulya. Abaana abamu basuulayo kasasiro buli lunaku. Kyonna ky’onoosobola okukola, ojja kuba oweereza abalala, nga Yesu bwe yakola.

Omulenzi omukulu ayamba munne omuto okwala obuliri

Olina baganda bo ne bannyoko abato b’osobola okubaako ky’obakolera? Jjukira nti Yesu, Omuyigiriza Omukulu, n’abagoberezi be yabaweerezanga. Bw’onoobaako by’okolera baganda bo ne bannyoko abato, ojja kuba okoppa Yesu. Kiki ky’oyinza okubakolera?— Oboolyawo oyinza okubayamba okuzzaayo ebyo bye babadde bazannyisa. Oba oyinza okubambaza engoye. Oba oyinza okubayamba okwala obuliri bwabwe. Oyinza okulowoozaayo ekintu ekirala ky’oyinza okubakolera?— Bajja kukwagala nnyo ng’obakoledde ebintu ebyo, ng’abagoberezi ba Yesu bwe baamwagala.

Ne ku ssomero osobola okubaako by’okolera abantu abalala. Osobola okuyamba bayizi banno oba omusomesa wo. Ebitabo by’omuntu bwe bigwa wansi, kiba kikolwa kya kisa okumuyamba okubiggyawo. Oyinza okusiimuula olubaawo oba okubaako ekintu ekirala ky’okolera omusomesa. Era kiba kikolwa kya kisa okwazika omuntu ppeeni oba ekkalaamu.

Oluusi abantu bayinza obutatwebaza nga tulina kye tubakoledde. Olowooza kino kyanditulemesezza okukolera abalala ebirungi?— Nedda! Abantu bangi tebeebaza Yesu olw’ebintu ebirungi bye yabakolera. Naye ekyo tekyamulemesa kukolera balala birungi.

Omulenzi asangulira omusomesa olubaawo; omuwala aleetea omukazi omulema ebintu

N’olwekyo tetukoowa kukolera balala birungi. Ka tujjukirenga Omuyigiriza Omukulu era tufube okukoppa ekyokulabirako kye.

Bw’oba oyagala okumanya ebyawandiikibwa ebirala ebikwata ku kuyamba abantu abalala, soma Engero 3:27, 28; Abaruumi 15:1, 2; ne Abaggalatiya 6:2.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share