ESSUULA 48
Osobola Okubeera mu Nsi ya Katonda Empya ey’Emirembe
KATONDA yateeka Adamu ne Kaawa mu lusuku Adeni. Newakubadde baamujeemera era ne bafa, Katonda yakola enteekateeka kisobozese abaana baabwe nga naffe mw’otutwalidde, okubeera mu Lusuku lwe emirembe gyonna. Bayibuli esuubiza nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:29.
Bayibuli eyogera ku “ggulu eriggya n’ensi empya.” (Isaaya 65:17; 2 Peetero 3:13) “Eggulu” ery’omu kiseera kino ze gavumenti z’abantu eziriwo leero, naye Yesu Kristo n’abo abanaafugira awamu naye mu ggulu be bajja okukola “eggulu eriggya.” Nga kijja kuba kya ssanyu nnyo ng’eggulu eryo eriggya, kwe kugamba, gavumenti ya Katonda ey’obutuukirivu era ey’emirembe, ng’efuga ensi yonna!
Kati olwo, “ensi empya” kye ki?— Ensi empya bajja kuba abantu abalungi abaagala Yakuwa. Bayibuli bw’eyogera ku “nsi,” emirundi egimu eba etegeeza abantu ababeera ku nsi, so si ensi kwe bali. (Olubereberye 11:1; Zabbuli 66:4; 96:1) N’olwekyo, abantu abanaakola ensi empya bajja kubeera wano ku nsi.
Ensi eriwo leero ey’abantu ababi eriba tekyaliwo. Jjukira nti Amataba g’omu kiseera kya Nuuwa gaasaanyawo ensi embi ey’abantu abaali batatya Katonda. Era nga bwe twayiga, ensi eno embi egenda kuzikirizibwa ku Kalumagedoni. Kati ka tulabe embeera eribaawo mu nsi ya Katonda empya oluvannyuma lwa Kalumagedoni.
Oyagala okubeerawo emirembe gyonna mu nsi ya Katonda empya ey’emirembe?— Tewali musawo yenna ayinza kutusobozesa kubeerawo emirembe gyonna. Era tewali ddagala lisobola kuziyiza kufa. Okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda kye kyokka ekisobola okutuyamba okubeerawo emirembe gyonna. Era Omuyigiriza Omukulu atubuulira engeri gye tuyinza okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda.
Ka tubikkule mu Yokaana essuula 17, olunyiriri 3. Mu kyawandiikibwa kino, Omuyigiriza Omukulu yagamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.”
Kiki Yesu kye yagamba kye twetaaga okukola okusobola okufuna obulamu obutaggwawo?— Okusooka, tulina okumanya kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa, n’Omwana we eyatufiirira. Kino kiraga nti tulina okuyiga Bayibuli. Ekitabo kino, Yigira ku Muyigiriza Omukulu, kituyamba okukola ekyo.
Naye okuyiga ebikwata ku Yakuwa kinaatuyamba kitya okubeerawo emirembe gyonna?— Nga bwe twetaaga okulya emmere buli lunaku, era twetaaga okuyiga ebikwata ku Yakuwa buli lunaku. Bayibuli egamba nti: “Omuntu taba mulamu na mmere yokka, naye na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.”—Matayo 4:4.
Era twetaaga okumanya Yesu Kristo kubanga Katonda yamutuma okuggyawo ebibi byaffe. Bayibuli egamba nti: “Tewali bulokozi mu muntu mulala yenna.” Era egamba nti: “Oyo akkiririza mu Mwana alina obulamu obutaggwaawo.” (Ebikolwa 4:12; Yokaana 3:36) Ddala tukkiririza mu Yesu era tukkiriza nti y’ajja okutusobozesa okufuna obulamu obutaggwawo?— Bwe kiba bwe kityo, tujja kweyongera okuyigira ku Muyigiriza Omukulu buli lunaku, era tujja kukola ebyo by’atugamba.
Ekimu ku ebyo ebinaatuyamba okuyigira ku Muyigiriza Omukulu kwe kusoma ekitabo kino enfunda n’enfunda ne tukebera ebifaananyi ebikirimu era ne tubifumiitirizaako. Weetegereze olabe obanga osobola okuddamu ebibuuzo ebiri ku bifaananyi ebyo. Era, ekitabo kino kisome ne maama wo oba ne taata wo. Bazadde bo bwe baba tebaliiwo, kisome n’abantu abalala abakulu era n’abaana abalala. Tekiba kirungi nnyo okuyamba abalala okuyigira ku Muyigiriza Omukulu kye beetaaga okukola okusobola okubeerawo emirembe gyonna mu nsi ya Katonda empya?—
Bayibuli etugamba nti: “Ensi eggwaawo.” Naye era ennyonnyola engeri gye tuyinza okubeerawo emirembe gyonna mu nsi ya Katonda empya. Egamba nti: “Oyo akola Katonda by’ayagala abeerawo emirembe gyonna.” (1 Yokaana 2:17) Kati olwo, kiki ekinaatuyamba okubeerawo emirembe gyonna mu nsi ya Katonda empya?— Ekinaatuyamba kwe kumanya Yakuwa n’Omwana we gw’ayagala ennyo, Yesu. Naye era tulina okukolera ku ebyo bye tuyiga. Okusoma ekitabo kino kijja kukuyamba okukola ebintu ebyo.