LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • bh lup. 222-lup. 223
  • Twandikuzizza Ennaku Enkulu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Twandikuzizza Ennaku Enkulu?
  • Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Similar Material
  • Emikolo Gyonna Gisanyusa Katonda?
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • Emikolo Gyonna Gisanyusa Katonda?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Bayibuli Eyogera Ki ku Ppaasika?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Ddala Abakristaayo Basaanidde Okukuza Ppaasika?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
See More
Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
bh lup. 222-lup. 223

Twandikuzizza Ennaku Enkulu?

BAIBULI si ye nsibuko y’ennaku z’eddiini n’endala ezikuzibwa mu bitundu bingi mu nsi leero. Kati olwo ennaku ng’ezo zaasibuka wa? Singa onoonyereza mu tterekero ly’ebitabo, ojja kumanya ekyo ebitabo kye byogera ku nnaku enkulu ezikuzibwa mu kitundu gy’obeera. Weetegereze ebyokulabirako bino.

Ppaasika. Ekitabo The Encyclopædia Britannica kigamba nti: “Mu Ndagaano Empya temuliimu kiraga nti Ppaasika yakuzibwanga.” Kati olwo, Ppaasika yatandika etya okukuzibwa? Yasibuka mu kusinza okw’ekikaafiiri. Wadde nga kigambibwa nti ku lunaku olwo baba bajjukira kuzuukira kwa Yesu, obulombolombo obukwataganyizibwa ne Ppaasika si bwa Kikristaayo.

Okukuza Omwaka Omuggya. Olunaku n’obulombolombo obukwataganyizibwa n’okukuza Omwaka Omuggya byawukana mu buli nsi. Ekitabo The World Book Encyclopedia kyogera bwe kiti ku nsibuko y’olunaku luno: “Omufuzi Omuruumi Julius Caesar yalonda Jjanwali 1 okuba olunaku olw’okukulizaako Omwaka Omuggya mu 46 B.C. Abaruumi baawaayo olunaku luno okusinzizaako Janus, katonda w’enzigi n’entandikwa. Omwezi gwa Jjanwali gwafuna erinnya eryo okuva ku Janus, eyalina obwenyi obw’emirundi ebiri​—nga obumu butunudde mu maaso ate obulala mabega.” N’olwekyo, okukuza Omwaka Omuggya kalombolombo ka kikaafiiri.

Halloween. Ekitabo The Encyclopedia Americana kyogera bwe kiti ku lunaku luno: “Obulombolombo obukwata ku lunaku luno bwasibuka mu mukolo gwa bakabona ab’edda mu Buyindi ne Bulaaya ng’Obukristaayo tebunnabaawo. Abantu b’omu bitundu ebyo baabanga n’embaga eza bakatonda abakulu babiri​—katonda w’enjuba ne katonda w’abafu . . . ng’embaga eno yakwatibwanga nga Noovemba 1, olunaku olwalamba entandikwa y’Omwaka Omuggya mu kitundu ekyo. Mpolampola Abakristaayo baatandika okukuza embaga eyo.”

Ennaku Endala Ezikuzibwa. Tekisoboka kwogera ku nnaku zonna ezikuzibwa mu nsi. Kyokka, ennaku ezigulumiza abantu oba ebibiina by’abantu, Yakuwa tazikkiriza. (Yeremiya 17:5-7; Ebikolwa 10:25, 26) Ate era kijjukire nti ensibuko y’ennaku z’eddiini ezikuzibwa etuyamba okutegeera oba nga zisiimibwa Katonda oba nedda. (Isaaya 52:11; Okubikkulirwa 18:4) Emisingi gya Baibuli egyogerwako mu Ssuula 16 ey’akatabo kano gijja kukuyamba okumanya engeri Katonda gy’atwalamu ennaku ezo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share