EBYONGEREZEDDWAKO
Okukubira Bbendera Saluti, Okulonda Abakulembeze, n’Okukola Emirimu Egitali gya Kijaasi
Okukubira bbendera saluti. Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti okuvunnamira bbendera oba okugikubira saluti, ekitera okukolebwa ng’abantu bayimba oluyimba lw’eggwanga, kiba kikolwa kya kusinza ekiraga nti obulokozi tebuva eri Katonda, wabula buva eri Eggwanga oba abakulembeze baalyo. (Isaaya 43:11; 1 Abakkolinso 10:14; 1 Yokaana 5:21) Omu ku bakulembeze abaayagala okuweebwa ekitiibwa eky’engeri eyo yali Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni eky’edda. Olw’okwagala okulaga abantu nti wa kitiibwa nnyo era nti munyiikivu nnyo mu kusinza bakatonda be, omufuzi ono ow’amaanyi yassaawo ekifaananyi ekinene ennyo era n’alagira abantu be okukivunnamira ng’oluyimba, olufaananako oluyimba lw’eggwanga, luyimbibwa. Kyokka, Abebbulaniya basatu—Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego—baagaana okuvunnamira ekifaananyi ekyo wadde nga kino kyali kisobola okubaviirako okuttibwa.—Danyeri, essuula 3.
Munnabyafaayo ayitibwa Carlton Hayes yagamba nti mu kiseera kyaffe “bbendera ke kabonero akasinga obukulu akooleka mwoyo gwagwanga. Abantu baggya enkoofiira zaabwe ku mitwe nga bbendera eyisibwawo, abatontomi bawandiika ebitontome ebigitendereza, era n’abaana bayimba ennyimba ezigiwaana.” Era yeeyongera n’agamba nti mwoyo gwagwanga nagwo gulina ‘ennaku zaagwo enkulu,’ era gulina “abatukuvu n’abazira” nga kw’otadde ne “yeekaalu.” Ng’ali ku mukolo ogumu mu Brazil, omukungu w’amagye omu yagamba nti: “Bbendera esinzibwa . . . ng’ensi ya boobwe bw’esinzibwa.” Ate era n’ekitabo ekiyitibwa The Encyclopedia Americana kyagamba nti, “ng’omusaalaba bwe guli omutukuvu, ne bbendera ntukuvu.”
Gye buvuddeko awo, ekitabo ekyo kyagamba nti ennyimba z’eggwanga “zooleka mwoyo gwagwanga era zitera okubaamu ebigambo ebisaba Katonda akuume era aluŋŋamye abantu awamu n’abafuzi baabwe.” N’olwekyo, abaweereza ba Yakuwa baba batuufu bwe batwala emikolo egizingiramu okukubira bbendera saluti era n’okuyimba ennyimba z’eggwanga ng’emikolo egy’eddiini. Ekitabo ekiyitibwa The American Character, bwe kyali kyogera ku baana b’Abajulirwa ba Yakuwa mu masomero g’omu Amerika okugaana okusinza bbendera oba okulayira okuba abeesigwa eri eggwanga lyabwe, kyagamba nti: “Mu misango egiwerako egisaliddwa, Kkooti Enkulu ekikkirizza nti emikolo gino egikolebwa buli lunaku gyekuusa ku kusinza.”
Wadde ng’abantu ba Yakuwa tebeenyigira mu mikolo gye batwala okuba nga gimenya emisingi gy’Ebyawandiikibwa, bassa ekitiibwa mu ddembe ly’abo abaagala okugyenyigiramu. Ate era bassa ekitiibwa mu bbendera z’amawanga era bakkiriza nti abakulembeze b’ensi be ‘b’obuyinza’ abakola ‘ng’omuweereza wa Katonda.’ (Abaruumi 13:1-4) N’olwekyo, Abajulirwa ba Yakuwa basabira “bakabaka n’abo bonna abali mu bifo ebya waggulu,” ng’Ebyawandiikibwa bwe bibakubiriza. Kyokka, ekyo tukikola “tusobole okubeera mu bulamu obuteefu era obw’emirembe nga twemalira ku Katonda era nga tuba beegendereza mu buli kintu.”—1 Timoseewo 2:2.
Okulonda Abakulembeze. Abakristaayo ab’amazima bassa ekitiibwa mu ddembe ly’abalala ery’okulonda abo be baagala. Tebagezaako kulemesa balala kulonda, era bakolagana bulungi n’ab’obuyinza ababa balondeddwa. Wadde kiri kityo, basigala nga tebaliiko ludda lwe bawagira mu by’obufuzi. (Matayo 22:21; 1 Peetero 3:16) Omukristaayo yandikoze ki ng’ali mu kitundu amateeka gye geetaaza buli omu okulonda oba ng’ali mu kitundu bantu gye bawulira obubi ennyo ng’omuntu tagenze mu kifo gye bakubira akalulu? Olw’okuba Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego bakkiriza okugenda mu lusenyi lwa Dduula, Omukristaayo ali mu mbeera efaananako bw’etyo ayinza okusalawo okugenda mu kifo gye balondera singa omuntu we ow’omunda aba tamugaana. Kyokka, asaanidde okwegendereza ennyo aleme okubaako oludda lw’awagira mu by’obufuzi. Asaanidde okulowooza ennyo ku misingi gino omukaaga:
Abagoberezi ba Yesu ‘si ba nsi.’—Yokaana 15:19.
Abakristaayo bakiikirira Kristo n’Obwakabaka bwe.—Yokaana 18:36; 2 Abakkolinso 5:20.
Ekibiina Ekikristaayo kiri bumu, era baagalana nnyo.—1 Abakkolinso 1:10; Abakkolosaayi 3:14.
Abo abalonda omukulembeze bavunaanyizibwa olw’ebyo by’akola.—Weetegereze emisingi egiri mu bigambo ebisangibwa mu 1 Samwiri 8:5, 10-18 ne 1 Timoseewo 5:22.
Abayisirayiri bwe baayagala okufugibwa kabaka gwe balabako, Yakuwa yakitwala nti baali bagaanyi Ye kennyini okuba kabaka waabwe.—1 Samwiri 8:7.
Abakristaayo balina okubuulira abantu ab’endowooza ez’enjawulo mu by’obufuzi ku Bwakabaka bwa Katonda awatali kutya kwonna.—Matayo 24:14; 28:19, 20; Abebbulaniya 10:35.
Emirimu Egitali gya Kijaasi. Mu nsi ezimu, gavumenti eragira abo ababa bagaanye okuyingira amagye okukola emirimu emirala egitali gya kijaasi okumala ekiseera. Nga tetunnasalawo ku nsonga eno, tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe okusalawo obulungi. Ate era, tuyinza n’okwebuuza ku Mukristaayo munnaffe omukulu mu by’omwoyo, oluvannyuma ne twesalirawo nga tusinziira ku muntu waffe ow’omunda.—Engero 2:1-5; Abafiripi 4:5.
Ekigambo kya Katonda kitukubiriza ‘okuwulira abafuzi n’ab’obuyinza, okuba abeetegefu okukola buli mulimu omulungi, n’obutaba bakakanyavu.’ (Tito 3:1, 2) Nga tumaze okutegeera kino, tuyinza okwebuuza ebibuuzo bino wammanga: ‘Bwe nzikiriza okukola omulimu gwe baŋŋambye kinandeetera okubaako oludda lwe mpagira mu by’obufuzi oba okwenyigira mu kusinza okw’obulimba?’ (Mikka 4:3, 5; 2 Abakkolinso 6:16, 17) ‘Bwe nkola omulimu guno nnaasobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwange obw’Ekikristaayo, oba gunannemesa okubutuukiriza?’ (Matayo 28:19, 20; Abeefeso 6:4; Abebbulaniya 10:24, 25) ‘Ku luuyi olulala, omulimu guno guyinza okunsobozesa okugaziya ku buweereza bwange obw’Ekikristaayo, oboolyawo n’okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna?’—Abebbulaniya 6:11, 12.
Singa mu kifo ky’okusibibwa mu kkomera, Omukristaayo asalawo okukola omulimu ogutali gwa kijaasi, Bakristaayo banne tebasaanidde kumuvumirira olw’ekyo ky’aba asazeewo. (Abaruumi 4:10) Kyokka, singa agaana okukola omulimu ogwo, era basaanidde okussa ekitiibwa mu ekyo ky’aba asazeewo.—1 Abakkolinso 10:29; 2 Abakkolinso 1:24.