LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • bt sul. 22 lup. 197-204
  • “Yakuwa ky’Ayagala Kye Kiba Kikolebwa”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Yakuwa ky’Ayagala Kye Kiba Kikolebwa”
  • ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Twayita ku “Kizinga ky’e Kupulo” (Bik. 21:1-3)
  • ‘Twanoonya Abayigirizwa ne Tubazuula’ (Bik. 21:4-9)
  • ‘Ndi Mwetegefu Okufa’ (Bik. 21:10-14)
  • ‘Ab’Oluganda Baatwaniriza n’Essanyu’ (Bik. 21:15-17)
  • Ba Mugumu—Yakuwa Ye Muyambi Wo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • “Sivunaanibwa Musaayi gwa Muntu Yenna”
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • ‘Okuwa Obujulirwa mu Bujjuvu’
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • “Muwulirize nga Mbannyonnyola”
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
See More
‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
bt sul. 22 lup. 197-204

ESSUULA 22

“Yakuwa ky’Ayagala Kye Kiba Kikolebwa”

Olw’okuba Pawulo mumalirivu okukola Katonda ky’ayagala, agenda e Yerusaalemi

Byesigamiziddwa ku Ebikolwa 21:1-17

1-4. Lwaki Pawulo agenda e Yerusaalemi, era kiki ekigenda okumutuukako ng’ali eyo?

AB’OLUGANDA bawulira ennaku nnyingi nga balaba Pawulo ne Lukka nga basimbula okuva e Mireeto. Pawulo ne Lukka nabo bawulira ennaku nnyingi nga basiibula abakadde abo be baagala ennyo abaavudde mu Efeso! Abaminsani abo ababiri balinnye eryato era balina emigugu egirimu ebintu bye bagenda okukozesa ku lugendo lwabwe. Balina ne ssente ab’oluganda ze baweerezza Abakristaayo mu Buyudaaya abali mu bwetaavu, era baagala okukakasa nti ssente ezo bazituusa gye ziweerezeddwa.

2 Empewo efuuwa amatanga era eryato litandika okuseeyeeya. Pawulo ne Lukka awamu ne bannaabwe omusanvu be batambudde nabo, batunuulira ab’oluganda abanakuwavu abasigadde ku lubalama. (Bik. 20:4, 14, 15) Basigala babawuubira okutuusa lwe baba nga tebakyasobola kubalengera.

3 Pawulo abadde amaze emyaka ng’esatu ng’akolera wamu n’abakadde b’omu Efeso. Naye kati ng’akolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, agenda Yerusaalemi. Alina ky’amanyi ku ebyo ebimulindiridde. Essaawa ntono emabega yagambye abakadde b’omu Efeso nti: “Omwoyo gumpaliriza okugenda e Yerusaalemi, wadde nga simanyi kigenda kuntuukako eyo. Naye omwoyo omutukuvu guŋŋamba enfunda n’enfunda mu buli kibuga nti okusibibwa n’okubonaabona binnindiridde.” (Bik. 20:22, 23) Wadde nga Pawulo akimanyi nti agenda kwolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, awulira ‘ng’omwoyo gumuwaliriza’ okugenda, era mwetegefu okukolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu okugenda e Yerusaalemi. Obulamu bwe abutwala nga bwa muwendo, kyokka okukola Katonda by’ayagala kye kisinga obukulu gy’ali.

4 Naawe bw’otyo bw’owulira? Bwe twewaayo eri Yakuwa, tumusuubiza nti tujja kukulembezanga ebyo by’ayagala. Tulina bingi bye tusobola okuyigira ku kyokulabirako ekirungi omutume Pawulo kye yassaawo.

Twayita ku “Kizinga ky’e Kupulo” (Bik. 21:1-3)

5. Pawulo ne banne baayita wa nga bagenda e Ttuulo?

5 Olw’okuba embeera y’obudde yali nnungi ku nnyanja, eryato Pawulo ne banne mwe baali ‘lyasaabala butereevu,’ era ku lunaku olwo lwennyini baatuuka e Koosi. (Bik. 21:1) Kirabika eryato lyasula eyo, enkeera ne liryoka lyeyongerayo e Rodo, oluvannyuma ne lituuka e Patala. Nga bali e Patala, ku lubalama lwa Asiya Omutono olw’ebukiikaddyo, ab’oluganda abo baalinnya ekyombo ekyali ekyetissi ky’emigugu ne kibatwala butereevu e Ttuulo mu Foyiniikiya. Bwe baali bagenda, baayita okumpi ‘n’ekizinga ky’e Kupulo, ne bakireka ku mukono ogwa kkono.’ (Bik. 21:3) Lwaki Lukka, omuwandiisi w’ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume yayogera ku kizinga ekyo?

6. (a) Lwaki okulaba ekizinga Kupulo kiyinza okuba nga kyazzaamu Pawulo amaanyi? (b) Bw’ofumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’akuwaddemu emikisa n’engeri gy’akuyambyemu, kiki ekikujjira mu birowoozo?

6 Pawulo ayinza okuba nga yanyumiza banne ebyaliwo mu buweereza bwe ng’ali ku kizinga ekyo. Ku lugendo lwe olw’obuminsani olwasooka, emyaka nga mwenda emabega, Pawulo ne Balunabba awamu ne Yokaana Makko, baasisinkana omusamize eyali ayitibwa Eruma eyali agezaako okuziyiza omulimu gw’okubuulira. (Bik. 13:4-12) Okulaba ekizinga ekyo n’okufumiitiriza ku ebyo ebyaliwo, kiyinza okuba nga kyazzaamu Pawulo amaanyi n’aba nga mwetegefu okwaŋŋanga ebyo ebyali bimulindiridde. Naffe tuganyulwa nnyo bwe tufumiitiriza ku ngeri Katonda gy’atuwaddemu emikisa n’engeri gy’atuyambye okugumira ebizibu. Ekyo kituleetera okuwulira nga Dawudi eyagamba nti: “Omutuukirivu aba n’ebizibu bingi, naye byonna Yakuwa abimuyisaamu.”​—Zab. 34:19.

‘Twanoonya Abayigirizwa ne Tubazuula’ (Bik. 21:4-9)

7. Kiki Pawulo ne banne kye baakola nga batuuse e Ttuulo?

7 Pawulo yali akimanyi nti kikulu nnyo Abakristaayo okubeerako awamu, era yali ayagala nnyo okubeerako awamu ne bakkiriza banne. Lukka agamba nti bwe baatuuka e Ttuulo, ‘baanoonya abayigirizwa era ne babazuula.’ (Bik. 21:4) Olw’okuba Pawulo ne banne baali bakimanyi nti e Ttuulo waaliyo bakkiriza bannaabwe, baabanoonya ne babazuula era oboolyawo ne babeerako nabo okumala ekiseera. Ogumu ku miganyulo egiri mu kuweereza Yakuwa guli nti, yonna gye tugenda tusangayo bakkiriza bannaffe abatusembeza. Abo abaagala Katonda era abamusinza mu ngeri entuufu, balina emikwano okwetooloola ensi.

8. Ebyo ebiri mu Ebikolwa 21:4 tusaanidde kubitwala tutya?

8 Lukka bw’aba ayogera ku kiseera eky’ennaku omusanvu kye baamala mu Ttuulo, alina ekintu ky’ayogerako mu kusooka ekirabika ng’ekyewuunyisa. Agamba nti: “Olw’ebyo omwoyo bye gwababikkulira [ab’oluganda mu Ttuulo, baagamba] Pawulo enfunda n’enfunda obutagenda Yerusaalemi.” (Bik. 21:4) Yakuwa yali akyusizzaamu ng’ayagala Pawulo agende mu kitundu kirala? Yali amugamba aleme kugenda Yerusaalemi? Nedda. Omwoyo gwali gukiraze nti Pawulo yandibadde abonyaabonyezebwa e Yerusaalemi so si nti yalina okwewala okugenda mu kibuga ekyo. Kirabika omwoyo omutukuvu gwali guyambye ab’oluganda mu Ttuulo okukitegeera nti Pawulo yandifunye obuzibu obw’amaanyi ng’agenze e Yerusaalemi. N’olwekyo, olw’okuba baali bamulumirirwa, baamukubiriza obutagenda mu kibuga ekyo. Ab’oluganda abo baali tebaagala Pawulo atuusibweko kabi, era ekyo kyali kitegeerekeka. Wadde kyali kityo, olw’okuba Pawulo yali mumalirivu okukola Yakuwa ky’ayagala, yasalawo okugenda e Yerusaalemi.​—Bik. 21:12.

9, 10. (a) Pawulo bwe yawulira ebyo ab’oluganda mu Ttuulo bye baali bamugamba, ayinza okuba nga yajjukira mbeera ki eyali efaananako n’eyiye? (b) Kiki abantu abasinga obungi mu nsi leero kye baagala, era kyawukana kitya n’ebigambo bya Yesu?

9 Pawulo bwe yawulira ekyo ab’oluganda kye baali bamugamba, ayinza okuba nga yajjukira nti ne Yesu bwe yagamba abayigirizwa be nti yali ajja kugenda e Yerusaalemi era nti ng’ali eyo yandibadde abonyaabonyezebwa nnyo era oluvannyuma n’attibwa, baagezaako okumutangira okutuukibwako ebintu ebyo. Peetero yagamba Yesu nti: “Weesaasire Mukama wange; kino tekirikutuukako n’akatono.” Yesu yamuddamu nti: “Dda ennyuma wange Sitaani! Oli nkonge gye ndi, kubanga endowooza yo si ya Katonda wabula ya bantu.” (Mat. 16:21-23) Yesu yali mumalirivu okutuukiriza omulimu Katonda gwe yali yamutuma okukola ogwali guzingiramu okubonaabona. Pawulo naye bw’atyo bwe yali awulira. Kya lwatu nti okufaananako omutume Peetero, ab’oluganda mu Ttuulo tebaalina bigendererwa bibi, naye baali tebategedde Katonda kye yali ayagala.

Ow’oluganda ng’ali mu mulimu gw’okubuulira era atunula ku ssaawa ye nga munyiivu. Ow’oluganda omulala gw’ali naye amutunuulidde.

Okubeera omugoberezi wa Yesu kyetaagisa okwefiiriza

10 Leero abantu bangi baagala okukola ekyo ekibanguyira ne bwe kiba nga si kituufu. Okutwalira awamu, abantu baagala okuba mu ddiini ebaleka okukola kyonna kye baagala era eteetaagisa bagoberezi baayo kubaako kinene kye beefiiriza. Kyokka ekyo Yesu kye yagamba abagoberezi be okukola kya njawulo nnyo. Yabagamba nti: “Omuntu yenna bw’aba ayagala okungoberera, alekere awo okwetwala yekka, asitule omuti gwe ogw’okubonaabona angobererenga.” (Mat. 16:24) Kya magezi okugoberera Yesu, naye si kyangu.

11. Abayigirizwa mu Ttuulo baakiraga batya nti baali baagala nnyo Pawulo era nti baali bamuwagira mu buweereza bwe?

11 Ekiseera kyali kituuse Pawulo, Lukka, n’abalala okweyongerayo ku lugendo lwabwe. Tukwatibwako nnyo bwe tusoma ku ebyo ebyaliwo nga bava e Ttuulo. Tukiraba nti ab’oluganda mu Ttuulo baali baagala nnyo Pawulo era baamuwagira nnyo mu buweereza bwe. Ab’oluganda, bannyinaffe, awamu n’abaana, baawerekerako Pawulo awamu n’abo be yali nabo okutuuka ku lubalama lw’ennyanja. Nga bali ku lubalama, bonna baafukamira ne basabira wamu era ne basiibulagana. Oluvannyuma Pawulo, Lukka, n’abo be baali batambudde nabo baalinnya eryato eddala ne bagenda e Potolemaayi, gye baasanga ab’oluganda abalala ne babeerako nabo okumala olunaku lumu.​—Bik. 21:5-7.

12, 13. (a) Kiki ekiraga nti Firipo yaweereza n’obwesigwa? (b) Firipo yateerawo atya bataata Abakristaayo ekyokulabirako ekirungi?

12 Oluvannyuma Pawulo ne banne baagenda e Kayisaliya.a Nga bali eyo, baagenda “mu nnyumba ya Firipo omubuulizi w’enjiri.” (Bik. 21:8) Bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo okulaba Firipo. Emyaka nga 20 emabega mu Yerusaalemi, abatume baali bamulonze okuyambako mu mulimu gw’okugabira bannamwandu emmere, ekibiina Ekikristaayo bwe kyali kyakatandikawo. Firipo yali abuulidde n’obunyiikivu okumala ekiseera kiwanvu. Kijjukire nti abayigirizwa bwe baasaasaana olw’okuyigganyizibwa, Firipo yagenda e Samaliya n’abuulira abaayo. Oluvannyuma yabuulira Omwesiyopiya omulaawe era n’amubatiza. (Bik. 6:2-6; 8:4-13, 26-38) Mazima ddala Firipo yaweereza n’obwesigwa!

13 Firipo yasigala munyiikivu mu buweereza bwe. Kati ng’ali mu Kayisaliya, yali akyakola omulimu gw’okubuulira kubanga Lukka amuyita “omubuulizi w’enjiri.” Ate era Bayibuli eraga nti mu kiseera kino yalina abawala bana abaali boogera obunnabbi, ekiraga nti baakoppa ekyokulabirako kya kitaabwe.b (Bik. 21:9) Firipo ateekwa okuba nga yayamba nnyo ab’omu maka ge okufuna enkolagana ne Yakuwa. Bataata Abakristaayo basaanidde okukoppa ekyokulabirako kye. Basaanidde okuwoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira, era basaanidde okuyamba abaana baabwe okwagala omulimu ogwo.

14. Kiki ekyaliwo nga Pawulo akyaliddeko bakkiriza banne, era kiki leero kye tuyinza okukola ekifaananako n’ekyo?

14 Mu buli kitundu Pawulo kye yatuukangamu, yanoonyanga bakkiriza banne era n’abeerako nabo. Ab’oluganda mu bitundu ebyo bateekwa okuba nga baali baagala nnyo okusembeza Pawulo ne banne. Okubeerako awamu kyabayamba okuzziŋŋanamu amaanyi. (Bar. 1:11, 12) Ne leero bwe kityo bwe kiri. Bw’osembeza omulabirizi akyalira ebibiina awamu ne mukyala we mu maka go, k’obe ng’oli mwavu, ofuna emiganyulo mingi.​—Bar. 12:13.

KAYISALIYA​—EKIBUGA EKIKULU EKY’ETTWALE LYA ROOMA ERY’E BUYUDAAYA

Mu kiseera ebintu ebyogerwako mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume we byabeererawo, Kayisaliya kye kyali ekibuga ekikulu eky’essaza lya Rooma ery’e Buyudaaya. Mu kibuga ekyo gavana mwe yali abeera era mwe mwali n’ekitebe ekikulu eky’amagye agaali gaweereza mu kitundu ekyo. Kerode Omukulu ye yazimba ekibuga ekyo n’akituuma Kayisaliya, ng’akibbula mu Kayisaali Agusito. Kayisaliya kyalimu ebintu byonna ebyabanga mu bibuga by’Abayonaani mu kiseera ekyo, gamba nga, yeekaalu eyaweebwayo eri Kayisaali n’ebifo omwalabirwanga emizannyo. Abantu abasinga obungi mu kibuga ekyo baali b’Amawanga.

Ekibuga Kayisaliya kyaliko ekigo era kyalina n’omwalo. Kerode yalina ekigendererwa eky’okufuula omwalo gw’ekibuga ekyo ogwali guyitibwa Sebastos (mu Luyonaani Agusito), okuba nga gwa maanyi nnyo mu by’obusuubuzi okusinga ekibuga Alekizandiriya ekyali ebuvanjuba w’Ennyanja Meditereniyani. Okusobola okukugira amayengo okwonoona omwalo ogwo, ne guba nga tegusobola kugobako byombo, yaguzimbako ebintu ebikugira amayengo ago. Wadde nga Kayisaliya tekyasinga Alekizandiriya, kyafuuka kibuga kya maanyi nnyo mu by’obusuubuzi olw’ekitundu mwe kyali.

Firipo omubuulizi w’enjiri yabuulira amawulire amalungi mu Kayisaliya, era kirabika mu kibuga kino mwe yakuliza abaana be. (Bik. 8:40; 21:8, 9) Ate era omusirikale Omuruumi eyali ayitibwa Koluneeriyo yali abeera mu kibuga kino, era eno gye yafuukira Omukristaayo.​—Bik. 10:1.

Omutume Pawulo yagenda mu Kayisaliya emirundi egiwerako. Nga waakayita ekiseera kitono ng’amaze okufuuka Omukristaayo, Abayudaaya bwe baali baagala okumutta, abayigirizwa baayanguwa mangu ne bamutwala e Kayisaliya ekyali mayiro 55 okuva e Yerusaalemi asobole okulinnyira eyo eryato agende e Taluso. Pawulo yayita ku mwalo gw’e Kayisaliya bwe yali ng’agenda e Yerusaalemi ku nkomerero y’olugendo lwe olw’obuminsani olw’okubiri n’olw’okusatu. (Bik. 9:28-30; 18:21, 22; 21:7, 8) Eyo mu Kayisaliya gye yasibibwa okumala emyaka ebiri mu lubiri lwa Kerode. Pawulo bwe yali eyo, yayogerako ne Ferikisi, ne Fesuto, era ne Agulipa. Era eyo gye yasinziira okugenda e Rooma.​—Bik. 23:33-35; 24:27–25:4; 27:1.

ABAKAZI BAALI BASOBOLA OKUBA ABAYIGIRIZA MU KIBIINA EKIKRISTAAYO?

Abakazi baalina kifo ki mu kibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka? Baali basobola okuba abayigiriza?

Yesu yalagira abagoberezi be okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20; Bik. 1:8) Ekiragiro kino kikwata ku Bakristaayo bonna ka babe basajja, bakazi, balenzi, oba bawala. Ekyo tukirabira ku bunnabbi obuli mu Yoweeri 2:28, 29, omutume Peetero bwe yalaga nti bwatuukirizibwa ku Pentekooti 33 E.E. Obunnabbi obwo bugamba nti: “‘Mu nnaku ez’enkomerero,’ Katonda bw’agamba, ‘Ndifuka omwoyo gwange ku bantu aba buli ngeri, era batabani bammwe ne bawala bammwe balyogera obunnabbi . . . era abaddu bange abasajja n’abakazi ndibafukako omwoyo gwange mu nnaku ezo, era balyogera obunnabbi.’” (Bik. 2:17, 18) Nga bwe tulabye, Firipo omubuulizi w’enjiri yalina abawala bana abaali boogera obunnabbi.​—Bik. 21:8, 9.

Kyokka bwe kituuka ku kuyigiriza mu kibiina, Ekigambo kya katonda kiraga nti obuvunaanyizibwa obw’okuweereza ng’abalabirizi oba abaweereza, bwa basajja. (1 Tim. 3:1-13; Tit. 1:5-9) Mu butuufu, Pawulo yagamba nti: “Sikkiriza mukazi kuyigiriza oba okufuga omusajja, wabula asirikenga.”​—1 Tim. 2:12.

‘Ndi Mwetegefu Okufa’ (Bik. 21:10-14)

15, 16. Bubaka ki Agabo bwe yaleeta, era bwakwata butya ku abo abaabuwulira?

15 Pawulo bwe yali ewa Firipo, waliwo omugenyi omulala eyali assibwamu ekitiibwa eyakyala, era ng’ono ye Agabo. Abo abaali bakuŋŋaanidde ewa Firipo baali bakimanyi nti Agabo yali nnabbi. Yali yalagula ku njala ey’amaanyi eyaliwo mu kiseera ky’obufuzi bwa Kulawudiyo. (Bik. 11:27, 28) Muli bayinza okuba nga beebuuza nti: ‘Lwaki Agabo azze? Bubaka ki bw’aleese?’ Nga bamutunuulidde, yakwata olukoba Pawulo lwe yeesibanga mu kiwato, kirabika olwali ng’omusipi omuwanvu era nga lusobola okuterekebwamu ssente n’ebintu ebirala, n’alukozesa okusiba ebigere bye n’emikono gye. Oluvannyuma yabaako ky’ayogera. Yagamba nti: “Omwoyo omutukuvu gugamba nti, ‘Nnannyini lukoba luno Abayudaaya bajja kumusiba bwe bati mu Yerusaalemi bamuweeyo mu mikono gy’ab’amawanga.’”​—Bik. 21:11.

16 Obunnabbi obwo bwakakasa nti Pawulo yali ajja kugenda e Yerusaalemi. Ate era bwalaga nti okubuulira Abayudaaya kyali kigenda kumuviirako okuweebwayo “mu mikono gy’ab’amawanga.” Obunnabbi obwo bwakwata nnyo ku abo abaaliwo. Lukka agamba nti: “Bwe twawulira ekyo, ffe n’abalala abaaliwo ne twegayirira Pawulo aleme kugenda Yerusaalemi. Pawulo n’agamba nti: ‘Lwaki mukaaba okunafuya omutima gwange? Nze ndi mwetegefu okusibibwa era n’okufiira mu Yerusaalemi olw’erinnya lya Mukama waffe Yesu.’”​—Bik. 21:12, 13.

17, 18. Pawulo yakiraga atya nti yali amaliridde okugenda e Yerusaalemi, era kiki ab’oluganda kye baakola?

17 Lowooza ku ekyo ekyaliwo. Ab’oluganda, nga mw’otwalidde ne Lukka, beegayirira Pawulo obutagenda Yerusaalemi. Abamu baali bakaaba n’okukaaba. Ng’akwatiddwako nnyo olw’okufaayo ab’oluganda abo kwe baamulaga, Pawulo yabagamba mu bukkakkamu nti baali ‘banafuya omutima gwe,’ oba ng’enzivuunula za Bayibuli ezimu bwe zigamba, nti baali “bamenya omutima gwe.” Wadde kyali kityo, Pawulo yali amaliridde okugenda. Era nga bwe kyali ku b’oluganda be yali asisinkanye e Ttuulo, yali tagenda kukkiriza kuggwaamu maanyi olw’ab’oluganda okumwegayirira, ng’abamu n’okukaaba bakaaba. Mu kifo ky’ekyo, yabannyonnyola ensonga lwaki yalina okugenda. Nga yayoleka obumalirivu n’obuvumu obw’amaanyi! Okufaananako Yesu, Pawulo yali mumalirivu okugenda e Yerusaalemi. (Beb. 12:2) Yali tayagala kuttibwa ng’omujulizi, naye ekyo bwe kyandibaddeewo, yandikitutte ng’enkizo okufa olw’okubeera omugoberezi wa Kristo Yesu.

18 Kiki ab’oluganda kye baakola? Bassa ekitiibwa mu ekyo kye yabagamba. Lukka agamba nti: “Bwe twalemererwa okukyusa endowooza ye, ne tubivaako ne tugamba nti: ‘Yakuwa ky’ayagala kye kiba kikolebwa.’” (Bik. 21:14) Abo abaali bagezaako okugamba Pawulo obutagenda Yerusaalemi tebaagugubira ku ekyo kye baali baagala. Baawuliriza Pawulo kye yabagamba ne bakkiriza nti ekyo Yakuwa kye yali ayagala kye kiba kikolebwa, wadde nga tekyali kyangu gye bali. Pawulo yali atandise olugendo olwali lugenda okukomekkerezebwa ng’attibwa. Pawulo kyandimubeeredde kyangu okukola ekyo Yakuwa kye yali ayagala akole singa abo abaali bamwagala baali tebagezaako kumulemesa.

19. Kintu ki ekikulu kye tuyigira ku mbeera Pawulo gye yayitamu?

19 Waliwo ekintu ekikulu kye tuyigira ku mbeera eyo Pawulo gye yayitamu: Tetwagala kumalamu maanyi abo ababaako bye beefiiriza okusobola okuweereza Yakuwa. Eky’okuyiga ekyo tusobola n’okukikozesa mu mbeera endala nnyingi, so si ezo zokka obulamu we bubeerera mu kabi. Ng’ekyokulabirako, abaana bwe baba baagala okugenda okuweerereza Yakuwa mu bitundu eby’ewala, ekyo abazadde bangi kibayisa bubi. Naye beewala okubamalamu amaanyi. Mwannyinaffe ayitibwa Phyllis, abeera mu Bungereza, ajjukira engeri gye yawuliramu nga muwala we, omwana omu yekka gw’alina, asazeewo okugenda okuweereza ng’omuminsani mu Afirika. Agamba nti: “Ekiseera ekyo tekyali kyangu. Nnawulira bubi nnyo bwe nnakimanya nti yali agenda kubeera wala nnyo okuva we mbeera. Nnawulira ennaku ate mu kiseera kye kimu ne mpulira essanyu. Nnasaba nnyo Yakuwa. Muwala wange ye yali yeesaliddewo ku nsonga eyo era saagezaako kumulemesa, kubanga nze nnali mmuyigirizza nti kikulu okukulembeza Obwakabaka. Kati amaze emyaka 30 ng’aweereza mu nsi ezitali zimu, era bulijjo nneebaza Yakuwa olw’obwesigwa bwe.” Mu butuufu, kikulu nnyo okuzzaamu amaanyi bakkiriza bannaffe ababaako bye beefiiriza okusobola okuweereza Yakuwa!

Ebifaananyi: Abazadde n’abaana baabwe abaweereza ng’abaminsani. 1. Abazadde nga bakubidde abaana baabwe essimu. 2. Ow’oluganda ne mukyala we abaweereza ng’abaminsani mu nsi endala nga boogerako ne bazadde baabwe ku ssimu.

Kirungi okuzzaamu amaanyi bakkiriza bannaffe ababaako bye beefiiriza okusobola okuweereza Yakuwa

‘Ab’Oluganda Baatwaniriza n’Essanyu’ (Bik. 21:15-17)

20, 21. Kiki ekiraga nti Pawulo yali ayagala nnyo okubeerako awamu ne bakkiriza banne, era lwaki yali ayagala nnyo okubeerako awamu nabo?

20 Enteekateeka zaakolebwa Pawulo ne yeeyongerayo ku lugendo lwe ng’awerekerwako ab’oluganda. Ab’oluganda abo okumuwerekerako kyalaga nti baali bumu naye. Buli wamu we baayimirirako nga bali ku lugendo lwabwe, Pawulo ne banne baanoonya bakkiriza bannaabwe ne babeerako wamu nabo. Mu Ttuulo baasangayo abayigirizwa era ne babeerako nabo okumala ennaku musanvu. Mu Potolemaayi baabeerako ne bakkiriza bannaabwe okumala olunaku lumu. Ate e Kayisaliya baamalayo ennaku eziwerako mu maka ga Firipo. Oluvannyuma abamu ku bayigirizwa okuva e Kayisaliya baawerekerako Pawulo ne banne nga bagenda e Yerusaalemi, era baasembezebwa omusajja eyali ayitibwa Munasoni, omu ku bayigirizwa abaasooka. Lukka agamba nti bwe baatuuka e Yerusaalemi, ‘ab’oluganda baabaniriza n’essanyu.’​—Bik. 21:17.

21 Kyeyoleka lwatu nti Pawulo yali ayagala nnyo okubeerako awamu ne bakkiriza banne. Bakkiriza banne baamuzzangamu amaanyi, nga naffe bakkiriza bannaffe bwe batuzzaamu amaanyi leero. Ekyo kyayamba Pawulo okwaŋŋanga Abayudaaya abaali abanyiivu era abaali baagala okumutta.

a Laba akasanduuko “Kayisaliya​—Ekibuga Ekikulu eky’Ettwale lya Rooma ery’e Buyudaaya.”

b Laba akasanduuko “Abakazi Baali Basobola Okuba Abayigiriza mu Kibiina Ekikristaayo?”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share