Oluyimba 21
Ba Ssanyu ab’Ekisa!
Printed Edition
1. Ba ssanyu nnyo ab’ekisa!
Basiimibwa nnyo Katonda.
Bategeeza ’bantu bonna
’Kisa kyagalwa Katonda.
Katonda yakyolesa nnyo,
Ng’assaawo ekinunulo.
Asaasira abateefu;
Amanyi tuli banafu.
2. Ab’ekisa basiimibwa;
Katonda abasonyiwa.
Bafuna emiganyulo,
Kuba yalabika Kristo.
Booleka ekisa kino
Nga babuulira ’Kigambo,
Bagamba ’bantu: “Mugume
Obwakabaka butuuse.”
3. Abateefu baliraba
Okwagala kwa Yakuwa.
Alibalaga ekisa,
Kuba nabo bakiraga.
N’olwekyo ka tufube nnyo
’Kwoleka engeri eyo.
Tugoberere Katonda;
Bulijjo tulage ’kisa.
(Era laba Luk. 6:36; Bar. 12:8; Yak. 2:13.)