Oluyimba 100
Tuli Ggye lya Yakuwa!
1. Tuli ggye lya Yakuwa,
Tuli ba ddembe,
Era tulangirira
Obwakabaka bwe.
Tweyongera mu maaso
N’obunyiikivu,
Nga tumaliridde;
Tetutya bantu.
(CHORUS)
Tuli ggye lya Yakuwa;
Ffenna awamu,
Tulangirira nti:
“Katonda ’fuga.”
2. Tuweereza Yakuwa;
Tunoony’e ndiga,
Ezibuzaabuziddwa
Era ezikaaba.
Tufub’o kuziriisa,
Tuziddiŋŋana;
Tuziyita zijje
Gye tukuŋŋaana.
(CHORUS)
Tuli ggye lya Yakuwa;
Ffenna awamu,
Tulangirira nti:
“Katonda ’fuga.”
3. Lino ggye lya Yakuwa
Era ttegeke,
’Byokulwanyisa byonna,
Bituweereddwa ffe.
Naye twegendereze,
Tube beesigwa,
Tunywereze ddala,
Go, amazima.
(CHORUS)
Tuli ggye lya Yakuwa;
Ffenna awamu,
Tulangirira nti:
“Katonda ’fuga.”
(Era laba Bef. 6:11, 14; Baf. 1:7; Fir. 2.)