Oluyimba 54
Tulina Okuba n’Okukkiriza
Printed Edition
1. Katonda yayogera n’abantu
Ng’ayitira mu bannabbi.
Kati agamba ‘Bantu benenye;’
Tugambiddwa ’Mwana we.
(CHORUS)
Tulina okukkiriza?
Tulina okukunyweza.
Bye tukola bikyoleka?
Tukunyweze tubeere balamu.
2. Tukola Yesu kye yatugamba;
Tubuulira buli wamu.
Era nga twogera na buvumu;
Tetukweka ’mazima.
(CHORUS)
Tulina okukkiriza?
Tulina okukunyweza.
Bye tukola bikyoleka?
Tukunyweze tubeere balamu.
3. Okukkiriza kwaffe kunywevu;
Tetugenda kudda nnyuma.
Wadde abalabe batulumba,
Obuyambi weebuli.
(CHORUS)
Tulina okukkiriza?
Tulina okukunyweza.
Bye tukola bikyoleka?
Tukunyweze tubeere balamu.
(Era laba Bar. 10:10; Bef. 3:12; Beb. 11:6; 1 Yok. 5:4.)