LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • ll ekitundu 7 lup. 16-17
  • Yesu Yali Ani?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Yesu Yali Ani?
  • Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna
  • Laba Ebirala
  • Ekitundu 7
    Wuliriza Katonda
  • Yesu Kristo y’Ani?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Yesu Kristo y’Ani?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
Laba Ebirara
Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna
ll ekitundu 7 lup. 16-17

PART 7

Yesu Yali Ani?

Yakuwa yatuma Yesu ku nsi. 1 Yokaana 4:9

Yesu ng’ali ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo mu ggulu

Bwe tuba twagala okusanyusa Yakuwa, waliwo omuntu omulala omukulu ennyo gwe tulina okuwuliriza. Edda ennyo, nga Yakuwa tannaba kutonda Adamu, yasooka kutonda malayika ow’amaanyi ennyo.

Mariyamu ng’ali lubuto, ne bwe yali ng’amaze okuzaala Yesu

Ekiseera kyatuuka Yakuwa n’amusindika ku nsi azaalibwe omukazi embeerera ayitibwa Maliyamu mu Besirekemu. Omwana oyo yatuumibwa erinnya Yesu.​—Yokaana 6:38.

Yesu ng’ayigiriza abantu ebikwata ku Yakuwa

Bwe yali ku nsi, Yesu yayolekera ddala engeri za Katonda. Yayoleka ekisa, okwagala, era yali atuukirikika. Yayigiriza n’obuvumu amazima agakwata ku Yakuwa.

Yesu yakola ebirungi kyokka ne bamukyawa. 1 Peetero 2:21-24

Yesu ng’azuukiza omuwala era ng’awonnya omusajja omulwadde

Yesu era yawonya abalwadde n’azuukiza n’abamu ku abo abaali bafudde.

Abakulembeze b’amadiini baakyawa Yesu kubanga yayanika enjigiriza zaabwe ez’obulimba n’ebikolwa byabwe ebibi.

Yesu akubibwa era n’attibwa

Abakulembeze b’amadiini baapikiriza Abaruumi okukuba Yesu n’okumutta.

  • Lwaki kikulu okumanya ebikwata ku Yesu?​—Yokaana 17:3.

  • Kiki Yesu kye yakola nga tannaba kujja ku nsi?​—Abakkolosaayi 1:15-17.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza