LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ll ekitundu 8 lup. 18-19
  • Okufa kwa Yesu Kukukwatako Kutya?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okufa kwa Yesu Kukukwatako Kutya?
  • Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna
  • Similar Material
  • Ekitundu 8
    Wuliriza Katonda
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Wajja Kubaawo Okuzuukira!
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
See More
Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna
ll ekitundu 8 lup. 18-19

EKITUNDU 8

Okufa kwa Yesu Kukukwatako Kutya?

Yesu yafa tusobole okuba abalamu. Yokaana 3:16

Abakazi batunula mu ntaana ya Yesu, kyokka taliimu

Nga wayiseewo ennaku ssatu oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, waliwo abakazi abaagenda ku ntaana ye kyokka ne basanga ng’omulambo gwe teguliimu. Yakuwa yali azuukizza Yesu.

Yesu ng’alabikira abatume be, ne bwe yala ng’addayo mu ggulu

Oluvannyuma Yesu yalabikira abatume be.

Yakuwa yali azuukizza Yesu ng’ekitonde eky’omwoyo eky’amaanyi ekitafa. Abayigirizwa ba Yesu baamulaba ng’agenda mu ggulu.

  • “Empeera” y’ekibi kye ki?​—Abaruumi 6:23.

  • Yesu yaggulawo ekkubo erigenda mu bulamu obutaggwaawo.​—Abaruumi 5:21.

Katonda yazuukiza Yesu era n’amufuula Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. Danyeri 7:13, 14

Yesu ng’atudde ku ntebe ye ey’Obwakabaka, ng’afuga abantu mu nsi empya

Yesu yawaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abantu bonna. (Matayo 20:28) Olw’ekinunulo ekyo, Katonda ajja kutuwa obulamu obutaggwaawo.

Yakuwa yalonda Yesu nga Kabaka ow’okufuga ensi. Abantu abeesigwa abawerera ddala 144,000 abazuukizibwa ne bagenda mu ggulu be bajja okufuga naye. Yesu awamu n’abo 144,000 be bakola gavumenti ey’omu ggulu ey’obutuukirivu—Obwakabaka bwa Katonda.—Okubikkulirwa 14:1-3.

Obwakabaka bwa Katonda bujja kufuula ensi yonna olusuku lwa Katonda. Entalo, obumenyi bw’amateeka, obwavu, n’enjala bijja kuggwaawo. Abantu bajja kuba mu ssanyu erya nnamaddala.​—Zabbuli 145:16.

  • Birungi ki Obwakabaka bwa Katonda bye bunaakolera abantu?​—Zabbuli 72.

  • Tusaanidde okusaba Obwakabaka bwa Katonda bujje.​—Matayo 6:10.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share