EKITUNDU 12
Oyinza Otya Okufuna Essanyu mu Maka?
Okwagala kwe kusobozesa amaka okubaamu essanyu. Abeefeso 5:33
Katonda ayagala obufumbo bubeere wakati w’omusajja omu n’omukazi omu.
Omwami ayagala mukyala we amuyisa mu ngeri ey’ekisa era afaayo ku nneewulira ye.
Omukyala asaanidde okukolagana obulungi n’omwami we.
Abaana basaanidde okugondera bazadde baabwe.
Beera muntu wa kisa era mwesigwa, so si omukambwe era atali mwesigwa. Abakkolosaayi 3:5, 8-10
Ekigambo kya Katonda kigamba nti omwami asaanidde okwagala mukyala we nga bwe yeeyagala, n’omukazi asaanidde okussaamu nnyo bbaawe ekitiibwa.
Okwegatta n’omuntu atali mwami wo oba mukyala wo kikyamu. Okuwasa abakazi abasukka mu omu nakyo kikyamu.
Ekigambo kya Katonda kituyigiriza engeri y’okufunamu essanyu mu maka.