LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • fg essomo 1 kib. 1-3
  • Mawulire Ki Amalungi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Mawulire Ki Amalungi?
  • Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
  • Similar Material
  • Lwaki Osaanidde Okuyigirizibwa Katonda?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Ekigendererwa kya Katonda eri Ensi Kye Kiruwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Lwaki Katonda Yatonda Ensi?
    Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
See More
Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
fg essomo 1 kib. 1-3

ESSOMO 1

Mawulire Ki Amalungi?

1. Mawulire ki agava eri Katonda?

Abantu nga banyumirwa obulamu ku nsi

Katonda ayagala abantu banyumirwe obulamu ku nsi. Yatonda ensi n’ebintu byonna ebigiriko olw’okuba ayagala abantu. Anaatera okubaako ky’akolawo abantu bonna mu nsi basobole okuba obulungi. Ajja kuggyawo ebintu byonna ebireetera abantu okubonaabona.​—Soma Yeremiya 29:11.

Tewali gavumenti eyali esobodde kumalawo bikolwa bya bukambwe, endwadde, oba okufa. Naye waliwo amawulire amalungi. Mu kiseera ekitali kya wala, Katonda ajja kuggyawo gavumenti z’abantu ateekewo eyiye. Abo abanaafugibwa gavumenti ye bajja kuba n’emirembe era nga balamu bulungi.​—Soma Isaaya 25:8; 33:24; Danyeri 2:44.

2. Lwaki kikulu nnyo kati okukolera ku ebyo bye tuyiga mu Bayibuli?

Okubonaabona kujja kuggwaawo nga Katonda azikirizza abantu ababi bonna. (Zeffaniya 2:3) Ekyo kinaabaawo ddi? Ekigambo kya Katonda kyayogera dda ku mbeera embi ezinyigiriza abantu leero. Ebiriwo mu nsi biraga nti Katonda anaatera okuzikiriza abantu ababi.​—Soma 2 Timoseewo 3:1-5.

3. Kiki kye tusaanidde okukola?

Tusaanidde okuyiga ebikwata ku Katonda okuva mu Kigambo kye Bayibuli. Bayibuli eringa ebbaluwa taata gy’awandiikidde abaana be b’ayagala. Etutegeeza engeri gye tuyinza okuba n’obulamu obulungi kati era n’engeri gye tusobola okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi mu biseera eby’omu maaso. Abantu abamu bayinza obutayagala oyige ebyo ebiri mu Bayibuli. Naye okuva bwe kiri nti Katonda atusuubizza obulamu obulungi mu biseera eby’omu maaso, tetusaanidde kukkiriza muntu yenna kutulemesa kuyiga bikwata ku bulamu obwo.​—Soma Engero 29:25; Okubikkulirwa 14:6, 7.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share